Okuggyamu embuto kibikkiddwa mu nfumo, era kiyinza okuba ekizibu okumanya amazima. Okugeza tekirina bulabe okuggyamu embuto ezisukka mu lumu? Ekimu ku bifumo ebikwata ku kuggyamu embuto kwe kuba nti omuntu gy’akoma okuggyamu embuto, enkola y’okuggyamu embuto gy’ekoma okuba ey’akabi, era n’emikisa gy’omuntu oyo gy’akoma okufuna olubuto. Kitwale nti, okuggyamu embuto kwonoona omubiri mu ngeri efuula okwongera okuggyamu embuto kuzibuwala oba ezitasoboka.
Tekinnamanyika lufumo luno gye luva, naye kyetaagisa nnyo eri abo abanoonya okuggyamu embuto omulundi ogw’okubiri oba okusingawo okumanya ekituufu ku nkola zino, n’engeri gyezitalina mitawana.
Okuggyamu olubuto Olusukka Mu Lumu
Mu Bungereza, omuntu omu ku buli basatu abalina nnabaana ajja kuggyamu olubuto, era ekitundu ekirala kimu kya kusatu ku bano bajja kuggyamu embuto ezisukka mu lumu. Mu Amerika, abantu nga 50 ku buli 100 abanoonya okuggyamu embuto baba baggyamu dda olubuto.
Waliwo ensonga nnyingi lwaki omuntu ayinza okunoonya okuggyamu embuto ezisukka mu lumu, omuli okulemererwa, oba obutafuna, ngeri ndala ez’okuziyiza okuzaala, ebintu ebitaataaganya obulamu ebikosa enkozesa y’engeri endala ez’okuziyiza okuzaala, obutasomesebwa mu bujjuvu ku by’okwegatta, n’obutabanguko mu by’okwegatta. Mu ngeri y’emu, omuntu ayinza okulowooza nti mwetegefu okufuna olubuto n’akyusa endowooza ye; okwegatta, okufaananako n’obulamu, kuzibu era kulina ensonga nnyingi era tekisoboka bulijjo kwetegeka. Okuggyamu embuto kiwa eky’okuddako ekitali kya bulabe eri abo abakyetaaga.
Abakola ku by’obulamu balina obwesige nti abantu abaggyamu embuto mu bifo ebilungi ebiseera ebisinga tebalina bizibu bya kuzaala mu biseera eby’omu maaso, nga tebannazaala, oba ebirala eby’obujjanjabi. Okuzaala kukomawo nga wayise ennaku nga 8 ng’oggyemu olubuto, ne bw’oba ojjemu nyinji. Buli kuggyamu embuto kuyinza okutwalibwa ng’okwawukana ku bulabe bwe kuyinza okuba nabwo ku mbuto ez’omu maaso. Abantu abanoonya okuggyamu embuto emirundi mingi basobola okuba abakakafu nti enkola eno terimu bulabe kwenkana omulundi ogusooka ng’emulundi emulala gyonna.
Bulijjo wabaawo akabi ng’olina enkola y’obujjanjabi, omuli n’okuggyamu embuto ng’abakulongoosa, naye okuggyamu embuto tekilina bulabe bweyongedde okusinga enkola endala yonna. Mu Bungereza ne mu kiseera kino nga tuwandiika bino mu Amerika, tewali kkomo mu mateeka ku muwendo gw’embuto omuntu omu z’akkirizibwa okuggyamu. Singa waaliwo akabi ak’amaanyi kino tekyandibadde bwe kityo.
Okuggyamu embuto kugelageranya nokuzaala nga togenderedde
Emirundi egisinga obungi, okuzaala nga togenderedde kuba kwa bulabe okusinga okuggyamu embuto ezisukka mu gumu. Wadde ng’ebizibu ebiyinza okuva mu kuggyamu embuto mu nneewulira, mu birowoozo, n’omubiri tebirina kwelabilwa, waakiri bikwatagana n’eby’okuzaalibwa nga togenderedde.
Okufuna embuto n’okuzaala bikola kinene nnyo ku mubiri gw’omuntu, ne bireka abamu okwonooneka okumala ebbanga eddene oba okutasobola kuddabirizibwa. Mu butuufu, omuwendo gw’abantu abafa nga bazaala gusinga nnyo omuwendo gw’abafa olw’enkola y’okuggyamu embuto mu mateeka; okunoonyereza okumu kwazuula nti omuwendo gw’abafa mu bantu abazaala nga balamu gwali 8.8 ku buli 100,000, okusinga 0.6 ku buli 100,000 olw’okuggyamu embuto mu ngeri egenderere. Mu ngeri y’emu, ebizibu by’obujjanjabi ebikwatagana n’embuto omuli UTI n’ebizibu by’obulamu bw’obwongo bitera okubaawo abo abasalawo okuzaala omwana omulamu okusinga abo abaggyamu embuto.
Okulabirira omwana kizibu kinene nnyo ku bikozesebwa mu nneewulira n’ebirowoozo naddala eri abo abava mu maka agafuna ssente entono, oba abatalina muntu yenna asobola kubayamba kukuza mwana. Abaana abazaalibwa nga tebagenderedde batera okuyingira enkola yokulabirirwa, obwavu, nokutawaanyizibwa embeera zobulamu bwomutwe ngokwennyamira oba okweraliikirira. Abazadde abazaalibwa nga tebagenderera nabo batera okuwulira nga balemeddwa era bafuna situleesi mu nneewulira.
Okusosolebwa okuli mu kuggyamu Embuto ezisukka Mu Lumu
Waliwo okusosolebwa kungi okwetoloola kukuggyamu embuto naddala ku abo abanoonya ezisukka mu lumu. Waliwo obutategeera nti abantu abasinga obungi abaggyamu embuto ezisukka mu emu bakozesa enkola eno ng’engeri yaabwe enkulu ey’okuziyiza okuzaala. Mu butuufu, okunonyereza kulaga nti ka kibeere nti abasoose oba nedda, abanoonya okuggyamu embuto bamanyi engeri endala gye bayinza okukozesa, n’akabi akali mu by’omwoyo n’omubiri akakwatagana n’okuggyamu embuto. Omuntu ne bw’aba asalawo okukozesa okuggyamu embuto ng’ensibuko ye yokka ey’okuziyiza okuzaala, waliwo ensonga nnyingi nnyo ez’embeera z’abantu eziraga lwaki kino kiyinza okuba.
Okusosolebwa kulwokuggyamu embuto okw’engeri yonna kwongera okusirika okwetoloola enkola y’okuzaala era ne kuteeka abantu abalina nnabaana mu mbeera enzibu oba ez’akabi. Wadde nga okuggyamu embuto ezisukka mu emu kya bulijjo nnyo, abo abasalawo kuno tebatera kwogera ku bumanyirivu bwe bayitamu olw’okutya okugobwa. Okuggyamu embuto nkola ya bulamu, era si kya bwenkanya abantu okuwalirizibwa okusirika nga basalawo ku bulamu bwabwe obw’obuntu.
Okusobola okuyamba okuggyamu embuto ezisukka mu lumu, tusobola okukyusa olulimi lwaffe. Omukutu gwa 2PlusAbortions guwa ebikozesebwa bingi ku ngeri y’okukola kino. Okwogera ku kuggyamu embuto mu bungi tekikoma ku kuzza bumanyirivu bwa bantu mu mbeera ya bulijjo naye era kitangaaza ku mazima amalala agakwata ku kuggyamu embuto; okuggyamu embuto si kintu kyomu wabula nkola ezibeerawo mu bukadde n’obukadde bw’abalala, mu ngeri nnyingi ez’enjawulo, eri abantu bangi ab’enjawulo. Mu ngeri y’emu, okwewala ebigambo ‘okuddamu okuggyamu embuto’ kituyamba okukyusa endowooza yaffe ku ani ayinza okuba ng’anoonya okuggyamu embuto ezisukka mu lumu. ‘Okuddingana’ kitegeeza nti oyo anoonya okuggyamu embuto tayize ngeri ya kwewala mbeera eyo, oba nti tebasobola ‘kumenya nsengekera y’okuggyamu embuto’ byombi si bya bwenkanya era si bituufu. N’ekisembayo, okwewala ebigambo ‘okuggyamu embuto eziwera’ kiyamba okumenyawo okusosola wakati wa ‘abantu abalungi’ abaggyamu olubuto lumu ne ‘abantu ababi’ abaggyamu embuto eziwera.
Okugenda mu maaso
Okuggyamu embuto ezisukka mu emu kitera okubaawo okusinga abantu bwe bayinza okukkiriza. Nga tutondawo obuwangwa mwe tusobola okwogera ku kuggyamu embuto mu lwatu era mu bwesimbu, okuvumwavumwa kwe kutandika okwawukana.
2plusabortions. (2022). Why Would Anyone Have More Than One Abortion? — 2 + Abortions Worldwide. 2 + Abortions Worldwide. Retrieved 11 July 2022, from https://www.2plusabortions.com/why-people-have-abortions.
2plusabortions. (2022). 6 Free & Easy Ways to Fight Stigma — 2 + Abortions Worldwide. 2 + Abortions Worldwide. Retrieved 11 July 2022, from https://www.2plusabortions.com/sixreasons.
Pittman, G. (2012). Abortion safer than giving birth: study. Reuters. Retrieved 11 July 2022, from https://www.reuters.com/article/us-abortion-idUSTRE80M2BS20120123.
Raymond, E., & Grimes, D. (2012). The Comparative Safety of Legal Induced Abortion and Childbirth in the United States. Obstetrics &Amp; Gynecology, 119(2, Part 1), 215-219. https://doi.org/10.1097/aog.0b013e31823fe923
Stone, N., & Ingham, R. (2011). Who presents more than once? Repeat abortion among women in Britain. Journal Of Family Planning And Reproductive Health Care, 37(4), 209-215. https://doi.org/10.1136/jfprhc-2011-0063
Women Help Women. (2018). Let’s talk about the stigma of multiple abortions. Women Help Women. Retrieved 11 July 2022, from https://womenhelp.org/en/page/984/let-s-talk-about-the-stigma-of-multiple-abortions.