Empeke z’okuggyamu embuto mifepristone ne misoprostol tezirina bulabe era zikola bulungi. Ebiseera ebisinga zireeta ebizibu eby’akaseera obuseera byokka ebigenda amangu. Abantu mu bitundu by’ensi bingi bazikozesa nga tebalina bulabe ku lwabwe. Wadde empeke zino tezirina bulabe nnyo, amawanga agasinga gakyasaba ekiwandiiko ky’omusawo. Kino kiyinza okukaluubiriza abantu okuzifuna, era, oluusi, empeke zitundibwa mu ngeri etali nnungi.
Okuggyamu embuto mu bujjuvu era mu buwanguzi ng’okozesa empeke, ebiragiro ebituufu bye bino:
📄 5 lines
• Line breaks preserved
Empeke z’okuggyamu embuto mifepristone ne misoprostol tezirina bulabe era zikola bulungi. Ebiseera ebisinga zireeta ebizibu eby’akaseera obuseera byokka ebigenda amangu. Abantu mu bitundu by’ensi bingi bazikozesa nga tebalina bulabe ku lwabwe. Wadde empeke zino tezirina bulabe nnyo, amawanga agasinga gakyasaba ekiwandiiko ky’omusawo. Kino kiyinza okukaluubiriza abantu okuzifuna, era, oluusi, empeke zitundibwa mu ngeri etali nnungi.
Okuggyamu embuto mu bujjuvu era mu buwanguzi ng’okozesa empeke, ebiragiro ebituufu bye bino:
a) Empeke ya mifepristone 1 x 200 mg + empeke za misoprostol 4 x 200 mcg; oba
b) Empeke za misoprostol eza 12 x 200 mcg.
Mifepristone and misoprostol zisobola okutundibwa awamu mu paketi egatte, eberamu amaddagala gombi, oba okutundibbwa mungeri yanjawulo. Munsi ezimu, osobola kufuna misoprostol yekka.
Okuzuula Mifepristone mu Kitundu kyo
Mifepristone esinga kukozesebwa mu kuggyamu embuto oba olubuto oluvudemu lwoka. Mu nsi nnyingi omuli okuggyamu embuto mu mateeka, eddagala lino teriwandiisibwa mu butongole, n’olwekyo kiyinza okuba ekizibu okulifuna, ne mu malwaliro, mu bifo eby’obulamu, ne mu maduuka g’eddagala.
Okutwalira awamu eddagala lya Mifepristone liwandiikibwa omusawo era nga kizibu okulifuna ku kkawunta."
Ojja kwetaaga empeke 1 x 200 mg yokka okumaliriza okuggyamu olubuto obulungi. Oluusi, ddoozi (mg) y’empeke z’osanga ejja kuba ya njawulo, kale ojja kwetaaga okuddamu okubala omuwendo gw’empeke. Okugeza, singa osanga empeke za 100 mg zokka, ojja kwetaaga empeke 2 okutuuka ku ddoozi entuufu eya 200 mg
Mu nsi ng’okuggyamu embuto kuli mu mateeka ate nga n’eddagala lya mifepristone likkirizibwa, osobola okufuna empeke zino ng’oyita mu nkola y’ebyobulamu. Kino kitera okutegeeza okugenda mu klinika, mu ddwaaliro eddene oba mu ddwaaliro ly’ebyobulamu mu kitundu kyo erikuwa obuweereza bw’okuggyamu embuto. Mu bifo ebimu empeke zino za bwereere oba yinsuwa ezisasula, ate mu birala olina okusasula. Kisinziira ku mateeka agali mu nsi yo.
Bw’oba obeera mu nsi omuli okuggyamu embuto okukugira, oyinza okukyasanga mifepristone ng’oyita mu butale obutali butongole. Naye wegendereze, oluusi empeke ezitundibwa bwe ziti zibeera za bicupuli oba nga teziri ku mutindo. Kirungi okutuuka ku kitongole ky’omu kitundu ekyesigika ekiyinza okukuyamba okukakasa empeke eno nga tonnagimira.
Okuzuula Mifepristone mu Kitundu kyo
Misoprostol nnyangu okugisanga mu kitundu kuba ewandiisiddwa mu mawanga mangi ku mabwa mu lubuto, okuleetera okuzaala, oba okujjanjaba omusaayi oguvaamu oluvannyuma lw'okuzaala."
Osobola okusanga misoprostol mu malwaliro, mu bifo by’ebyobulamu, n’amaduuka g’eddagala. Mu nsi ezimu, osobola okugifuna mu maduuka g'eddagala nga tolina kiwandiiko kya musawo.
Bw'oba okozesa misoprostol yokka okuggyamu embuto, ojja kwetaaga empeke 8-12 zonna awamu, okusinziira ku wiiki ezibalirirwamu ez'olubuto lwo. Bwe kiba kisoboka, kirungi okumira empeke 12.
Gano ge gamu ku mannya ga misoprostol mu nsi ez’enjawulo: Cytotec, Misotrol, Prostokos, Mizoprotol, Cyrux, Cytil, Misoprolen, Miso-fem, Misogon, Cirotec, Misoplus, Zitotec, Misoprost, Cytolog, Gymiso, ne Oxaprost.
Mu nsi ezimu, empeke za misoprostol osobola okuzisanga nga zigatta wamu ne diclofenac. Eddagala lino liyitibwa Oxaprost, Oxaprost 75, ne Arthrotec. Tukuwa amagezi, buli lwe kiba kisoboka, okukozesa empeke ezirimu misoprostol yokka. Wabula bw’oba ofuna empeke ezirimu diclofenac, kebera mu Kitundu kyaffe eky’ebibuuzo ebibuuzibwa oba tuukirira ttiimu yaffe ey’okubudaabuda okufuna ebiragiro ku ngeri y’okuzikozesaamu.