safe2choose

Okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo (MVA) ne Okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo ekyamasanyalaze(EVA) – Okugyamu olubuto muddwaliro

Okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo (MVA) oba Okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna ekyamasanyalaze (EVA) bye bika by’okuggyamu embuto mu ddwaaliro ebiyinza okukolebwa okutuuka ku wiiki 14 (MVA) ne wiiki 16 (EVA) ng’oli lubuto. Amawulire gonna ge weetaaga osobola okugasanga ku muko guno. Bw’oba ​​okyalina ebibuuzo, tuukirira ttiimu yaffe ey’okubudaabuda.

Gabana

Enkola z'okugyamu olubuto nga okozesa ekyuuma ekinuuna kyeki?

Gloved hands with syringe, droppers, and two-bottle device on blue-striped background, illustrating vacuum aspiration abortion methods
Turquoise stylized machine with three tubes like tentacles on a white background, symbolizing vacuum aspiration.

Enkola z'okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna zitera okumanyibwa nga okwoza munabaana, ekyuuma ekinuuna ekigyamu olubuto, enkola z'okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna, oba okuggyamu embuto mu ddwaaliro.

Waliwo ebika bibiri eby’enkola z’okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna, ezisinga okukozesebwa ye MVA, oba okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo, ne EVA, oba okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna ekyamasanyalaze. Enjawulo enkulu wakati wa MVA ne EVA eri nti amasannyalaze gakozesebwa mu kugyamu olubuto mu EVA, era nga kisobola okukolebwa okutuusa nga wiiki 16 ezolubuto

Icon of a light blue heart with a teal medical cross overlapping it on the right side, suggesting themes of healthcare and compassion.

MVA ne EVA zombi nkola siza bulabe era nnungi mu kuggyamu embuto n’okuddukanya okuvaamu embuto. Enkola z’okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna zisemba ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kubanga zirina obulabe butono, za mangu, era zikola ebitundu ebisukka mu 98–99% bwe zikolebwa abasawo abatendeke. Enkola eno etwala eddakiika 5 ku 10 zokka, ng’abantu abasinga bafuna okulumwa mulubuto kutono n’okuvaamu omusaayi omutono, ate okuwona mu bujjuvu kitwala ennaku ntono. MVA ne EVA zirina akabi katono ak’okufuna ebizibu era tezikosaa kuzaala mu biseera eby’omu maaso. Ng’enkola ezikkirizibwa abasawo, zombi zeesigika era zikola bulungi mu kuggyamu embuto n’okuggyamu embuto bwe zikolebwa abasawo abatendeke.

Okuggyamu embuto n'Ekyuuma Ekinnuna Eky'ngalo (MVA) Kukola Kutya?

Enkola y'okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo (MVA) nkola siya bulabe ng'oggyamu olubuto mu ddwaaliro ekozesebwa okutuuka ku wiiki 14 ng’oli lubuto. Kikozesa ekyuma ekinuuna eky'ngalo okuggyamu olubuto era kitwala eddakiika nga 5–10.

Okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo (MVA) nkola siya bulabe wadde ng'oggyamu olubuto mwezi essatu ezisoka oba emwezi essatu wezitandikira okutuukira ddala ku wiiki 14 ez'olubuto. Ekkomo ku myaka gy'olubuto eri MVA litera okusinziira ku ddwaaliro awamu n'omusawo akola enkola eno.

MVA ekolebwa omusawo omutendeke mu kifo ekirabirira ebyobulamu. Mu kiseera ky’okulongoosa, omusawo akozesa ebikozesebwa omuli n’ekyuma ekisonseka ekisirise okuggyamu olubuto mu nnabaana. Okusinga, enkola eno ekolebwa nga bakozesa kalifoomu ng’omuntu atunula, era mu bujjuvu etwala wakati w’eddakiika 5 ne 10.

Bwe kikolebwa mu mbeera ezitali za bulabe era nga batendekeddwa, MVA ekola bulungi ebitundu 98–99% nga tewali buzibu, ekigifuula eky’okulonda ekyesigika mu kuggyamu olubuto mu kiseera ky’olubuto mumwezi essatu ejjisoka oba emwezi essatu ejjidako ng'ettandika ng'ogyamu olubuto.

Okuggyamu embuto n'Ekyuuma Ekinnuna Ekyamasanyalaze (EVA) Kukola Kutya?

Okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna ekyamasanyalaze (EVA) nkola ya kuggyamu lubuto mu ddwaaliro ng'ekozesa okunuuna okw'amasannyalaze. Tekirina bulabe, kyangu, era kisobola okukozesebwa okutuuka ku wiiki 16 ng'oli lubuto.

Enkola y'okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna ekyamasanyalaze (EVA) nkola siya bulabe era efaananako n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo (MVA). Esobola okukozesebwa ku mbuto ezituuka ku wiiki 16.

Kikolebwa omusawo omutendeke muddwaliro. Mu kiseera ky’okulongoosebwa, omusawo akozesa ebikozesebwa omuli n’ekyuuma ekinuuna ekyamasannyalaze okuggyamu olubuto mu nnabaana.

EVA yeetaaga amasannyalaze, kale eyinza obutabaawo mu bitundu byonna. Abasawo bayinza okukozesa enkola eno mu kifo kya MVA kubanga enkola eno esobola okukolebwa amanguko.

Ekyuma kya EVA kiwongana nyo kubanga amasannyalaze ge gakozesebwa okusobola okunuuna n’okuggyamu olubuto.

EVA emanyiddwa ng’enkola etali ya bulabe era eyeesigika nga tewali bulabe bwonna obw’ebizibu singa ekolebwa mu mbeera etaliimu buwuka abakugu mu by’obulamu abatendeke. Obulungi bwayo bwawukana okusinziira ku mbeera entongole, naye EVA etera okuloopebwa nti erina okukola obulungi bwa bitundu 99% nga ekoleddwa mu butuufu.

Kiki kye Nsaanidde Okukola Nga Sinnaggyamu lubuto n'ekyuuma ekinnuna?

Nga tonnaggyamu lubuto ne MVA oba EVA, olina okwebuuza ku musawo, okwetegereza ebyafaayo byo eby’obujjanjabi, n’okugoberera ebiragiro byonna eby’okuteekateeka, gamba ng’okumira eddagala eriweweeza ku bulumi oba eritta obuwuka.

Illustration of a calendar with circled dates, “>14” speech bubble, syringe, and test strips, symbolizing steps before vacuum aspiration abortion.

Ani Alina Ebisaanyizo by’Okuggyamu Olubuto ne MVA oba EVA?

MVA/EVA esobola okukolebwa ku bantu ssekinnoomu nga:

  • abeetaaga okuggyamu embuto okutuuka ku wiiki 14 ng’oli lubuto;

  • nga bafuna okuvaamu olubuto oba okuggyamu embuto mu bujjuvu era nga beetaaga okufulumya ebintu ebiri munnabaana;

  • bazuuliddwa nga balina olubuto olulimu ekizimba era nga beetaaga okusengulwa ebintu ebiri mu nnabaana; ne

  • kyetaagisa okufulumya ebiru mu nnabaana oluvannyuma lw'okuvamu olubuto okuziyiza ebizibu.

Ani atasaanidde kuggyamu lubuto n'ekyuuma ekinuuna?

Enkola zombi eza MVA ne EVA zitera okuba ez’obukuumi era nga zikola bulungi bwe zikolebwa abakugu mu by’obulamu abatendeke. Wabula ebimu ku biziyiza n’okwegendereza birina okulowoozebwako okukakasa obukuumi.

Nsaana kwetegeke ntya okuggyamu olubuto ne MVA oba EVA?

Okwetegekera enkola eno nga bukyali kiyamba okulaba ng’ofuna obumanyirivu obulungi n’okukendeeza ku bulabe obuyinza okubaawo. Wano waliwo emitendera emikulu gy’olina okulowoozaako nga tonnagenda kukola MVA oba EVA.

Illustration of a thoughtful woman with long hair, wearing a floral yellow top and blue pants. She touches her chin, next to a speech bubble with a question mark.

Ebibuzo ebitera okubuzibwa ku Kugyamu Olubuto n'ekyuuma Ekinuuna (MVA)

Okugyamu Embuto N'ekyuuma Ekinuunamu ne okugaziya n'okujjamu olubuto(D&E) zombi nkola za kwoza mu'nnabaana eziggyamu embuto ezitali za bulabe era nga nnungi, naye zaawukana okusinga mu ddi lwe zikozesebwa n’engeri gye zikolebwamu, ekiyinza okukosa obumanyirivu okutwalira awamu.

Ddi: Okuggyamu Embuto N'ekyuma Ekinnunamu (eky'engalo oba eky'amasannyalaze) kutera okukozesebwa mu lubuto olusooka, okutuuka ku wiiki nga 14–16 ng’oli lubuto. D&E etera okukozesebwa mu kiseera ew'okubiri eky'olubuto, ebisinga oluvannyuma lwa wiiki 14–16 n’okutuuka ku wiiki nga 24, okusinziira ku mateeka g’ekitundu n'ammateka g’eddwaliro.

Engeri gye kikolebwamu: Okuggyamu Embuto N'ekyuma Ekinnunamu kikozesa okusonseka okwempola mpola okuggyamu olubuto mu nnabaana. Enkola ya mangu ekolebwa mu ddwaaliro, emirundi mingi n’eddagala er'okubudaamya mu kitundu kyo, era tekyetaagisa kugaziya nnyo nnabaana. Olw’okuba D&E ekozesebwa ku lubuto olukulu, kizingiramu emitendera emirala ng’okugaziya omumwa gwa nnabaana mu bujjuvu n’okuggyamu olubuto ng’okozesa ebikozesebwa ebisonsekabwa mu kulongoosa (nga forcepsi) kubanga olubuto lukulu nnyo.

Obudde n’obumanyirivu bw’okuwona: Enkola zombi ntono era okutwalira awamu zirina ebiseera by’okuwona amangu. D&E eyinza okwetaagisa okuteekateeka omumwa gwa nnabaana ennyo, okutwala ekiseera ekiwanvu, era nga kizingiramu okukkakkanya oba okuziyiza obulumi obw’amaanyi bw’ogeraageranya n’okukozesa ekyuuma ekinuuna.

Blogs

Latest Posts on Pregnancy Confirmation

Explore our articles for more information about pregnancy confirmation and the gestational age calculator.

Emboozi entuufu okuva mu kitundu kyaffe

Zuula emboozi eziva ku mutima n'ebyo bye bayitamu eby'abantu ssekinnoomu abeesiga safe2choose. Obujulizi buno bulaga obunyambi n'okulung'amya kwetugaba nga bulaga enkosa y'empeereza zaffe.

Illustration of two women talking: one, a safe2choose counselor, with curly hair in teal floral dress, the other with long black hair in yellow floral dress sharing real stories from the community

Even though I was still very apprehensive, I decided to trust them and share my despair. To my surprise, I was warmly welcomed by the counselors and received all the guidance I needed.

I reached out here because I was desperate and didn’t know who to turn to. I had been searching on Google and found this wonderful team. Even though I was still very apprehensive, I decided to trust them and share my despair. To my surprise, I was warmly welcomed by the counselors and received all the guidance I needed. I was quickly referred to the appropriate place, where I was also treated with great care, and I was able to have my abortion in about a week. It was a very positive experience, with kind support and without judgment.

Anonymous, Buraziiri

Age: 40, October 2025

I don’t feel ready to have another baby. They inserted a copper IUD incorrectly, and I got pregnant.


I decided to have an abortion because I don’t feel ready to have another baby. They inserted a copper IUD incorrectly, and I got pregnant. My baby was born six months ago, I had postpartum depression, and it’s still hard to feel like I’m doing things right. I don’t think a new baby deserves all the stress from work, a small child, and a complicated relationship. The baby’s father didn’t want the pregnancy either.
After the abortion, I felt very guilty. I’m still sad about what happened because I tried to take care of myself and this still happened. I didn’t know what to do or where to go because abortion is illegal in my country. I found this page, and they helped me a lot and gave me contacts to make this a safe process, especially because I had the IUD and that complicated things.
If you’re in a similar situation, the best thing is to talk about it and cry as much as you need to let the grief out. I don’t think this is easy for anyone, especially if you’re a first-time mom.
Also, it’s better to be well informed about contraceptive methods and their side effects... I learned that you have to visit several doctors to get different opinions and inform yourself better. The copper IUD was inserted at my public health provider very soon after my C-section and didn’t protect me for even six months, and it caused this situation that I will never forget.

Anonymous, Bolivia

Age: 30, October 2025

In a country where choice is denied, discovering support reaffirmed the belief in personal freedom.

It was amazing to know that even in a country where we are told we have no choice, there are people out there that still believe in a persons right to choose what to do with their life. Keep up the great work!

Anonymous, Kosita Rika

Age: 29, May 2025

Nze mbasiima nnyo. Kakasa nti bajja kukulabirira bulungi, ne bw’oba oli wa. Ggwe alina okusalawo naye tojja kubeera wekka.

Okutya kwe kuwulira kwe nasooka okufuna nga nkizudde nti ndi lubuto. Naye oluvannyuma lw’okutuukirira safe2choose, nawulira nga ndi mutebenkevu era nga ndi mugumu nti bajja kunlungamya mu nkola. Enkola eno yali ya kyama nnyo era nga nnyangu, era mu butuufu ababuulirira bampa okufaayo kwe nnali nneetaaga. Nze mbasiima nnyo. Kakasa nti bajja kukulabirira bulungi, ne bw’oba oli wa. Ggwe alina okusalawo naye tojja kubeera wekka.

Anonymous, Mekisiko

Age: 28, July 2024

0/0

TUTUUKIRIRE

Tewalibuzibu Okusaba Obuyambi

Bw'oba ​​tofunye ky'onoonya oba nga weetaaga obuyambi obulala, tukusaba otuukirire ng'oyita ku mukutu gw'okubudaabuda n'emikutu egiriwo. Tusobola okuddamu ebibuuzo byo ebikwata ku lubuto, engeri y'okuggyamu embuto, oba okulabirira oluvannyuma lw'okuggyamu embuto – tutuukirire!

Bya timu ya safe2choose era nabawagizi abakugu ku carafem, okusinzilla ku kulungamya kw'okufayo kukujjamu embuto kwa WHO 2022; epipya ku ddwaliro mu byobulamu 2023 bya Ipas ne ebilungamya ku bya malwaliro ku fayo eri okujjamu embuto bya NAF.

safe2choose eyambibwa Olukiiko oluwabula ku by’obujjanjabi eyakolebwa abakugu mu by'obulamu ebyokwegata(SRHR)"

carafem ewa okufayo okwedembe n'obukugu nga ojjemu olubuto era entegeka ya maka abantu basobole fuga owudendo n'okuwa abaana babwe amabanga.

Ipas kitongole kya nsiyona ekyesigamye kuku gaziya okufuna okujjamu embuto okutali kwabulabe ne okufayo eri okulwanisa embuto.

WHO - ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna – kitongole kya njawulo mu kibiina ky’Amawanga Amagatte ekivunaanyizibwa ku by’obulamu by’ensi yonna.

NAF - ye Ekitongole eky'gwanga Ekyokugyamu Embuto - ekitongole ekyabakugu mu USA ekiyamba kujjamu embuto okutalikwabulabe, okwekakasibwa ne dembe lyobulamu.