safe2choose

Okugyamu olubuto n'obuweke

Okukozesa Misoprostol Okuggyamu Olubuto Olutavuddemu

5 min read

December 8, 2022

safe2choose Team

An uterus experiencing a missed abortion and the misoprostol pill highlighted

Okuggyamu olubuto olutavuddemu nakyo kika kya kufiirwa lubuto, era kimanyiddwa nga olubuto okuvaamu lwoka nga sikwagala kwo. .Kibaawo ng’olubuto telukya kukula  naye nga lukyali mu nnabaana.

Mu mbeera y’okuggyamu olubuto olutavuddemu, osobola okola ekimu ku bisatu: okulinda, okukozesa eddagala nga misoprostol okusobola okugyamu ebirimu mu nnabaana, oba enkola ya manual vacuum aspiration n’omusawo omutendeke. Enkola satu zona za magezi, era buli muntu yekennyini yayinza okwesalilawo. Enzirukanya y’okuggyamu embuto ezitavuddemu nga okozesa eddagala lya misoprostol ejja kwogerwako mu kitundu kino.

Omanya otya nti olubuto teluvuddemu?

Olubuto olutavuddemu lutela okuzuulibwa omusawo mu kiseera ky’okwekenneenya okwa bulijjo nga bayita ku kukola akatiivi. Emirundi egisinga, tewabawo bubonero bwonna, naye okubula kw’obubonero bw’olubuto obwaliwo emabegako kuyinza okuba ekimu ku biyinza okutegeeza. Oluusi, kiwerekerwako amazzi aga kitaka oba n’okuvaamu omusaayi omutono.

Bw’​​oteebereza nti olubuto teluvuddemu, oba nolaba obubonero bw’okufiirwa olubuto  nga (okuvaamu omusaayi mu bukyala n’okulumizibwa wansi mulubuto), kyandibadde kirungi nogenda  ewa omusawo akukebere.

Misoprostol kye ki?

Misoprostol ddagala erikozesebwa okuziyiza amabwa mu lubuto kubanga likendeeza ku asidi akolebwa mu lubuto. Litera okuweebwa abantu abakozesa eddagala erya bulijjo erya NSAIDs (eddagala eriweeweza obulumi), nga ibuprofen. Mu mbeera eno, akuuma olubuto obutafuna mabwa era okukozesebwa mu kuzaala, okuggyamu embuto mu nkozesa ye ddagala nga bwe kinyonyondwa mu kitundu ekiddako wansi.  

Misoprostol ku kuggyamu olubuto oluba lutavuddemu.

Newankubadde nga liwandiikiddwa ng’eddagala eriweweeza ku mabwa mu lubuto, litera okukozesebwa ku mbeera z’okuggyamu embuto ezitavuddemu. Kino kitera okubaawo ng’olubuto lusaliddwawo nti terukyakula, bwe bayita mu kukebera amaloboozi aga ‘ultrasound’. Ebiseera ebisinga, omuntu abela tanatandika kuvaamu musaayi.

Misoprostol ddagala lya bulijjo kubanga, likozesebwa ku mabwa mu lubuto. Mu bifo ebimu okwetoloola ensi yonna osobola okuligula mu madduka ge’ddagala ate mu bitundu ebirala oyinza okwetaaga ebaluuwa y’omusawo okulifuna.

Obulung’amu bwa misoprostol

Dozi emu eya misoprostol (empeke 4 eza 200mcg, oba 800mcg zonna awamu) ku kuggyamu olubuto oluba teluvuddemu esobola kusobozesa abantu nga bibiri ku bisatu okumaliriza obulungi okugyamu embuto. Abantu abamu bayinza okwetaaga ddoozi endala eza misoprostol enkola eno okusobola okuggwa. Oyinza okusoma ku nsengeka mu bujjuvu wano.

Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO), misoprostol eyinza okukozesebwa mu ngeri emu ku zino; (nga esaanuuse mu kamwa, wansi w’olulimi oba butereevu mu bukyala) okusobola okuggyamu olubuto  oluba teluvuddemu. Buli muntu ssekinnoomu yesalilawo ekimusingila obulungi. Naye nga kyandi badde kirungi singa empeke ebela emiridwa mu kamwa mwokka  naddala mu nsi nga kimenya mateeka okuggyamu embuto kuba tekisobola kuzulibwa oba okusangibwa, ate nga ebisigalira by’empeke zino biba bisobola okusangibwa mu bukyala wadde nga wayisewo ennaku ntono ng’omaze okuzimila.

Engeri gye Likola

Bw’oba ​onakozesa eddagala lya misoprostol okugyamu olubuto oluba teluvuddemu, kisuubilwa nti ogya kuvaamu omusaayi okufaananako n’ekyo omuntu ky’ayinza okufuna singa olubuto luba luvuddemu lwooka. Bw’oba ​​osobola okufuna eddagala lino ku bubwo, tekiba kya bulabe okulikozesa. Ate nga mu mbeera ezimu, empeke ekulagirwa omusawo okugyamu ebili munabaana

Yambala paadi enzito obulungi okukakasa nti weetegese okuvaamu omusaayi ekiletelwa eddagala lino. Obubonero ng’okuvaamu omusaayi mu bukyala n’obulumi obwa cramps bitera okutandika mu ssaawa emu oba nnya ng’omaze okumira eddagala lino.

Okuvaamu omusaayi ekiva ku misoprostol okuggyamu olubuto olutavuddemu kiyinza okufaananako n’eky’okugenda mu nsonga, naye omusaayi guba mungiko ku gw’omanyidde. Okuvaamu omusaayi kutera okumala wiiki emu oba bbiri naye era kuyinza okumala ebbanga eddeneko. Wasobola okubawo ebiseera ng’otandika mangu oba nga oyimirira mangu mu nsonga za abakyala. Obulumi bwo mudiira butera okusinga okubeera obw’amaanyi mu ssaawa abiri mu nnya (24) ezisooka oluvannyuma lw’okukozesa misoprostol naye kuyinza okubaawo nga bwekizikila okumala ennaku eziwerako. Nyiga wano okumanya ebisingawo ku by’osuubira ng’omira empeke zino.

Ebizibu ebivaamu

Ebizibu ebitera okuva mu misoprostol mulimu:: 

  • ekkidukano,
  • okulumizibwa mu diira n’obulumi 
  • Empewo n’omusujja 

Obulabe bw’okukozesa eddagala ly’ okuggyamu embuto eziba tezivuddemu.

Obulabe obuli mu kukozesa misoprostol okugyamu olubuto olutavuddemu buyinza okwefaananyirazako n’obulabe omuntu bw’afuna okuvaamu olubuto mu buttoned yeka nayeka. Waliwo akabi k’okuvaamu omusaayi omungi,okukwatibwa yinfekisoni, n’obulabe nti luyinza obutavamu mubujjuvu era nga kyetaagisa enkola yokukozesa ekyuuma ekinuuna.

Ddi lw’olina okufuna obuyambi obw’amangu?

Bw’oba ​​olina ekimu ku bizibu bino oluvannyuma lw’okumira misoprostol, weebuuze ku musawo wo mu mangu ddala:

  • Omusujja n’okuwulira empewo ebimala essaawa ezisukka mu 24 oluvannyuma lw’okumira misoprostol.
  • Amazzi amakyafu agafuluma mu bukyala oba okuwunya obubi;
  • Omusaayi omungi ogusobola okunnyika paadi bbiri oba okusingawo buli ssaawa okumala essaawa bbiri ez’omuddiring’anwa (paadi nnya ezijjuvu mu ssaawa bbiri); ne/oba
  • Kamugulunze, okulumwa olutwe, oba okuwulira ng’ozirika, ekiyinza okuba akabonero akalaga nti omusaayi gukendedde mu mubili.

Sources

  • “Patients Taking Misoprostol Misunderstood: How to Manage Patients with Miscarriages.” Inside Patient Care, 2015. Accessed November 2022.

  • "Misoprostol Medication for Managing Miscarriage.” VeryWellFamily, 2022, Accessed November 2022.

TUTUKIRIRE

Tutukirire buli lw'oyagala

Bw'oba ​​weetaaga ebisingawo oba nga tofunye ky'onoonya, tutuukirire ng'oyita ku mukutu gwaffe ogw'okubudaabuda n'emikutu gy'empuliziganya.