Bya Belinda Munyeza
Okugyamu olubuto nebwe kuba kukoledwa mudwaliro okugeza nga okukozesa empeke(1) oba okukozesa enkola ya vacuum aspiration (2) omuntu yena yetaga obudde nobulabilizi okuwona obulungi. Newankubadde nga enkola zombi tezilina bulabe bwezikolebwa omuntu omutendeke era nga nokuwona obulungi tekulina buzibu oba kwanguwa okugerageranya nenkola endala, kibela kikulu nnyo okufuna okuwabulwa okusobola okutangila obuzibu bwona obuba buyinza okubawo mu kaseera ako. Abantu abasinga tebatela kufuna buzibu bwona bwe bagyamu embuto oba bayinza okufuna obuzibu butono tono.Wabula,kiba kilungi okuba n’o bumanyilivu ku by’okukola n’ebyo by’otolina kubanga bwotamanya kiyinza okuvaako ebizibu ebitali bimu. Ebiwandikidwa wano bya mugaso mu kusalawo eby’okukola ne by’otolina kukola oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto okukakasa nti owona bulungi.
Ebyokola okwelabirila oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto
Ekimu ku bikulu byolina okola oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto kwe kufuna okubuulirira ku by’okuziyiza okuzaala okuva eri omusawo
Okusinziira ku Paula H Bednarek,MD,MPH, okubuulirira ku by’okuziyiza okuzaala kutwalila wamu okwekenneenya eddagala nga kwogase ne’nkola endala eziyiza okuzala okusobola okulonda enkola esinga obulungi eyokozesa ey’ekiseera ekitono n’ekiwanvu. Okufulumya eggi mu nnabana kitera okubaawo nga wayise ennaku abbiri mu lumu (21) ku abbiri mu mwenda (29) oluvannyuma lw’okuggyamu embuto kale nga okubuulirirwa ku ngeri ezitali zimu ez’okuziyiza okuzaala kikusobozesa okuteekateeka n’okwewala olubuto oluyinza okubaawo nga tonaba kuwona bulungi oba okweteggeka. Kirungi okwebuuza ku musawo oba omuwabuuzi ku by’okuziyiza okuzaala oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto bwoba tewafuna kuwabulwa kuno muntandikwa.
Okusinziira ku bakugu ba Healthline oyinza okufuna obuzibu oba ebizibu oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto nga okuzimba olubuto,okukoowa n’okuziyira.Ebizibu nga bino bisobola okukolebwako ng’oyita mu nkola nga okukozesa heat pads ku bulumi wansi wo’lubuto,okunywa ennyo amazzi naddala singa obadde oziyira,nga kwotadde n’okuwummula okumala ennaku bbiri oba ssatu okusobola okuwona obukoowu.
Bwekituuka ku ddagala,okumira ebyo byokka ebikulagiddwa omusawo wo nga bwa bela alikuwadde kikulu nnyo mu kwerabirira oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Planned Parenthood ewa amagezi okukozesa ku ddagala nga ibuprofen ne Norco ku bulumi bwowulira wansi wo’lubuto. Bwekituuka ku ddagala,kiba kirungi okwekebegya emirundi egiwelako ku ddagala lyonna ly’oyagala okumira okukendeeza ku bubonero bwoba ofunye.
Kiba kirungi okwekenenya ennyo obubonero bwo bobela ofunye era notegeeza mangu omusawo wo singa wabaawo obuyitiride. Obulumi obuyitiridde gamba nga,okuvaamu omusaayi omungi n’omusujja ogwa wagulu biyinza okulaga obuzibu obunene era okutegeeza omusawo wo kijja kukusobozesa okufuna obujjanjabi obutuufu amangu nokwewala ebizibu ebinene ebiyinza okuvaamu. Omusaayi oguyitiridde kitegezza nti okozesa ela nonyinkiza maxi pads bbiri buli ssaawa okumala essaawa bbiri ez’omuddiring’anwa ate ng’omusujja gwa diguli 100.4 Farenheit oba diguli 38 celsius nakyo kibela kizibu ekisukkiridde. Obulumi ebisela ebisinga buyinza okuba obuzibu okupima naye bw’olaba ng’obulumi bukususeko, tuukirira omusawo.
Ekitufu kili nti enkola y’okuggyamu olubuto n’okudda engulu kuyinza okukuzitoowerera mu nneewulira. Engeri endala gyoyinza okukozesa mu kutelela kwe kutuukilila ku bantu abamu mu bulamu bwo abayinza okubaawo okukuyamba okuwulira ennyo okuwagirwa mu nneewulira. Okwewalila ddala buli kintu ekikuteeka ku bunkenke oba ekikwelalikiriza ng’okukola, naddala mu wiiki esooka oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto nakyo kiyinza okuyamba okutelela okuva mu nsonga eno.
Ebitalina kolebwa oluvannyuma lw’okugyamu olubuto
Okudda ku mulimu,okukola dduyiro omuzito,oba okwenyigira mu mulimu omulala gwonna ogw’amaanyi mu wiiki esooka byebimu ku byotatekedwa oba byewandyewaze okukola oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Kino kisanide kubanga okukozesa omubili ekiyitiridde kiyinza okuvaamu okweyongera okuvaamu omusaayi n’okuzimba,ekilwisa okuwona. Ensonga yokukwatibwa yinfekisoni nayo eyinza okukosa okuwona. Wewale okutuula mu mazzi nga mu bbaafu oba mu bidiba ebiwugirwamu wamu kuba bino byona biyinza okuleeta yinfekisoni. Okwewala okwegatta wamu n’obutakozesa tampoons,ebikopo by’omu nsonga oba ekyuma ekirala kyonna mu bukyala okumalila ddala wiiki bbiri oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto byeetagisa obutafuna yinfekisoni.Empeta eyitiibwa nuva yo ya njawulo kuba tereeta yinfekisoni. Ekirala kyewetaga okwewala oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto kwe kukozesa eddagala eritta obuwuka okuggyako nga liwandiikiddwa omusawo. Omusawo bw’akuwandiikira eddagala eritta obuwuka otekeddwa okulimira nga bwe bakulagidde kubanga bw’okola ekirala kiyinza okuvaamu ebizibu oba okulwawo okuwona.
Okutwaliza awamu,ng’ogyeko obuzibu obutono tono obugya oluvannyuma lwokugyamu olubuto,okuwona tekwandibadde kuzibu. Ebizibu ebisinga obungi bisobola okukanyizibwa mu kuwummula,okulabirira n’eddagala. Kasita okola byoba weebuuziza ku musawo wo nga kwotadde n’obukodyo obuweereddwa waggulu mu kitundu kino,ogya kuterera mu kaseera katono.