Okuggyamu embuto n’empeke: Tekulina bulabe, kwa bwannannyini, era kukola bulungi
Okuggyamu embuto mu by'obujjanjabi kimanyiddwa nnyo ng'okuggyamu embuto n'empeke. Abantu abamu era enkola eno bagiyita okweggyamu embuto,okuddukanya-okuggyamu olubuto lwo oba okuggyamu embuto nga weekolera (DIY).
Bw’okozesa empeke z’okuggyamu embuto, ojja kuvaamu omusaayi n’okuwulila Obulumi. Obubonero buno bufaanagana nnyo n’okugenda mu nsonga oba okuvaamu embuto (okuggyamu embuto mu butonde).
Ekigambo "empeke z'okuggyamu embuto" okutwalira awamu kitegeeza mifepristone ne misoprostol mu kuddirira oba misoprostol yokka.
Mife & Miso video
Miso only
EDDAGALA LY’OKUGGYAMU OLUBUTO
Obuweke obugyamu olubuto kyeki?
Mifepristone akola atya?
Mifepristone ddagala eriziyiza okutambula kwa progesterone – obusimu obuwagira olubuto. Awatali progesterone, olubuto terusobola kukula.
Mifepristone era egonza omumwa gwa nnabaana (ekitundu ekya wansi ekya nnabaana), ekyongera amaanyi mu nkola ya misoprostol.
Mifepristone yokka tamala kuggyamu lubuto; misoprostol nayo yeetaagibwa.
Mifepristone okusinga ekozesebwa mu kuggyamu embuto oba okuvaamu embuto, kale okusinziira ku mateeka n'obukwakkulizo mu buli nsi, oluusi kiyinza okuba ekizibu okugifuna.
Misoprostol akola atya?
Misoprostol ddagala erireetera nnabaana okutambula (oba okukonziba), ekiyamba okufulumya olubuto, ekivaako okulumizibwa n'okuvaamu omusaayi.
Okuggyamu embuto mu by’obujjanjabi kuyinza okukolebwa nga okozesa misoprostol nga temuli mifepristone, naye kikola bulungi okukozesa eddagala lyombi awamu.
Misoprostol erina enkozesa endala mu by’obujjanjabi ng’oggyeeko okuggyamu embuto (okuleeta okuzaala, okuvaamu omusaayi oluvannyuma lw’okuzaala, amabwa n’ebirala), kale mu bujjuvu esangibwa wangi.
Ebibuzo ebitela okubuzibwa
Okukozesa mifepristone ne misoprostol okukomya olubuto tekikosa mbuto z'omubiseera eby’omu maaso oba okuleeta obulemu mu kuzaalibwa mu biseera eby’omu maaso. Amaddagala gano gaggyibwa mangu okuvaa mu mubiri era tegarina kye gakola kyankalakalira ku kuzaala oba ku bulamu bw’okuzaala, era embuto z’eyo maaso zijja kukula mu ngeri eya bulijjo. Bw’oba oteekateeka okuddamu okufuna olubuto, tekiba kya bulabe okukikola buli lw’owulira nga weetegese.
Amawulire agasembyeyo n'ebiwandiiko bya blog
Sigala ng'omanyi ne safe2choose
Sigala ng'omanyi ebigenda mu maaso, amawulire, n'okumanya ne safe2choose. Okuva ku nkulaakulana mu bulamu bw'okuzaala okutuuka ku birango ebikulu n'emboozi okuva mu kitundu kyaffe, Omuko gwaffe ogw'Ebiwandiiko gukumanyisa era gukutusako n'amawulire agasinga okuba ag'omulembe.
TUTUKIRIRE ERA OYAMIBWE
Funa obuyambi nga ojjemu olubuto n'okubulilirwa
Tuwa amawulire agesigamiziddwa ku bujulizi ku kuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe. Empeereza yaffe ey'okubudaabuda ey'obwereere terina bulabe, ya kyama, nnyangu, era terimu kusala musango. Tulinze obubaka bwo.

Bya timu ya safe2choose era nabawagizi abakugu ku carafem, okusinzilla ku kulungamya kw'okufayo kukujjamu embuto kwa WHO 2022; epipya ku ddwaliro mu byobulamu 2023 bya Ipas ne ebilungamya ku bya malwaliro ku fayo eri okujjamu embuto bya NAF.
safe2choose eyambibwa Olukiiko oluwabula ku by’obujjanjabi, eyakolebwa abakugu mu by'obulamu ebyokwegata(SRHR)
carafem ewa okufayo okwedembe n'obukugu nga ojjemu olubuto era entegeka ya maka abantu basobole fuga owudendo n'okuwa abaana babwe amabanga.
Ipas kitongole kya nsiyona ekyesigamye kuku gaziya okufuna okujjamu embuto okutali kwabulabe ne okufayo eri okulwanisa embuto.
WHO - ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna – kitongole kya njawulo mu kibiina ky’Amawanga Amagatte ekivunaanyizibwa ku by’obulamu by’ensi yonna.
NAF - ye Ekitongole eky'gwanga Ekyokugyamu Embuto - ekitongole ekyabakugu mu USA ekiyamba kujjamu embuto okutalikwabulabe, okwekakasibwa ne dembe lyobulamu."
