Cytotec ya kugyamu lubuto: Bwona byewetaga okumanya

Waliwo ebika byempeke bingi nyo ezenjawulo ku katale era zifunibwa mungeri nyinji munsi yona. Cytotec zezimu kumpeke ezilabika. Woba oyagadde okumanya Cytotec bwakola, emiwendo, ekigero oba welisangibwa tusubiira endagiriro ejakuba yamugaso. Ebibuzo byona yogerako nababudabuda baffe ku yimeyilu tujakuba basanyufu okuyamba.

Cytotec empeke ezijamu olubuto kyeki?

image of cytotec pill packaging

Photo credit: Cytotec. Flickr

image of hexagonal cytotec pill

Photo credit: Cytotec. Flickr

image of circular cytotec pill

Photo credit: Cytotec. Flickr

Cytotec empeke ekozesebwa okujamu embuto paka ku saabiti 13. Cytotec egonza omumwa gwa nabana neletela ne nabana okwenyiga okusobola okujjamu olubuto. Ekolebwa Pfizer pharmaceutical. [1]

Cytotec ekola etya mu kujamu embuto?

Cytotec egonza omumwa gwa nabana nokwenyiga kwa nabana. Bino byona biletela okufulumya olubuto. Etandika okukola musawa emu nga ogyikozeseza newankubadde eyinza okutwala ezisingawo. [2]

Ekipimo kya empeke za Cytotec

Cytotec egyila mu kipimo kya 200mcg ela enkozesa esinzila ku banga lyolubuto.

Embuto ezili wansi wesabiiti mwenda, ekipimo kya cytotec kili 800mg ekitono enyo okukoma (ku 1600mcg oba obuweke munana.)

Embuto ezili wakati wa mwenda ne kumi nasatu, ekipimo kya cytotec kilimu 800mcg emilundi esatu (okukoma ku 2400mcg, oba obuweke kumi nabubili). [3]

Kipimo kyi ekya Cytotec kulubuto olli wansi wesabiiti 6?

Kumbuuto ezili wansi wesabiiti mukaga, ekipimo kya Cytotec ekyokukozesa zili 800mcg (Okukoma ku 1600mcg oba obuweke munana). Ebisela ebimu, kiba kilungi okubela nobuweke (obulala buna) okubukozesa. [3]

Kipimo kyi ekya Cytotec kulubuto olli wansi wesabiiti 9?

Kumbuuto ezili wansi wesabiiti mwenda, ekipimo kya Cytotec ekyokukozesa zili 800mcg ekyamansi enyo (Okukoma ku 1600mcg oba obuweke munana). Ebisela ebimu, kiba kilungi okubela nobuweke (obulala buna) okubukozesa. [3]

Kipimo kyi ekya Cytotec kulubuto oluli makati wesabiiti 9 ne 13?

Kulubuto oluli wakati wesabiiti 9 ne 13, ekipimo kya Cytotec kili obuweke bwa 800mcg mubipimo bisatu (Okukoma ku 2400mcg, oba obuweke 12). [3]

Ebeeyi ya Cytotec

Ebeeyi ya Cytotec egyakukyuka okusinzila ku kitundu mwobela. Awanga agenjawulo galina amateeka gaago kukyokugyamu embuto ela kino kikosa omuwendo oba ebeeyi ya Cytotec.

Wajakubelawo ebitongole ebija okuyamba okuyingiza empeke nga za kugabwa, osobola okukebela Women on Web ne Women Help Women okufuna obubaka obusingako ku buweke. [4]

Ngeli ki eyokumila Cytotec

safe2choose ekulagilila engeli yokumila Cytotec wansi wolulimi. Engeli enungi eyokukozesa obuweke kubuteeka wansi wolulimi nebuyingila mumubili mu dakiika asatu. Oluvanyuma lwedakiika asatu, ekisigade kyona, kimile namazi.

Oluvanyuma lwesawa satu nga okozeseza 800mcg, osobola okuddamu mungeli yemu. Bwoba wakukozesa doozi eyokusatu, olina okulinda esawa satu nga omaze okukozesa eyokubili. [3]

Obulabe obwa Cytotec

Bwokozesa Cytotec okujjamu olubuto, osobola okufuna okulumibwa mulubuto nokuvamu omusaayi. Kyabulijjo okufuna ememe, okusesema, okudukana, omusujja ne kyitengo.

Bibo bitela okukoma kusawa 24. [4]

Epeke ya Cytotec ejamu embuto efanana etya?

Cytotec kaweke atono, keelu, kansonda mukaga. Zilina ebigambi “searle” ne oba “1461”. [5]

Ofuna otya empeke ya Cytotec egyamu embuto

okubelawo kwa Cytotec empeke ezigyamu olubuto kintu ekisisinzila ku kiffo omuntu mwabela. Cytotec ekozesebwa kubulwade bwa alusa ela osobola okubufuna mumatundilo gedagala nga omusawo takuwandikide. Osobola okugisanga kumpi namadagala golubuto mu tundilo lyedagala. Bwoba tobufunye, wetaga omusawo okusoka okukuwandikila.

Kikakasidwa nti Cytoteli eli munsi zino [7]:
Armenia, Australia, Azerbaijan, Belgium, Belize, Benin, Bolivia, Burkina Faso, Cambodia, Cameroon, Cape Verde, China, Cote d’Ivoire, Dem. Rep. of Congo, Dominican Republic, Ecuador, Egypt, El Salvador, Gabon, Gambia, Georgia, Ghana, Guatemala, Guinea, Guyana, Haiti, Indonesia, Kenya, Kyrgyzstan, Lebanon, Lithuania, Malawi, Mali, Mexico, Morocco, Myanmar, Niger, Nigeria, Paraguay, Peru, Rwanda, Sierra Leone, South Africa, Thailand, Togo, Tunisia, Turkey, Uganda, United Kingdom, United States, Uzbekistan, Zambia

Guno omutimbagano eyinza okubela oyomugaso mu ku nonyeleza awokufunibwa kwa Cytotec mu kitundu. [6]

Oba osobola okwogelezeganya ne ababudabuda, baffe. nga bajja kusobola okuyambako okufuna omuweleza eyisigika okumpi nawe.

Abawandisi:

olwe kibina kya safe2choose no ku wagila abagezi ba carafem, okusinzila ku 2020 okulagibwa kwa Ipas ne 2012 ne 2014 okulagibwa kwa WHO.

carafem ewa amagezi agesigika kungeri eyekikugu mu kugyamu olubuto nekola yakizala gumba eletela abantu oku ezala abaana abatona nga babawade amabanga.

Ipas yenkola yoka ekozesebwa okwetolola mu bitongole okwetola munsi yona nga bikwatagana ku ngeli yoku gyamu olubuto eyesigika nenkola yakizala gumba.

WHO kitongole ekikola wamu ne United Nations ebivunanyizibwa ku bulamu bwabantu boona munsi yona.

[1] Uptodate. Misoprostol as a single agent for medical termination of pregnancy. Retrieved from: https://www.uptodate.com/contents/misoprostol-as-a-single-agent-for-medical-termination-of-pregnancy?search=cytotec&source=search_result&selectedTitle=2~117&usage_type=default&display_rank=1#H2428459676

[2] Allen R, O’Brien BM. Uses of misoprostol in obstetrics and gynecology. Rev Obstet Gynecol. 2009;2(3):159–168. Retrieved from: https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC2760893/

[3] Ipas. (2019). Clinical Updates in Reproductive Health. L. Castleman & N. Kapp (Eds.). Chapel Hill, NC: Ipas. Retrieved from: https://www.ipas.org/wp-content/uploads/2023/09/Ipas-Clinical-Updates-in-Reproductive-Health-CURHE23b.pdf

[4] Uptodate. Misoprostol: drug information. Retrieved from: https://www.uptodate.com/contents/misoprostol-drug-information?search=cytotec&source=panel_search_result&selectedTitle=1~117&usage_type=panel&kp_tab=drug_general&display_rank=1#F197173

[5] WebMD. Drugs and medications: cytotec. Retrieved from: https://www.webmd.com/drugs/2/drug-1786/cytotec-oral/details

[6] Women On Waves. Map Countries. Retrieved from: https://www.womenonwaves.org/en/map/country

[7] IPPF. Medical Abortion Commodities Database. Retrieved from: https://www.medab.org/advanced-search-multiple