Akuuma akabala olubuto
Olubuto welumala okukakasibwa era nga tonakola kusalawo kukya kulujjamu, kyankizo nyo okumaya ebanga lyalwo - ebanga ly'olubuto mu wiiki.
Wetuli okuyamba kulugendo lwona.
Ffe ku safe2choose, tukuwa amawulire mubujjuvu era nobuyambi okukuyamba okuyita my lugendo lw'okujjamu olubuto. Ebikozesebwa byaffe byategekebwa okukuwa amagezi n'obuvumu bwewetaga okukola okusala wo okusinga mubera yo.
Obukakafu
Lwaki okukakasa ebanga ly'olubuto n'o mwana kyankizo
Newankubade osalawo okweyongerayo nolubuto oba okulakomya, okukakasa ebanga lya lwo kyamugaso nyo olwensonga zino:
Okola okusala okumumanya
Okukakasa olubuto lwo era nokutegera ebanga welutambude kiyamba okukola okusalawo mukumanya era nokutegeka obulungi.
Awatali bulabe n'obulamu
Enkola ez'okujjamu embuto ezejjawulo ziragibwa kumitendera egyenjawulo kulubuto. Okumanya wiiki okuva wewafuna olubuto kiyamba okumanya enkola etayina bulabe ate enunjji okukozesa.
Ebyamateka n'okufuna okuyambibwa
Okufuna wojjilamu olubuto tekiri buliwamu munsi yona. Munsi ezimu namawanga, okujjamu olubuto kirizibwa naye kilemesebwa banga lyalubuto, era enkola ezimu zikilizibwa ku wiiki zimu ezo lubuto.
Obulamu bw'obwongo n'okwetegekera mu nnewulira
Okuba namawulire mubufunzi kiyamba okukendeza era nekikutegeka munewulira eri emitendere egidako
Akakebera olubuto akesigika
NB: Kakasa nti olilubuto nakakebera akesigika
Wade ensonga z'omwezi eziyisewo tezitera kuba kabonero ka lubuto, ebilara, okujjako olubuto, bisobola okuletera ensonga z'omwezi okujja endako oba obutajja. Yensonga lwaki wetaga okukakasa olubuto nakakebera olubuto akesigika ngatonaba kukozesa akuuma akabala olubuto. Akakebera olubuto ewaka oba okukyalira omusawo akuwe amawulire mubutufu gewetaga. Tokozesa buweke bujjamu lubuto nga tonakakasa nakakebera era nga tomanyi banga lya lubuto.
Tolina kukozesa empeke ziggyamu lubuto bw’oba tonnakakasa lubuto n’okukeberebwa okwesigika era nga tomanyi wiiki z’olubuto lwo
Bbanga ki?
Obala otya wiiki zo lubuto?
Okubala wiiki z'olubuto, bala wiiki ne naku okuva kulunaku olwa sembayo nga oli munsonga ezomwezi (LMP). Kyamugaso okutandika okubala okuva kulunaku kubanga kiyamba okugerageranya ndi ejji welyatebwa era nelifumbibwa.
Engeri esinga okumanya ebbanga ly'olubuto:
Manya ddi wewafuna ensonga ez'omwezi ezisembyeyo wezatandikira;
Gerageranya akasera akaliranye singa tojjukira lunaku lutuffu olwa LMP; era
Koseza enkola endala singa tojjukira mwezi oba lwali kuntandikwa oba nkomelero ya mwezi.
Wegendereze ensobi zino ezitela okukolebwa; tobala bwoti
Tobala nga ovakunaku zomwezi zotafuna;
Tobala kuva kulunaku wewegata; era
Tobala okuva kulunaku lwo lowooza lwewafuna olubuto.
Akuuma akabala olubuto
Singa wetaga obuyambi okubala wiiki z'olubuto, kozesa akuuma kaffe akabala olubuto. Londa olunaku olwa ssembayo munaku z'omwezi, era tandikirawo
Okozesa otya akuuma akabala olubuto
Engeri y'okuggyamu embuto
Okusalawo enkola eyokujjamu olubuto okusinzira kubbanga ly'olubuto
Waliyo enkola ezitali zabulabe ezokugyamu olubuto, era ekola kyolonda yesigamye ku wiiki yolubuto. Olusi, enkola ezegyawulo zisobola okozesebwa mukadde kekamu kulubuto. Okusalawokwo kuyinza okukosebwa gyobela, ekyuma oba ebikozesebwa ebiliwo, era kyolonda oba omusawo kyakulagira.
Enkola z'okuggyamu embuto ezeggyawulo weziri okusinzira kubbanga ly'olubuto
okuggyamu embuto mu by’obujjanjabi (MA)
Okuggyamu olubuto n’empeke oba okuggyamu embuto mu by’obujjanjabi (MA) osobola okukikola awaka awatali bulabe wansi wa wiiki 13 ng’oli lubuto. Ku mbuto ezisukka mu wiiki 13, kyetaagisa okufaayo okw’enjawulo n’okwegendereza, era tubakubiriza nti olubuto lugyibwemu mu dwaliro
Okugyamu Olubuto n'ekyuuma Ekinuuna (MVA)
Okugyamu Olubuto n'ekyuuma Ekinuuna (MVA) nkola yakujjamu embuto etera okukozesebwa okutuuka ku wiiki 14 ng’oli lubuto. Omukugu mu by’obulamu omutendeke akikola mu ddwaaliro oba mu kifo eky’obujjanjabi.
Okugyamu Olubuto n'ekyuuma Ekinuuna ekyamasanyalaze (EVA)
Okugyamu Olubuto n'ekyuuma Ekinuuna ekyamasanyalaze (EVA) nkola yakujjamu embuto etera okukozesebwa okutuuka ku wiiki 14 ng’oli lubuto. Omukugu mu by’obulamu omutendeke akikola mu ddwaaliro oba mu kifo eky’obujjanjabi.
Enkola z'okugulawo omumwa gwa nabana n’okufulumya (D&E)
Enkola z'okugulawo omumwa gwa nabana n’okufulumya (D&E) zitera okukozesebwa okusukka wiiki 14 ez’olubuto. Omusawo alina ebisaanyizo akikola mu ddwaaliro oba mu kifo eky’obujjanjabi .
Okujjamu embuto nebisa
Okujjamu embuto nebisa, eno ekozesebwa kumbuto eziri wagulu wa wiiki 16 nga ekozesebwa omusawo omutendeke kuddwaliro.
Okugaziya omumwa gwa nnabaana n’okukozesa ebyuma okufumita nnabaana (D&C)
Okugaziya omumwa gwa nnabaana n’okukozesa ebyuma okufumita nnabaana (D&C) nkola ya kuggyamu lubuto evudde ku mulembe era ekyusiddwamu enkola y’ekyuuma ekinuuna (MVA/EVA) n’enkola z'okugulawo omumwa gwa nabana n’okufulumya (1)(5). Wadde ng’enkola eno ekyakolebwa mu nsi yonna, tukukubiliza okukozesa enkola ezitali zabulabe.
Ebibuzo ebisinga okubuzibwa ku Akuuma akabala Olubuto
Ekyuma ekibalirira embuto kisobola okukuwa okubalirira okukuyamba ku bbanga ly’oli, naye si bulijjo nti kiba kituufu. Kisinga kukola bulungi ng’oyingiza amawulire amatuufu, gamba ng’olunaku olusooka ng’osembyeyo okugenda mu nsonga. Singa ennaku zo teziba za bulijjo oba nga tokakasa nnaku, ebinaavaamu biyinza obutaba byesigika. Wadde kiri kityo, kiyinza okukuwa endowooza ey’awamu ku bbanga ly’olubuto lwo, ekiyinza okukuyamba okukulambika ku ngeri entuufu ey’okuggyamu embuto. Bw’oba tokakasa, kirungi okunoonyereza ku ngeri endala ez’okuzuula ebbanga ly'olubuto. Tutuukirire okufuna okuyambibwa.
Amawulire agasembyeyo n'ebiwandiiko bya blog
Sigala ng'omanyi ne safe2choose
Sigala ng'omanyi ebigenda mu maaso, amawulire, n'okumanya ne safe2choose. Okuva ku nkulaakulana mu bulamu bw'okuzaala okutuuka ku birango ebikulu n'emboozi okuva mu kitundu kyaffe, Omuko gwaffe ogw'Ebiwandiiko gukumanyisa era gukutusako n'amawulire agasinga okuba ag'omulembe.
TUTUKIRIRE
Tekiyina buzibu okusaba obuyambi
Bw’oba tofunye ky’onoonya oba nga weetaaga obuyambi obulala, tukusaba otuukirire ng’oyita ku mukutu gw’okubudaabuda n’emikutu egiriwo. Tusobola okukuwagira n’ebibuuzo byo ebikwata ku lubuto, engeri y’okuggyamu embuto, oba okulabirira oluvannyuma lw’okuggyamu embuto – tutuukirire!

