obunene bw’ebiwandiiko
safe2choose

Empeke ezigyamu Olubuto oba okwoza munabaana: Eliwa entuufu gyendi?

Woman in floral dress with hands on hips facing breast pump machine, medication packets floating nearby, symbolizing abortion pill vs vacuum aspiration abortion.

Mu kiseera kino, tugeraageranya enjawulo eriwo wakati w'okuggyamu embuto n'empeke n'enkola ey'okwoza munabaana (okukozesa ekyuuma ekinuuna eky'ngalo oba eky'masanyalaze) mukugyamu olubuto. Kiri eri gwe okusalawo eriwa esinga gyoli okusinziira ku mbalirira yo, osobola otya okuzifuna, ekifo , sabiiti z'olubuto, n'okwesalirawo ku bubwo.

Okulonda enkola esinga obulungi ey’okuggyamu embuto

Okukozesa eddagala Okuggyamu embuto (MA) oba Okuggyamu embuto n’empeke
Okugyamu Olubuto mudwaliro oba Okwoza Munabaana
Okuggyamu embuto n’empeke (okukozesa eddagala okuggyamu embuto) kye ki?Okwoza mu lubuto kyeki?
Kitegeeza ki

Okuggyamu embuto n'eddagala, era ekimanyiddwa nga okuggyamu embuto n'empeke, nkola etalina bulabe ekozesebwa okugyamu olubuto lw’otayagala. Kizingiramu okumira eddagala eriyimiriza olubuto okukula ne lireetera nnabaana okukonziba, ne kiyamba okugyamu olubuto.

Waliwo engeri bbiri ezikkirizibwa abasawo ez’okuggyamu embuto n'eddagala mu ngeri etali ya bulabe:

  • Awamu Mifepristone ne Misoprostol

  • Misoprostol yokka

safe2choose ekuwa obulagirizi obutegeerekeka obulungi, obwesigama ku bujulizi ku ngeri gyosobola okuggyamu embuto n'eddagala mu ngeri ey’obukuumi ng’okozesa emu ku nkola zino.

Okwoza munabaana n'ekyuuma ekinuuna (MVA) nkola etalina bulabe era ekola bulungi mukuggyamu embuto, etera okukozesebwa mu kiseera ky'olubuto ekisooka oba ku ntandikwa y'ekitundu ekyokubiri.eky'olubuto.

Enkola eno esobola okukolebwa ne ngalo nga bakozesa ekyuma kya IPAS, oba n’ekyuma eky’amasannyalaze kimanyiddwa nga Ekyuuma Ekinuuna ekyamasanyalaze (EVA). Enkola zombi zikkirizibwa abasawo era zikola bulungi.

You can find detailed guidelines, including how the procedure works, what to expect, and other essential information, on our Osobola okusanga ebiragiro ebikwata ku nsonga eno, omuli engeri enkola gy’ekola, by’osuubira, n’amawulire amalala amakulu, ku lupapula lwaffe olwa "Ekitabo ekikwata ku kuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo(MVA)"

Ebirungi n’ebibi ebiri mu kuggyamu embuto n’empeke (okuggyamu embuto n'eddagala)Ebirungi n’ebibi by’okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinunna (okwoza munabaana)
Okukola obulungi

Enkola ya Mifepristone ne Misoprostol ekola bulungi ebitundu ebisukka mu 95%

Ebitundu 85-95% okukola obulungi ku nkola ya Misoprostol yekka

Okwoza munabaana kukola bulungi ebitundu 99%

Obutebenkevu

Telina bulabe

Telina bulabe

Okukebeera olubuto

Olubuto lulina okukakasibwa nga tonnaba kukozesa mpeke. Akativvi teketagisa.

Okukeberebwa kw’omusawo kyetaagisa, era kiyinza okwetaagisa okukeberebwa mu kattivvi okusinziira ku ddwaaliro.

Ekkomo ku wiiki z’olubuto

Empeke eziggyamu embuto zisobola okukozesebwa mu wiiki zonna ez'olubuto. Wabula omuwendo gw'empeke ezeetaagisa, omutindo gw'okulabirira, n'obulabe obukwatagana nabyo biyinza okwawukana okusinziira ku wiiki z'olubuto

Mu mbuto ezili wansi wa wiiki 13, empeke eziggyamu embuto zisobola okukozesebwa awaka awatali bulabe, era omuntu ali olubuto asobola okuggyamu olubuto nga ali yekka. Osobola okulaba obutambi bwaffe obwe nkola okumanya ebisingawo.

Mu mbuto ezisukka wiiki 13, okuggyamu embuto n'empeke kyetaagisa okulabirira okw’enjawulo n’enkola ey’enjawulo. Tusaba otuuke ku ttiimu yaffe ey'bankasala okufuna obuwagizi.

Okubalirira wiiki zo ez’olubuto, kozesa akuuma kaffe akabalirira embuto.

Ekyuuna Ekinuuna Eky'ngalo (MVA) kisobola okozesebwa okutuuka ku wiiki 14 ng'oli lubuto, ate Ekyuuma Ekinuuna Eky'amasanyalaze (EVA) Kisobola okozesebwa okutuuka ku wiiki 16.

Tusaba omanye: Ekkomo ku ssabiiti z’olubuto ezo'kwooza munabaana ziyinza okwawukana okusinziira ku ddwaaliro n’omusawo akola enkola eno.

Okumanya wiiki zo ez'olubuto, genda ku lupapula lwaffe olwa Akuuma akabala Olubuto.

Ekifo

Okuggyamu embuto n’empeke kuyinza okubaawo mu bifo eby’enjawulo, okusinziira ku bbanga ly’olubuto n’obulamu bw’omuntu. Emirundi egisinga, kibeera mu maka gaabwe mu kyama, oba wonna we bawulira nga tebalina bulabe era nga balina emirembe. Oluusi, okuggyamu embuto n'eddagala kukolebwa mudwaliro n'omusawo, ekifo omuntu gy’abeera okumala akaseera olwo omusawo oba mukwano gwe asobole okumukeberako okutuusa ng’enkola ewedde.

Enkola eno ekolebwa mu ofiisi y’omusawo, mu kliniki oba mu ddwaaliro. Ebika byombi eby’okwoza munabaana ekyuuma ekinuuna bisobola okukolebwa mu ddwaaliro ly’ebyobulamu erisookerwako, era teweetaaga kusulayo.

Ekoleddwa ani

Kiyinza okukolebwa omuntu omu yekka, ekitegeeza nti omukyala ow'olubuto, omuwala, oba omuntu ow'olubuto asobola okukikola yekka. Era kiyinza okukolebwa abasawo oba abakozi b'ebyobulamu mu kitundu.

Kiyinza okuweebwa awatali bulabe abasawo, abazaalisa, abayambi b’abasawo (PAs), n’abalala abatendekeddwa ekimala.

Obudde bw’ekikolwa

Ekiseera ky’okumaliriza okuggyamu olubuto n’empeke kiyinza okutwala ennaku ntono okutuuka ku wiiki ntono.

Kitwala eddakikka ntono nyo okumaliriza okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna

Ebisubirwa ebivaamu

Oluvannyuma lw'okumira empeke z'okuggyamu embuto, oyinza okutandika okuwulira obulumi n'okuvaamu omusaayi amangu ddala mu ddakiika 30, naye kiyinza okutwala essaawa 24 okutandika. Obulumi mu dirra okw'amaanyi kwa bulijjo. Osobola okukozesa eddagala eriweweeza ku bulumi mu nkola yonna. Okuvaamu omusaayi kuyinza okuba ng'okugenda mu nsonga oba okusingawo, era kuyinza okujja n'okugenda okumala wiiki nga 2 oba okusingawo.

Ebimu ku bizibu ebirala by’oyinza okufuna ng’omaze okumira empeke zino mulimu ekiddukano, okusindikirirwa emmeme, okusesema, kamugulunze, okulumwa olubuto, okulumwa omutwe, omusujja n’empewo. Bino bitera okuggwaawo mu ssaawa 24 oluvannyuma lw'okuweebwa ddoozi esembayo eya misoprostol.

Abantu abasinga bajja kuvaamu omusaayi n’okuwulila obulumi nga baggyamu olubuto n’oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna. Obubonero buno butera okutereera mu nnaku eziddirira nga enkola ewedde, naye kiyinza okutwala wiiki 1 ku 2 okuvaamu omusaayi, amabala n’obulumi okukoma ddala.

Obuzibu/Obulabe

Obuzibu obuyinza okuvaamu mulimu: okuvaamu omusaayi omungi, yinfekisoni, okugenda mu maaso n’olubuto, n’okuggyamu embuto obutaggwa.

Obuzibu obuyinza okuvaamu mulimu: okuvaamu omusaayi omungi, yinfekisoni, okulumwa nnabaana n’ebitundu ebiriraanyewo, enkola y’okuggyamu embuto obutaggwa, okugenda mu maaso n’olubuto.

Omuwendo

Okutwalira awamu, okuggyamu embuto n’empeke kya bbeeyi ntono okusinga okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna kubanga kyetagisa okugula empeke zokka. Tekyetaagisa kukola akatiivi akayinza okutwala ssente nnyingi. Omuwendo gwennyini ogwa mpeke gujja kwawukana nnyo okusinziira ku kifo n’okumanya oba empeke zino zisangibwa mu dduuka ly’eddagala nga tekyetaagisa bbaluwa ya musawo oba zisobola okuweebwa ng’olina foomu y’omusawo yokka

Okugyamu olubuto n'ekyuuma ekinuuna (okwoza munabaana) kya beeyi nyo okusinga okuggyamu embuto n'empeke kubanga oluusi kyetaagisa okukeberebwa okw’enjawulo (nga akatiivi ), n’omusawo omukugu okukola enkola eno. Omuwendo gwe sente gwennyini ogw’okugyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna gujja kwawukana nnyo okusinziira ku kifo n’amateeka agakwata ku kuggyamu embuto.

Okulabirira oluvannyuma lw’okuggyamu embuto

Okuddamu okugenda mu ddwaaliro oluusi kirungi okukakasa nti okuggyamu embuto kwakola, naye tekikwetaagisa bulijjo.

Olina okutuukirira omusawo bw’oba ​​olina obubonero obukulabula, gamba ng’okuvaamu omusaayi omungi, omusujja, obulumi obw’amaanyi, obubonero bw’yinfekisoni oba bw’oba ​​olowooza nti okyali lubuto.

Okukebera olubuto mu musulo kulina okulaga nti tolina lubuto nga wayise wiiki nga 4 ku 5 oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto obulungi n’empeke.

Abantu abasinga basobola okudda mu mirimu gyabwe egya bulijjo nga bawulira nga beetegefu.

Ebisingawo ku ndabirira oluvannyuma lw'okuggyamu olubuto osobola okubisanga ku mukutu gwaffe ogw'okuggyamu embuto n'empeke oba mu bibuuzo byaffe ebitera okubuuzibwa.

Okuddamu okukyalira abasawo oluusi kuweebwa oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto mu ddwaaliro, naye tekikwetaagisa.

Abantu balina okutuukirira eddwaaliro lyabwe singa bafuna: okuvaamu omusaayi omungi, omusujja, obulumi obw’amaanyi, obubonero bw’okukwatibwa yinfekisoni oba olubuto okugenda mu maaso.

Okukebera olubuto mu musulo kijja kulaga nti tewali lubuto nga wayise wiiki 4-5 oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto.

Abantu abasinga basobola okudda mu mirimu gyabwe egya bulijjo nga bawulira nga beetegefu oluvannyuma lw’okuggyamu embuto mu ddwaaliro.

Osobola okusanga ebisingawo ku ndabirira oluvannyuma lw'okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna ku "Ekitabo ekikwata ku kuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo(MVA)" oba mu bibuuzo ebitera okubuuzibwa.

Enkola z’okuziyiza okuzaala

Engeri ezisinga ez'okuziyiza okuzaala zisobola okutandika amangu ddala nga bamaze okuggyamu embuto mu by'obujjanjabi.

Okuzuula enkola entuufu ez'okuziyiza okuzaala z'oyagala, genda ku findmymethod.org

Engeri zonna ez'okuziyiza okuzaala zisobola okutandikibwa amangu ddala oluvannyuma lw'enkola y'okuggyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna.

Okuzuula enkola entuufu ez'okuziyiza okuzaala z'oyagala, genda ku findmymethod.org

Thoughtful woman with braided hair, colorful earrings, and patterned top and bangles ponders abortion FAQs with a question mark in speech bubble.

Ebibuzo ebitela okubuzibwa

Nedda, bwe kikolebwa nga okozesa enkola ezikkakasibwa, okuggyamu embuto tekirina bulabe wadde. Okuggyamu embuto n’empeke n’enkola ezikolebwa mu ddwaaliro nga okugyamu embuto n'ekyuuma ekinuuna eky'ngalo (MVA) zombi zikola bulungi era tezitera (mu bitundu ebitasuka 1%) bivaako ebizibu eby’amaanyi. Mu butuufu, okuggyamu embuto tekulina bulabe n'okusinga enkola nnyingi ez’obujjanjabi eza bulijjo, nga mw’otwalidde n’okuzaala.

Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kigamba nti okuggyamu embuto kifuuka ekitali kya bukuumi oba ekykobulabe singa kikolebwa omuntu atalina kumanyi kutuufu kukyo oba mu kifo ekitagoberera mutindo gw’obusawo. Ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna (WHO) kiwagira okuggyamu embuto okweddukanyizibwa omuntu kinoomu nga akozesa empeke ng’amawulire amatuufu agaliwo. safe2choose ewa endagiliro eyesigika ku nkola zombi.

Okufaananako n’enkola yonna ey’obujjanjabi, wayinza okubaawo obulabe, naye tebutera kubaawo nnyo era ebiseera ebisinga nnyangu okujjanjaba. Ebimu ku byokulabirako by’ebizibu ebivaamu mulimu okuggyamu olubuto okutaaweddeyo, okuvaamu omusaayi omungi, oba alergy eri empeke ezo. Okumanya obubonero obulabula ne ddi lw’olina okunoonya obuyambi kikulu. Laba endagiriro yaffe oba tuukirira tiimu yaffe eyamba okumanya ebisingawo.

Gyebiva:

[1] "Abortion care guideline." World Health Organization, ‎2022, iris.who.int/handle/10665/349316. Accessed July 2025.

[2] Raymond, E.G., Grimes, D.A. "The comparative safety of legal induced abortion and childbirth in the United States." National Library of Medicine, 2012, Feb;119(2 Pt 1):215-9, pubmed.ncbi.nlm.nih.gov/22270271/. Accessed July 2025.

[3] Jackson, E., et al. "Clinical Updates in Reproductive Health." Ipas, 2023, www.ipas.org/wp-content/uploads/2023/09/Ipas-Clinical-Updates-in-Reproductive-Health-CURHE23b.pdf . Accessed July 2025.

EBIWANDIKO

Weekenneenye ebiwandiiko byaffe emipya

Tekilina buzibu okusaba obuyambi

Teweganya Kututukirira.

Singa wetaga obubaka obulala oba tewafunye kyewabade ononya, tweganya kututukirira kulupauula lwaffe olubulilira ne kumikutu gyaffe egyempuliziganya

Contact Safe2Choose counseling image

Bya timu ya safe2choose era nabawagizi abakugu ku carafem, okusinzilla ku kulungamya kw'okufayo kukujjamu embuto kwa WHO 2022; epipya ku ddwaliro mu byobulamu 2023 bya Ipas ne ebilungamya ku bya malwaliro ku fayo eri okujjamu embuto bya NAF.

Safe2choose eyambibwa Olukiiko oluwabula ku by’obujjanjabi, eyakolebwa abakugu mu by'obulamu ebyokwegata(SRHR)

carafem ewa okufayo okwedembe n'obukugu nga ojjemu olubuto era entegeka ya maka abantu basobole fuga owudendo n'okuwa abaana babwe amabanga.

Ipas kitongole kya nsiyona ekyesigamye kuku gaziya okufuna okujjamu embuto okutali kwabulabe ne okufayo eri okulwanisa embuto.

WHO - Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna -kitongole kikugu ekya United Nations ekivunanyizibwa ku byobulamu mu nsiyona

NAF - Ekibiina ekigatta abaggyamu embuto mu ggwanga - ekitongole ekyabakugu mu USA ekiyamba kujjamu embuto okutalikwabulabe, okwekakasibwa ne dembe lyobulamu.