Okusosolebwa ngojjemu olubuto kye kisinga okuvaako okuggyamu embuto mungeri eleeta obulabe

Okusosolebwa ngojjemu olubuto kye kisinga okuvaako okuggyamu embuto mungeri eleeta obulabe

Okuggyamu embuto nkola ya bujjanjabi eya bulijjo ekolebwa mu nsi yonna, era ne kati, abajjamu embuto bavumibwa nnyo mu bitundu bingi. Okusosola abajjamu embuto kibadde kikulu nnyo mu kwongera ku muwendo gw’abaggyamu embuto mu ngeri eleeta obulabe mu nsi yonna. Okusinziira ku kitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna, abakyala 30 be bafa ku buli 100,000 abajjamu embuto mungeri eleeta obulabe. Ebibalo bino bisinga kubeera mu nsi ezikyakula. Kino era kitegeeza nti abantu bangi abali mu nsi ezikugirwa mu mateeka oba ezikyakula bawaliriziddwa okudda ku kuggyamu embuto mungeri ezileeta obulabe ezirina ebikosa eby’amaanyi oluusi n’okufa.

Okuggyamu embuto nkola ya bujjanjabi. Kizingiramu okumira eddagala oba okulongoosebwa okujjamu olubuto. Okuggyamu embuto bwe kikolebwa nga tukozesa ebiragiro ebituufu, kikola nnyo era tezirina bulabe. Nga bakomya okuvumwavumwa ku kuggyamu embuto, abantu bajja kuba n’obwesige bungi okunoonya okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe, kikendeeze ku muwendo gw’abafa olw’okuggyamu embuto.

Okusosolebwa mu kuggyamu embuto kye ki?

Okuvumwavumwa ku kuggyamu embuto kusibuka mu nzikiriza n’endowooza z’abantu ku kuggyamu embuto. Ye ndowooza nti okuggyamu embuto kikyamu mu mpisa era tekikkirizibwa mu bantu. Wadde nga buli kitundu kirina ekika ky’okunyoomebwa okukwatagana n’okuggyamu embuto mu ngeri eleeta obulabe, amawanga mangi galina eddiini, enzikiriza, n’obuwangwa ebyongera okusosola ku kuggyamu embuto. Ng’ekyokulabirako, amadiini mangi gawakanya okuggyamu embuto era gakitwala ng’ekibi.

Ebibiina ebirala ebiwagira obulamu nabyo byagala nnyo okusindiikiriza okuvumwavumwa kw’embuto “ez’oluvannyuma” ekivaako endowooza ez’obulimba ku kuggyamu embuto. Bakozesa olulimi olw’obulimba okuvuma okuggyamu embuto wadde ng’abakugu mu by’obujjanjabi tebakozesa bigambo bye bakozesa oba okuba n’ennyonnyola ku ddi olubuto lwe lutwalibwa ng’olulwawo.

Biki Ebiva mu kusosolebwa mu kuggyamu Embuto?

Abakyala abanoonya okuggyamu embuto bawakanya endowooza z’ennono ezirimu endowooza nti okwegatta kukozesebwa kuzaala kwokka era nti balina okusigala nga balongoofu mu by’okwegatta okuggyako nga beenyigira mu kikolwa ekyo olw’okuzaala. Enzikiriza zino zongela okuvumwavumwa okuva mu kuggyamu embuto ekivaako ebikosa ebibi eby’omunda n’ebweru. Ebikosa ebiva munda bye bino omuntu anoonya okuggyamu embuto by’ayitamu olw’endowooza y’abantu ku kuggyamu embuto. Ebintu bino kuliko; okuwulira ensonyi, okwesalira omusango, okweraliikirira, n’okwennyamira. Endowooza ezilwanyisa okuggyamu embuto zitera okuba ez’omunda, era ziyinza okuleeta ensonga ez’amaanyi mu birowoozo. Era kiyinza okuba ekizibu eri omuntu anoonya okuggyamu olubuto nendowwoza ye lwakuba ebibatuukako bitera okusirisibwa abantu bomukitundu abalala.

Mu bitundu ebitonotono, waliwo n’ebizibu eby’ebweru ebiyinza okubaawo singa abakyala bateesa ku kuggyamu embuto zaabwe. Ng’ekyokulabirako, bayinza okugaanibwa ab’omu maka gaabwe, bannaabwe, oba n’emikwano gyabwe. Abakyala abamu nabo boolekagana n’okunenya n’okutulugunyizibwa. Kiyinza n’okuba eky’akabi okwogera ku kunoonya oba okuggyamu embuto mu bitundu ebimu lwakuba abakyala bangi bayinza n’okutulugunyizibwa, okusunguwala, n’okusosolwa. Mu butuufu, wabaddewo abekalakaasi bangi abawagira obulamu abatulugunya abakyala n’abajjanjabi ebweru w’obulwaliro obuggyamu embuto.

Mu nsi nnyingi eza Latin America, wabaddewo enkyukakyuka gye buvuddeko mu mateeka agakkiriza okuggyamu embuto mu mbeera ezimu. Kyokka, ne bwe wabaawo amateeka amapya, abakyala bangi bakyavumwavumwa. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Uruguay yakiliza okuggyamu embuto mu 2012, abakyala baali bakyawulira okusosolebwa abakugu mu by’obulamu oluvannyuma lw’emyaka ebiri ng’amateeka gakyuse.

Ng’oggyeeko ebikosa abakyala, waliwo n’ebikosa ebitundu mu kusosola okuggyamu embuto ku bantu.
Okuvumwavumwa okuva mu kuggyamu embuto kunyweza endowooza ezivudde ku mulembe ku mpisa z’ekikula ky’abantu n’okwolesebwa kw’ekikula ky’abakyala. Kino ekikula ky’abantu mulimu endowooza nti omulimu gw’omukyala kwe kuba maama era nti abakyala beetaaga okuba abakazi era abalongoofu. Era kyongera endowooza nti okwegatta kulina kubeera wakati w’abafumbo bokka n’ekigendererwa eky’okuzaala.

Abagaba embuto n’obujjanjabi bakosebwa batya olw’okuvumwavumwa mu kuggyamu embuto?

Mu kunoonyereza okw’ensi yonna okwakolebwa safe2choose ne Ipas, twafuba okutegeera ebituuse ku bannaffe abaggyamu embuto n’abagaba embuto okwetoloola ensi yonna. Alipoota eno elagila ddala eby’okunyoomebwa abasawo abajjamu embuto kwebasanga. Ng’oggyeeko okuvumwavumwa kw’abantu abaggyamu embuto kwe boolekagana nakwo, lipoota eno yazula nti abamu ku bo okusinziira ku kitundu mwe babeera, era batya okutwalira awamu okuyigganyizibwa oba obutaba na bukuumi mu mateeka mu botundu mwe baweereza. Abamu baategeeza nti okusoomoozebwa okusinga obunene kwebasanga mulimu embeera ez’obulabe mwe bakolera, obukwakkulizo mu mateeka, n’okutya okuyigganyizibwa oba obutaba na bukuumi mu mateeka.

Ebiva mu kuvumwavumwa olw’okuggyamu embuto tebikoma ku kukosa bakyala abanoonya okuggyamu embuto, naye era bikosa n’abasawo abagaba eddagala ly’okuggyamu embuto. Abasawo n’abakugu abalala mu by’obulamu batera okuyitibwa amannya era mu nsi nnyingi batwalibwa ngabononyi. Wabaddewo n’emirundi mingi ng’abasawo abaggyamu embuto balumbibwa era oluusi ne battibwa ne bafa. Bwe kituuka ku kusoomoozebwa mu kuggyamu embuto, kikulu okujjukira nti abantu bonna abeetoolodde okuggyamu embuto nabo batera okukosebwa obubi olw’okuvumwavumwa okuva mu kuggyamu embuto.

Kale wadde nga tusobola okulaba obulungi ebiva mu kuvumwavumwa okuva mu kuggyamu embuto ku bajjanjabi, tulina okutegeera kino kye kiyinza okutegeeza mu nsonga z’omusawo aggyamu embuto okuwulira nga talina bulabe era ng’akuumibwa ekimala okusobola okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe awatali kutya kuyigganyizibwa, kusekererwa, . n’okuvumwavumwa. Abasawo basobola okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe singa baba mu mbeera nga bawulira nti obulamu bwabwe tebulina bulabe era ng’abantu tebajja kubasalira musango olw’okukola enkola y’obujjanjabi n’okutaasa obulamu bw’abantu bangi.

Kiki kyetuyinza okukola ku kusosolebwa olwokuggyamu embuto?

Wadde ng’emilembe gy’ebiva mu kuvumwavumwa olw’okuggyamu embuto tegiyinza kuvaako mu kiro kimu, wakyaliwo engeri nnyingi ez’okuyamba okuziyiza okuvumwavumwa. Nga ebibiina n’abakugu mu by’obulamu bakyagenda mu maaso n’okusomesa abantu, abakyala bajja kwongera okufuna amaanyi okwesalirawo ku mibiri gyabwe. Abo abakkiriza n’okuyisa obuvune buno nabo bayinza okutandika okukyusa endowooza zaabwe ku kuggyamu embuto nga bamaze okuwulira obujulizi obwesigama ku nsonga eno. Mu musingi, okuvumwavumwa kye kisinga okuvaako okuggyamu embuto ezitali za bukuumi ezirina ebizibu ebyobulabe.

Ebibiina by’ebyobufuzi, ebitongole, ne bannabyabufuzi abawagira okwesalilawo nabo balina okugenda mu maaso n’okulwanirira okuggyako etteka eliziyiza okujjamu embuto abantu bangi basobole okufuna okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe. Nga okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe kweyongera, abantu bajja kuwulira emboozi nnyingi ezikwata ku mikwano gyabwe n’ab’omu maka gaabwe ku kuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe. Ku safe2choose, era tukubiriza abantu okugabana emboozi zaabwe nga bwe kiri mu kugabana emboozi zaabwe nti basobola okwesumulula n’abalala. Kino era kyandiyambye okukendeeza ku kuvumwavumwa okuva mu kuggyamu embuto olgkuva bwe kiri nti abantu bajja kuba batono abagenda mu maaso n’okuvumwavumwa. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, okuwagira abakyala okuggyamu embuto awamu nabasawo kilina okumalawo okuvumwavumwa mu kuggyamu embuto n’okukifuula eky’obukuumi eri abakyala okuddukanya obulamu bwabwe obw’okuzaala.