kukebeza, okukakasa olubuto n`embaziso y`olubuto

obala otya sabiiti meka olubuto lweziwezeza

okumanya ebanga ly`olubuto lwo kikulu nnyo ,oba ogenda kulukuza oba kulujjamu.

Bwosalawo okulujjamu, ebanga ly`olubuto lyelisalawo enkola jjogenda okukozesa nga olujjamu.

Bwosalawo kulukuza ozaale omwana, ebanga ly`olubuto liyamba omuzalisa oba dokita okulaba oba olubuto/omwana akula bulungi. era kimanye nti olubuto lumala wakati wa sabiiti 38 ku 42 okuva olunaku lwewasemba okugenda munsonga z`abakyala. [1]

engeri ekyasinze obwangu kwekubala sabiiti/wiiki ne nnaku nga otandikira kulunaku lwewasemba okugenda mu nsonga zabakyala.

Kikulu nyo okubal okuva kulunaku olusoka lwewasembayo okugenda munsonga, Kino kikuyamba okumanya eggi welyafulumira era nerifuna enkwaso. [2]

Wegendereze bino wamanga tobala, nnaku/sabiiti nga otandikila:

– ku lunaku lwewegtta n`omusajja;

– olunaku lwottagenda munsonga;

– oba olunaku lwolowoza nti lwe wafuna olubuto luno.Kikulu no.

Bwoba weetaga obuyambi okubala ennaku/sabiiti /ebanga ly`olubuto, londa olunaku lwe wasemba okugenda mu nsonga wano wamanga mu mbaziso/kalikyulata.

Embaliso yolubuto

tekamu ennaku zomwezi lwewasemba okugenda mu nsonga zekikyala/okukulukuta

bw`oba tokuma n`okwegendereza ennaku ze ensonga zekikyala, tosobola kujukira ddi lwewasemba okuzifuna. Lowoza ku ki kyewali okola mukaseraako, wali ludawa?, wali nani? Bino olusi bikuyamba okujjukira olunaku lwenyini lwe ensonga ezasembayo lwezatandika. [3]

okukebera okulala okukakasa nti oli lubuto

1) Okukebeera omusulo: Kino kikolebwa nnyo, era kiberamu okebera obusimo bw’olubuto mumusulo. Okwewala ebiva mukukebera ebyobulima, okubebera kuno kukolebwa wakati wa wiiki bbiri oba nokusobamu nga weggase ewatali kweziyiza.

– Ekirungi ky’enkol: Kyalayisi ate osobola okukikolera ewaka.

– Obuzibu bwenkola: Totegeera bbanga olubuto lweluriko.

2) Okukebera Omusaayi: Enkola bbiri eziri wano :Okukebera omutindo gw’omusaayi (obusimo bw’olubuto), oba obungi bw’omusaayi (obungi bw’obusimo bw’olubuto mumusaayi.

– Ekirungi kunkola: Kyangu okutegeera olubuto oluto okusinga kukukozesa omusulo.

– Obuzibu bwenkola :Yabeeyi ate yetaaga mukugu.

3) Sikaani: Eno ekola amakulu nga olubuto luweza wiiki 4 okwambuka. Enkola eyamba nnyo nga tojjukira lwewasembayo kugenda munsonga.

– Ekirungi kyenkiola: Otegeera okubukulu bw;olubuto, osobola okutegeera olubuto oluli kungulu oba olubuto olunavaamu.

– Obuzibu: Kyabbeyi nnyo ate kyetaaga mukugu [4]

Okusalawo engeli yokukozesa nga osinzila ku banga lyolubuto

enkola n`engeri nyinji nyo ezokulondako naye zisinga kusinzira ku banga lya lubuto okusalawo jjewetaga. Okusalawo kuyinza n`okusinzira ku kitundu mwoli, okubelawo kw`ebyuma, n`okusalawo kwa omusawo omukugu.

ENGELI YOKUJJAMU OLUBUTO NGA ONSINZILA KUBANGA LYOLUBUTO

– obuweke bukozesebwa paka ku wiiki/sabiiti 13.

– MVA (okwoza mu lubuto) kukozesebwa paka ku wiiki/sabiiti 14.

– EVA (okwoza mu lubuto n`amasanyalaze) kukozesebwa paka ku wiiki/sabiiti 15.

– D&E(Okugaziya,n`ofulumya) kukozesebwa paka wiiki 14.

– okukusako ebisa kukozesebwa sabiiti/wiiki 16 n`okweyongerayo.

– D&C (okugaziya n`okukolokota) enkola eyadibizibwa, nesikizibwa MVA/EVA ne D&E. [1], [5]

safe2choose ewagira enkola y`obuweke obujjamu olubuto wamu ne MVA(okwoza mu lubuto) singa olubuto luba luli mu myezi 3 egisooka.

Abawandiisi:

bya tiimu ya safe2choose nga bayambidwako carafem okusinzila ku lippota za Ipas eza 2020 awamu nezekyitongole kyensi yona eza 2012 ne 2014.

carafem ewa obuwereza obwe kikugu era ku mutindo ogwawagulu ennyo okulaba nga abantu basobola okuwa amabanga agamala mu baana bebala , ekizzala guumbba.

Ipas kyekibiina kyoka eky`ensi yona ekitadde omulamwa ku gaziya okufuna obuwereza bw`okujjamu embuto ewatali kabenje ne enkola za kizala gguumbba.

WHO kitongole ekyenjawulo, nga kya UN ekikwasaganya ebyobulamu bwensi yona.

[1] World Health Organization. Safe abortion: technical and policy guidance for health systems. Retrieved from: https://apps.who.int/iris/bitstream/handle/10665/70914/;jsessionid=B7AEEBE4F34809D869F73B1ABA7F6221?sequence=1

[2] Megan Wainwright, Christopher J Colvin, Alison Swartz & Natalie Leon. Self-management of medical abortion: a qualitative evidence synthesis. Retrieved from: https://www.tandfonline.com/doi/pdf/10.1016/j.rhm.2016.06.008?needAccess=true

[3] Healthline. Tests Used to Confirm Pregnancy. Retrieved from: https://www.healthline.com/health/pregnancy/tests

[4] WebMd. Pregnancy Tests. Retrieved from: https://www.webmd.com/baby/guide/pregnancy-tests#1

[5] Ipas. Clinical Updates in Reproductive Health. 2019. Retrieved from: https://ipas.azureedge.net/files/CURHE19-aprilClinicalUpdatesInReproductiveHealth.pdf

[6] Ipas. (2020). Clinical Updates in Reproductive Health. L. Castleman & N. Kapp (Eds.). Chapel Hill, NC: Ipas. Retrieved from: https://www.ipas.org/wp-content/uploads/2020/08/ClinicalUpdatesInReproductiveHealthCURHE20-English-digital.pdf

Okujjamu olubuto nobuweke

Obuyambi bwaffe