Ffe bani era lwaki tulwanirira okujjamu olubuto okutalina buzibu?

safe2choose kitongole kyabyabulamu ebikwata ku kuzaala era nga memba wa kisinde kyensi yona kunsonga zezimu wamu n`okujjamu olubuto okutalina kabenje eri mukyala.

safe2choose kibanja kya ku mutimbagana/yintanenti ekiwa okubuddabuda eri abakyala abagala okujjamu olubuto era bwekiba kyetagisa netubasindika eri abantu abatendeke, ebakuggu, abayivu abawagira ensonga y`abakyala okwesalirawo.

Tulina ekibinja ky`abantu abogera enimi ezenjawulo okwetolola ensi yona, mulimu ba dokita, ba kansala,abakuggu mu byobulamu n`enkulakulana, abakolaganira awamu okukuwa ekisingako ku nsonga z`okujjamu olubuto. Tuyambako abakyala okukola era no kusalawo kwebaggala kunsonga y`ebyokuzala wamu n`emibiri jjabwe.

Ki safe2choose kyesobola okukuwa?

safe2choose ekuwa obubaka bwa sayansi wamu n`okubudabuda nga eyita ku email ne buterevu (Live chat) ku kujjamu olubuto nga okozesa eddagala wamu n`okulongosa.

Waliwo enkola ezenjawulo ezikozesebwa okukomya olubuto. Ku safe2choose tuteka essira ku kuwa obubaka ku kukozesa obuwekke wamu MVA/ okwoza mu lubuto mu sabiiti/wiiki 13 ezisooka.

Eri abakyala ebetaaga obuwekke obujjamu olubuto oba obuyambi obwenjawulo okulongosebwa, ba kansala baffe bajja kubasindika ku kiliniki eri okumpi

Bwoba olina ekibuuzo kyona ku buwereza bwaffe, tolwa ku kwatagana naffe. Tujja kuba basanyufu okukuyamba.

Ekilubirirwa kyaffe:

Okukwataganya abakyala okwetolora ensi yona nga tubawa obubaka obutukiridde kunsonga y`okujjamu olubuto nga bakozesa obuwekke obujjamu olubuto, basobole okukikola nga tebafunye buzibu kubulamu bwabwe

obweyamo bwaffe:

  • Tuwa obubaka nga tusinzira ku kujjamu olubuto okutalina kabenje nga tukozesa sayansi
  • Tuwa obuwereza bw`okubudabuda awatali kusasuza naye nga tukikola mungeri etalina buzibu,eyekyama,bawatali, kuteganyizibwa kusala musango, kusosola,
  • Tukola ekisoboka okukusindika eri ebitongole ebyesimbu, kunkola yokwesalirawo nga omuntu kinomu, bwekiba kyetagisiza
  • Tukolaganika naffe
  • Tuwa ekitibwa okusalawokwo ku bikwata kubulamu bwo