Okujjamu olubuto tekulina mutawana?
Okujjamu olubuto kye kyimu ku bikolwa abasawo ebitalina buzibu kumuntu nadala nga kikoledwa mu mitendela emitufu. Okufuna obuzimu na okkamu lubuto tekiweza katundu kamu 1 ku buli kikumi. At bwofuna obuzimu, kyangu nyo abasawo okuyamba amangu. [2]
Mulingo kyi omutuffu kukujjamu lubuto ogunkolela?
Okusalawo kunkola gyokozesa kisinzila ku bukulu bwolubuto. Bala ebanga lwomaze nga oli lubuto nga okozesa Kaliculata yaffe, olwo olyoke osalewo. Oja kwetaga nokumanya amateeka agafuga munsi yo, enkola ekuli okumpi, esente zolina ate nekyoyagala nga omuntu. Kyalila peegi yaffe eyo okukozesa empeke nga ojjamu olubuto no’kujjamu olubuto nekyuuma ekinuna oba peegi yaffe eyo kujjamu olubuto nga bakulongossa okumanya ebisingawo kuzino enkola.
Okujjamu olubuto kyetagisa sente meka?
Omuwendo ogwokujjamu olubuto gusinzila ekifo kyolimu nomulingo gwosazewo okukozesa. Tulina kubikwata kunsi enyinji. Kebela kubikwata kujjamu lubuto buli nsi awamu nempeke ezijjamu olubuto okunya kyi ekyikuli okumpi.
Okujjamu olubuto kuluma?
Kisinzila kumulingo gwokozeseza, bwokozesa empeke ezijjamu olubuto obanga ali munsonga ela obulumi bujanjabibwa ibuprofen. Okozesa okwoza munabaana bakusilisa ekifo kyebakolamu. Okumanya ebisinga awo, soma ku peegi yaffe eya empeke awamu nokwooza munabaana olyoke osalewo bulungi.
Nsobola okuddamu okufuma olubuto nga maze okujamu olubuto?
Nga tekiri kunkola gyokozeseza, bwojjamu olubuto mungeri entuffu tekigenda kendeeza bujiimu bwo, era kyangu okufuna olubuto olulala. Obujjimu busobola okudda mangu ddala nga mu nnaku 8 nga omazze okujjamu olubuto. Kiba kilungi okukozesa emilingo egyiziyiza okufuna olubuto bwoba nga tewetegese. Wuliliza omubili gwo osalewo ekisinga obulungi eli gwe. [3]
Mulingo kyi ogusinga okunkolela?
Bwotegela bulikikwata ku ngeli gyokozesa okujjamu olubuto, kikusobozesa okusalawo okuttufu ate okusinga eli gwe. Osobola okusoma ku ngeli bili ezokukozesa okujjamu olubuto olwansi wa wiiki 13 ku empeke awamu nokwooza munabaana, ela otukilile ba kansala baffe abasobola okukuyamba watali kusalil musango. [3]