Okujjamu olubuto ne Mifepristone ne Misoprostol

Abortion with Mifepristone and Misoprostol Protocol

Okujjamu olubuto n’eddaggala kisoboka okukolebwa ne Mifepristone ne Misoprostol nga bweddiringana oba nga Misoprostol ali yekka. Wano waliwo obubaka obujjude kunkozesa ya Mifepristone ne Misoprostol kukujjamu olubuto. Bwoba osobola okufuna Misoprostol yekka, kebela endagililo eno.

Nga tonatandika

Okugatta Mifepristone ne Misoprostol kikola ebitundu 95/100 [2] okujjamu olubuto olwa wiiki 13 okukka wansi

Jjukira nti obubaka buno bwamugaso kumpeke ezijjamu embuto eziri wakati wa wiiki 13 n’okukka wansi okuva lw’oyosa okugenda mumwezi [1, 2]. Olw’okuba tetuli batendeke kujjamu mbuto zisuse wiiki 13, tujjakuwa amagezi okugenda eri abakugu.

Okukakasa nti enkola eno siyabulabe gyoli, tukukubiriza oddeyo osome ekitundu ekiriko ebikuganya okukozesa empeke ezijjamu olubuto.Bwoba tokakasa nti enkola eno nungi gyoli, tunonyeko.

Emiwendo gya Mifepristone ne Misoprostol

Ojjakwetaaga empeke ya Mifepristone 1 neza Misoprostol 8

Bwekiba kizibu okuweza empeke za Misoprostol 8, kozesa 4 yadde nga omutindo gujja kukendera era tukusaba webuuze kuba kansala baffe
Tukubiriza okukozesa empeke 8 eza Misoprostol ku lubuto oli wakati wa wiiki 10-13. [1, 2, 3]

Bwoba olina ekibuuzo kyonna, togaana kutubuuza. Tuliwo kuyamba kwanguyirwa okujjamu olubuto

Bwoba olina ekibuuzo, tunonyeko. Tuli wano kukuyamba nga ojjamu olubuto.

Okumira Mifestone ne Misoprostol okujjamu obulungi olubuto

EKIFANANYI- OKUKOZESA MIFEPRISTONE NE MISOPROSTOL

Omutendera ogusooka : Mmila empeke ya Mifepristone n’ammazzi

Bwosuula muddakiika 30 ezisooka nga wakamira Mifepristone, kisoboka nti empeke tejja kukolera. Mumbeera eno, wetaaga empeke endala eraa ddamu omutendera ogusooka. oba si ekyo tunonyeko.

Linda essaawa 24-48

Makati gesawa 24 ne 48, teli njawulo mu nkola ya misoprostol

Obubonero obusinga bweyoleka nga oaze okukozesa Misoprostol n’olwekyo londa obudde obusinga okuwa emirembe nga oli waka era nga tolina kikusumbuwa


Omutendera 2: Mmira 800g Ibuprofen

Omutendera guno tegwetagisa naye okubirizibwa oguyitamu.Ibuprofen ajja kukendeeza kubulumi munseke era akuyambeko okendeza ebbiva mukukozesa empeke ezijjamu olubuto. Jjukira nti Ibuprofen asobola okukozesebwa mubuli mutendera singa kyetagisa. Abakyala abalina alagye wa Ibbuprofen ne NSAIDs basobola okwebuuza ku kibanja kya FAQs okufuna obukoddyo obulala obuziyiza obulumi.

Bwoba olina empeke eziziyiza okwagal okusesema osobola okuzikozesa mukaseera kano

Lindamu essaawa 1


Omutendera 3: Teeka empeke za Misoprostol 4 wansi wolulimi

Kikulu nnyo nti empeke zisigala wansi wolulimi lwo okumala eddakiika 30 okusobozesa eddagala okuyingira mumubiri. Oluvanyuma lweddakiika 30 nnywa ammazzi omire ebisigalira by’empeke [1]

  • Bwosesema wakati mu dddakiika 30 nga empeke ziri wansi wolulimi lwo, emikisa mingi nti eddagala terijja kukola. Mumbeera eno, ddamu omutendera ogwokusatu.
  • Bwosesema nga empeke ziwezeza eddakiika 30 wansi wolulimi lwo, tewetaaga kuddamu omutendera ogwokusatu.

Linda essaawa 3


Omutndera 4: Ddamu omutender 3 olwo oteeke empeke za Misoprostol 4 wansi wolulimi lwo okumala eddakiika 30

Okuvaamu omusaayi ebiseera ebisinga kujja oluvanyuma lw’essaawa nnyingi. Singa omala esssawa 24 nga otadde empeke wansi w’olulimi notavaamu musaaayi wadde okulumizibwa munseke, tukubireko. Tokozesa mpeke ndala ppaka nga tumaze okwetegereza embera yo.

Obubonero obusubirwa nga okozeseza Mifepristone ne Misoprostol

Bwomala okukozesa Mifepristone, abakyala abasinga tebafuna kabonero kona kalabika, ekitegeeza nti tebawulira kintu kyonna. Singa ovaamu omusaayi nga omize Mifepristone, kisanidde okozese Misoprostol okumalayo emitendera [16]

Bwomala okukozesa Misoprostol ojja kufuna okuvaamu omusaayi nokulumizibwa munseke. Abakyala abamu bafulwa omusaayi ogwekutte. Kizibu nnyo okutegeera ddi okuvaaamu omusaayi oba okulumizibwa munseke lwekunaberawo, naddala mu sssaawa 24 ezisooka nga omize empeke za Misoprostol, naye kisobola okujja luvanyuma lwe ssaawa nnyingi. [10]

Okuvaamu omusaayi okusubirwa kulina okusinga okwo okubeera nga omukyala ali munsonga, oba nga kufanagana. Osobola okufuna okuvaaamu omusaayi okujja nga bwekugenda okumala enaku eziwera oba wiiki nga omaze okumira obuweke. Okuvaaamu omusaayi n’obubonera birina okuterera mu wiiki eziddako. [11]

eri abakyala abali wakati wa wiiki 10-13, mujja kubeera n’obubonero bwokuvaamu omusaayi nokulumizibwa enseke, olumu musobola okulaba ekifuluma mukusindika [1]. Ebiseera ebisinga kino ekifuluma mukusindika kibeera kitabuddwa mu musaayi n’ebitole by’omusaayi ebyekute era olusi oyinza obutakiraba, naye kuikulu okukyekenenya. teweralikira, kisobola okusulibwa nga kizingiddwa mu pad oba okusulibwa mu kabuyonjo.

jjukira nti okujjamu olubuo kukeeta embeera ezenjawulo mubakyala abenjawulo

Abakyala abasinga bakoma okufuna obubonero bw’olubuto enaku 5 nga bamaze okumira Misoprostol. Obubonero bwolubuto singa butandika okukendera era nebubula nga omazze okumira obuweke, ako kabonero kalungi nti tokyalina lubuto. [12]

Ebiva mukukozesa Mifepristone ne Misoprostol

Olumala Okukozesa Misoprostol, abakyala abamu bafuna obubonero buno okumala essaawa oba enaku [13]. Mulimu buno wammanga:

  • Omusujja
  • Embiro
  • Okusindukirirwa emeeeme oba okusesema
  • okulumwa omutwe
  • chills
EKIFANAYI- OBUBONERO 1

Okuwabula

Okwewala okuvaamu omusaayi oba okufuna ‘Infection”, kikulu nti wiiki eziddirira oba nga okuvaamu omusaayi kukendedde [14], okwegendereza bino wammanga

Ebintu eby’okwegendereza

  • Okukozesa paadi ngeri nnungi ey’okulondoola omusaayi gwo mu nnaku ezisooka ng’oggyamu olubuto, naye oluvannyuma osobola okukyusa n’odda ku tamponi oba akakopo akakwata omusaayi amangu ddala ng’owulira emirembe..
  • Ddayo mu mirimu gyo egya bulijjo (dduyiro, okukola emirimu gyo n’ebirala.) amangu ddala ng’owulira nga weetegese. [2]
  • Osobola okwegatta buli lw’oba weetegese; ekisinga obukulu kwe kuwuliriza omubiri gwo n’ebyo by’oyagala..
  • Nsaba okimanye nti osobola okuddamu okufuna olubuto nga wayiseewo akaseera katono nnyo ng’oggyemu olubuto, mu wiiki ntono nga bbiri.
EKIFANYI- EBYOKWEGENDEREZA NGA OMAZE OKUGYAMU OLUBUTO NE

Obubonero obulabula : Okunonya obuyambi

Bwofuna akamu kububoneor bbuno wammanga, kibera kulablwa nti oyinza okubera olina okusumbuyibwa era wetaaga okulaba omusawo mangu ddala

  • Bwojjuza pad bbiri oba nokusoba mu ssaawa 1 oba nobutawera okumala essaawa 2 oba nokusingawo
  • Omusujja gwa diguli 38 ogutakendera nga okozeseza Ibuprofen. Kakasa nakapima ebbugumu.
  • Omusujja gwa diguli 38 ogutakendera oluvanyuma lwa essawa 24. Kozesa akabima ebbugumu
  • Obulumi obutakenera nga okozeseza Ibuprofen.
  • Enfanana oba empunya y’omubiri gwo eyawukana kuyabulijjo oba okuwunya obubi.
  • Nga olina okumyika oluliba, okusiyibwa, emikono egizimbye, ensingo ne fesi, obeera olina alagye kuddagala. Osobola okukozesa antihistamine naye bwoba okalubizibwa mu kussa, awo alaggye abeera wamuzinzi era obera wetaaga okulabirawo omusawo [15]
EKIFANAYI_OBUBONERO OBUALABULA

Abawandiisi:

bya ttimu ya safe2choose n’abakugu mu carafem, okusinzira ku buwabuzi bwa Ipas 2020 ne 2012 n’obuwabuzi bwekitongole kyebyobulamu munsi yonna obwa 2015.

carafem eweleza obuyambi mu kujjamu olubuto nokusiba oluzalo olwo abantu basobole okukuma omuwendo gwabana bebagala

Ipas kyekitongole kyoka munsi yona ekisobozesa okufuna obuyambi bwokujamu olubuto nokusiba oluzalo

WHO kyekitongole kyebyobulamu munsi yona

[1] World Health Organization. Safe abortion: technical and policy guidance for health systems. Retrieved from: https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/;jsessionid=AB2B02D2E41FB4F6CF95B5F59B0A9AF4?sequence=1

[2] Ipas. (2020). Clinical Updates in Reproductive Health. L. Castleman & N. Kapp (Eds.). Chapel Hill, NC: Ipas. Retrieved from: https://www.ipas.org/wp-content/uploads/2020/08/ClinicalUpdatesInReproductiveHealthCURHE20-English-digital.pdf

[3] World Health Organization. Clinical guidelines for safe abortion. 2014. Retrieved from: https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/97415/9789241548717_eng.pdf?sequence=1

[4] National Abortion Federation. 2020 Clinical Policy Guidelines for Abortion Care. Retrieved from: https://5aa1b2xfmfh2e2mk03kk8rsx-wpengine.netdna-ssl.com/wp-content/uploads/2020_cpgs_final.pdf

[5] Guttmacher institute. Early Pregnancy Failure: Misoprostol May Be Good Alternative to Surgery. Retrieved from: https://www.guttmacher.org/journals/psrh/2006/early-pregnancy-failure-misoprostol-may-be-good-alternative-surgery

[6] Platais I, Tsereteli T, Grebennikova G, Lotarevich T, Winikoff B. Prospective study of home use of mifepristone and misoprostol for medical abortion up to 10 weeks of pregnancy in Kazakhstan. Retrieved from: https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pubmed/?term=Prospective+study+of+home+use+of+mifepristone+and+misoprostol+for+medical+abortion+up+to+10+weeks+of+pregnancy+in+Kazakhstan

[7] Gynuity. Efficacy of Misoprostol Alone for First-Trimester Medical Abortion: A Systematic Review. Retrieved from: https://gynuity.org/resources/efficacy-of-misoprostol-alone-for-first-trimester-medical-abortion-a-systematic-review

[8] Elizabeth G. Raymond, Caitlin Shannon, Mark A, Weaver, Beverly Winikoff. First-trimester medical abortion with mifepristone 200 mg and misoprostol: a systematic review. Retrieved from: https://www.contraceptionjournal.org/article/S0010-7824(12)00643-9/fulltext

[9] Livshits, Anna et al. Fertility and Sterility, Volume 91, Issue 5, 1877 – 1880. Ibuprofen and paracetamol for pain relief during medical abortion: a double-blind randomized controlled study. Retrieved from: https://www.fertstert.org/article/S0015-0282(08)00176-3/fulltext

[10] Gynuity. providing medical abortion in low-resource settings: an introductory guidebook. Second Edition. Retrieved from: https://gynuity.org/assets/resources/clinguide_maguide2nd_edition_en.pdf

[11] Planned Parenthood. How does the abortion pill work? Retrieved from: https://www.plannedparenthood.org/learn/abortion/the-abortion-pill/how-does-the-abortion-pill-work

[12] Gynuity. Self-Assessment of Medical Abortion Outcome using Symptoms and Home Pregnancy Testing. Retrieved from: https://gynuity.org/resources/self-assessment-of-medical-abortion-outcome-using-symptoms-and-home-pregnan

[13] National Abortion Federation. Expected Side Effects of Medical Abortion. Retrieved from: https://prochoice.org/online_cme/m2expected2.asp

[14] A.R. Davis, C.M. Robilotto, C.L. Westhoff, S. Forman, J. Zhang. Bleeding patterns after vaginal misoprostol for treatment of early pregnancy failure. Retrieved from: https://academic.oup.com/humrep/article/19/7/1655/2356520

[15] NHS. Risks-Abortion. Retrieved from: https://www.nhs.uk/conditions/abortion/risks/

[16] De Nonno LJ, Westhoff C, Fielding S, Schaff E. Timing of pain and bleeding after mifepristone-induced abortion. Retrieved from: https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pubmed/11239617

Okujjamu olubuto na okozesa obuweke

Obuyambi bwaffe