enkola no`bukwakulizo

enkola no`bukwakulizo ezawamu

safe2choose erina obwananyini era yekwanaganya ekibanja kino (www.safe2choose.org). Kino ekiwandiko kyekifuga enkolagana ne www.safe2choose.org no buwereza oba abawereza. Okufuna wamu n`okukozesa obubaka, wamu n`obuwereza bwona- ebifanayi, obutambi,ebiwandiko obuli ku kibanja kino, kisinzira ku “nkola n`obukwakulizo” . era bwokozesa obuwereza bwaffe okuyita kumutimbagana guno kitegeza obera okiriza buterevu enkola n`obukwakulizo bwaffe wamu n`enkyukakyuka zetuyinza okukola obudde bwona. olina okukebera omutimbagano guno okumanya ebipya byetuyinza okubera nga tukyuzisamu.Tuyinza obutasobola ku kuwa kulabulakwona nga tetunakyuusa kintu kyona ku mutimbagano guno oba mu nkola n`obukwakulizo.

Tulina eddembe okujjawo oba okukyusamu mu buwereza bwaffe nga tetulina gwe tugambye oba okwebuuza. Tetunenyezebwa singa ekibanja kino kibera tekiliwo era tusobora nokusiba ebitundu ebimu ku buwereza obuliko okusinzira nga bwetubera tulabye. Ekibanja kiyinza okuberamu obuwakatilwa okuva ku bibanja ebirala.

Ffe teturina buyinza ku bubaka buva ku bibanaja ebyo ebilara, era tetuyina buvunanyizibwa ku bwo yadde obuzibu bwona bwoyinza okufuna ebibanja ebyo beyetujuliza byebiba nobuvunanyizibwa.

entekateka ey`ekyama ku bubaka bwotuwa

entekateka yafe ku nsonga zekyaama erambika bulungi nyo ngeri jjetugenda okukozesamu ebibukwatako byona era esangibwa wano www.safe2choose.org/privacy-policy. Bwokozesa ekibanja kino, obera okiriza tukwasaganye ebikukwatako nga bwe tunyonyodde era nti byona byotuwadde bitufu.

ba kansala/ababudabuda n`obuwereza obw`okubudabuda

kino ekibanja kikuyamba okwogera ne ababudabuda, abakuggu,abasawo, badokita, oba abantu bona abalina ebisanyizo (Boona “ababudabuda”) osobole okubudabudibwa n`okufibwako obulungi kunsonga y`okujjamu olubuto nga okozesa obuweke. Naye kimanye nti okubudabudibwa kuno sikwa nkomeledde era tekujjawo buwereza bwabasawo abakuggu era togana kufuna buyambi kuva era abasawo abakuggu okusinzira kumateeka agafuga egwanga lyo. Ekibanja kino tekiwandisidwa nga ddwaliro okuwa obujjanjabi obwekikuggu, mu mateeka ge gwanga lyona. Tekikikirira okutekawo akabega ku buwereza bwona era tetuwandikira yadde okuwa omuntu yena eddagala. Ekibanja kino oba omuwereza waffe yena talina ku twalibwa nga ddwaliro, kiliniki ob omusawo omukuggu.

Ekibanja kino teliliwo kuwandika nakugaba dagala oba obujanjabi obwetagisa, ela tokiliza buyambi kwekyo nga buyitila kumukutu guno.

Obuyambi bwokubudabuda ku kibanja kino bugatta ku bwoba ofunye nga osisinkany omukugu omutendeke. Ela tebujako kusisinkana omusawo oba omukugu omutendeke. Ela olina okusoka osisinkane omukugu oba omusawo nga tonasalawo kujamu lubuto nga okozesa omulingo gwona, Obuyambi bwokubudabuda bukuwa obuwabuzi kukujamu lubuto so nga wetaga okukyalila omukugu olyoke osalewo.

Togananga oba okukelewa okufuna obuyambi nga osisinkanye omukugu lwakuba ofunye obuyambi nga ova kukibanja kino.

Olina okufuna okuyambibwa eli omukugu awandikibwa nga amateeka bwegalagila munsi yo nga tonakozesa mulingo gwona okujjamu olubuto.

Ebitakilizibwa

tolina ku jjajamya kibanja kino. Tokilizoibwa kuzza misingo oba okuletera abalala okuzza emisango. Toyina kutambuza buwuka bwonona mutimbagano oba ekintu kyona ekyomutawana ekiyinza okuletera abakozesa ekibanja okukwesitala. Tolina kulinyilira ddembe lya muntu yena nanyini oba abakozesa ekibanja kino. Tolina kusindika kintu kyona ekisobola okwonona komputa(Ebyuma bikalimagezi) z`abantu abakozesa ekibanja kino oba bananyini kyo oba okulemesa ekibanja kino okukwananya emirimu jjakyo. okumenya akawayiro kano kitegeza obera oziza omusango era ekibanja kino kijja ku kutwala mumbuga z`amateeka gensi eyo era twanjule ebikukwatako byona.

Tetujja kusasulira kufirwa kwona kwoyinza okufuna oba ebyum bikalimagezi, virusi za komputa, amasimu, ebiyinza okufuna nga okozesa ekibanja kino oba obuwakatilwa obujiriko.

Ebyobwananyini

eddembe ly`obwananyini eri ebintu, obubaka, ebibananyi, bwona byetutekayo ku kibanja kino bufugibwa eteeka ly`ensi yona kubwananyini era buli ki kukibanja kino kiba kyaffe oba abatuwa layisinsi okukwanaganya ekibanja kino. Osobola okutereka wamu n`okuwandika ebintu ebili kukibanja singa obera ogenda kubikozesa nga omuntu sekinomu. Tokilizibwa Kusasanya, okukyusakyusa, okufulumya, mungeri yona ekintu kyona ekikuweledwa ku kibanja kino singa obera ogenda kukolamu sente.

Enkola n`obukwakulizo z`okubudabudibwa kumutimbagano

okubudabudibwa ku mutimbagano kuwebwa abakyala abalina ekirowozo ky`okujjamu olubuto oba abakyala balaina ekibuuzo kyona kunsonga yokujjamu olubuto nga bakozesa obuweke. Okubudabudibwa kwetukuwa kugoberere amateeka gensi yona ku ddembe lyobwebange,okubera n`obulamu, okubera omulamu, obwesige obutafulumya byama, nebirunji byona bikumiwa butiribiri. Era obukwakurizo buno bwankizo nyo.

  • tuwa obubaka n`amagezi ku kujjamu olubuto okutlina kabenje nga bakozesa obuweke obujjamu olubuto nga bagala okujjamu embuto naye atte obuwereza bwaffe tebulina kutwakibwa nga abawagira era abakubiriza okujjamu embuto.
  • Tetulina buwereza bw`kiliniki oba ddwaliro wetujjiramu lubuto.
  • okujjamu olubuto n`obuweke kufugibwa n`okukugirwa amateeka agafuga ensi jjolimu. Nga tonaba kusalawo, kujjamu lubuto, kakasa nga wekenenyeza amateeka gona era nga ogagoberera bulungi. osobola okufuna amateeka agafunzidwa wano.Buno obubaka bukuweredwa osobole okutegera era eyinza obutakyukakyuka. Tetukyikirira butufu bwayo, era terina kutwalibwa nga kuwabulwa kwabanamateeka.
  • Weyongela okutegela nokukiliza nti obuyambi bwokubudabuda kumutimbagano sibwa buli wamu ela kizibu nyo okukubulila amateeka agewamwe ela olumu byetukuwa biyinza obutakwatagana namateeka gamwe obwa kubyobulamu bwo. Olusi wetaga okukebela obuyambi obukuwebwa ababudabuda baffe nebyo ebikwatagana namateeka gamwe awamu nabasawo.
  • Ovunanyizibwa okutegela amateeka agafuga okufuna ebikwata kukujjamu olubuto munsi yo. Guno omutimbagano teguvunanyizibwa kumateeka agakukwatako olub=vanuyuma lwokukozesa guno omutimbagano okufuna okubudabuda.
  • Ojja kuweleza ebibuzo byo omubudabuda waffe nga oyitila ku “Tukilila ffe” ne oba/Okunyumya ku mutimbagano
  • Bwoba okozesa “Tutukilile” ku mutimbagano, wetaga okuwayo yimeyilu yo olwo ababudabuda baffe basobole okukuwa ebisingawo nga bakusindikila obubaka
  • Akawayilo ka “Tutukilile no kunyumya” kumutimbagano kaweebwa abakyala abesalidewo okufuna ebisinga ebikwata kukujjamu olubuto
  • Tetugenda kukusasuza okukozesa obuweleza bwaffe obwokubudabuda akasela kona
  • Olina okusoka okujuza ka foomu kumutimbagano nga tonafuna buweleza
  • Ovunanyizibwa okuwa ebitufu ebikwata kubulamu bwo. Bwobako byotatuwa biyinza okutulemesa okukuwabula bulungi.
  • Okufuna obuyambi bwaffe obubudabuda, wetagibwa okuwayo okukiriza kwo okukozesa ebikukwatako nga amateeka gokukuma ebyama bwegalagila egekitongole ekikuma ebyama mu bulaya(GDPR) namateeka amalala agakwata kukuma ebyama.
  • Ebikukwata biyinza okugabanibwa n`omusawo okusobola okukuwa obuwereza obulungi.
  • Tuweleza obuyambi nga omuntu bwaze natutukilila ngatetufudeyo kungeli nemilingo eyokujjamu olubuto. Teturina musingo oba bukakafu bwankomeredde ku buwereza bwaffe , nga mwemuli n`okufuna abasawo oba bakansala okukuwa ebyetagisa nga bwobyagala

okulabula nga ofiridwa

tewali mungeri yona, wetuvunanyizibwa, singa offuna okufirwa ekintu kyona, oba okuffa nga kuviridde ku kukozesa ekibanja kino wetuvunanyizibwa oba kumutimbagano oba mubuntu

okukwataganya ekibanja

okirizibwa okuwekereza ku kibanaja kyaffe ekyomutimbagano singa okikola mu ngeri enungi era egoberera amateeka nga tereta kabi kona eri kifananyi kyaffe mu bantu. Naye tolina kukikola mungeri alaga nti oli omukuffe, oba twakukiriza, nga entekateka bwetyo teriwo mu butongole. Tolina kuwekereza bintu biva ku kibanja kitali kikyo.Kino ekibanja tekirina kuwayirizibwa oba ekibanja kirara kyona. tokilizibwa kuwekereza walala wona okjjako mu lujja lw`ekibanja kino. Tusigaza olukusa okujjawo omukisa guno nga tetukwebuzizako.

Tetulina bwananyini ku bubonero bwa bitongole bilala, ebifanyi by`abantu, oba ebiyise mu mikono ogusuka ogumu.

okujjako nga tukiwandise mu butongole, abantu bona, ebitongole ebirala, ebifananyi, amanya, obubaka wamu n`obuwereza obutekebwa ku kibanja kino tekitegeza nti wali wo akakwate n`ekibanja kino. Ekintu kyona oba kyamaguzi ekiwandikibwa wano, tukikozesa okusobola okunyonyola ekyo wabula tekigegeza buwagizi bwaffe eri ekintu ekyo.

Okusasula nga ofiridwa

okiriza nti togenda kukola kabi kona eri ekibanja kino, bananyini kyo, abakozi, abakuggu, agenti, abanywanyi, bakansala, amabanja,okufirwa okunaba kuvudde ku kino ekibanja oba okwesasulira okutanzibwa kwona okunaaba kuvudde kukukozesa obubi ekibanja kino.

okukyusakyusamu

ekibanja kino kilina eddembe okukyusamu, okujjawo,obuwereza oba ekintu kyona nga tekisose ku kwebuuzaako

Ekikyamu

singa ekitundu ku bukwakulizo n`enkola yona ebera enkyamu oba nga tesobola kutekebwa munkola.(nga ogaseko akawayiro wetujiramu ebanja oba okutanzibwa ku lulwo) , okutekebwa munkola kwebitundu ebirala tekujja kutataganyizibwa wade. Obuwayiro obulala bwona busigalawo nga bukola bulungi. wabula singa era wabawo akawayiro akakosebwa ne kaletera ekitundu ekisigade okubela ebitali bitufu, akayiro ako kajja kutaputibwa nga embera bweli. Naye era okiriza nti ekitundu oba akawayiiro ako kajja kuterezebwa era katabutibwe okwefananyiriza amakulu g`akawayiiro akabereberye nga amateeka bwe galagira.

Okwemulugunya

tulina enteekateka eyokugonjolamu okwemulugunya era tufuba okugonjjola okwemulugunya nga kwakabawo, era tukusaba otubulire okwemulugunya kwona singa kubela kubaddewo.

Okusalirako/okukenderezaako ku beyi

bwomenya obukwakulizo bunonetutakutanzza, era tuba tulina eddembe mungeri yona,okukutanza nga osobezza.

Endagano yona

enkola no`bukwakulizo wagulu byebikola endagano wakati wo naffe, era esinga endagano endala zona wakati waffe nawe oba omuntu omulala yena. Enkola yona entufu nga tegigoberedde erina okubera nga etekeddwako omukono nanyini oba directa w`ekibanja kino