Omubiri gwo gukyuka eggi nensigo bwe byegatta ate nebiyingila mu nnabaana olw’enkyukakyuka mu busimu. Oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, oyinza okusanga ebisigaddewo ebiva mu lubuto okumala wiiki eziwerako. Kino kya bulijjo kuba kiyinza okutwala ekiseera obusimu bwo okudda mu mbeera eya bulijjo. Empeke z’okuggyamu embuto zikola bulungi nnyo mu kuggyamu olubuto, era nga kizibu okuba nti okyalina olubuto.
Kyokka, mu mbeera ezimu ezitatera kubaawo, okuggyamu olubuto kuyinza okulemererwa, era olubuto luyinza okusigalawo ne bw’oba amaze okumira empeke z’okuggyamu olubuto. Kikulu okubeera obulindaala ku bubonero obulaga nti olubuto lukyakula osobole okubako kyokola mu bwangu ddala singa oba okyali lubuto. Ekitundu kino kijja kunnyonnyola obubonero bw’olubuto olukyakula oluvannyuma lw’okukozesa enkola y’okuggyamu embuto osobole okubeera bulindaala.
Okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe ngeri nnungi nnyo ey’okugyawo olubuto. Embuto ezigibwamu mu ddwaaliro zikolebwa nga bayita mu nkola y’obujjanjabi. Enkola zino zikola ebitundu 99 ku 100 mu kuggyawo olubuto, ekitegeeza nti emikisa gy’okuba ng’okyali lubuto oluvannyuma tegitera kubaawo.
Okuggyamu embuto n’empeke kikola kwenkana wa?
Empeke y’okuggyamu embuto nkola ndala ekola era erimu okumira eddagala ery’ekika kimu oba bibiri eby’enjawulo, erimanyiddwa nga Misoprostol ne Mifepristone. Obulung’amu bw’empeke zino bujja kusinziira ku bintu bisatu ebikulu: obukulu bw’olubuto, omuwendo gw’empeke z’omira n’engeri gye zimirwa. Empeke zino tezitela kulemererwa naye embuto ezimu zetaagisa eddagala eddala oba enkola endala ez’okuggyamu embuto okusobola okugyamu olubuto mu bujjuvu. Empeke y’okuggyamu embuto ekola wakati wa bitundu 87 ne 99 ku buli 100.
Okusobola okutegeera emirundi gy’okuggyamu embuto bwe gilemeledwa, okunoonyereza okumu kwekenneenya abakyala kumpi 5,000 abaggyamu embuto. Yalimu abantu ssekinnoomu abaggyamu embuto ez’ebika byombi, omuli empeke y’okuggyamu embuto n’enkola eyo mu ddwaaliro. Wadde ng’okuggyamu embuto mu butali bujjuvu kye kyali ekizibu ekisinga ekyekuusa n’empeke y’okuggyamu embuto, kyabawo emirundi mitono ddala.
Nsobola okwekebeza olubuto okukakasa?
Bw’oba olina okubusa busa nti okyali lubuto oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, oyinza okukeberebwa olubuto okukakasa. Wabula kikulu okumanya nti okukebera embuto okutali kwa ddwaliro kwesigama ku kubeerawo kw’obusimu bw’olubuto. Obusimu buno busobola okusigalawo ne bwe kiba nti olubuto luvuddemu kubanga omubiri gwo gukyatereera n’okudda mu mbeera eya bulijjo. N’olwekyo, okukebera olubuto mu ngeri ya bulijjo kuyinza okuvaamu alizaati ezitali ntuffu singa kikolebwa nga wiiki nnya tezinnaba kuyitawo oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Olw’okuba ofuna alizaati efaanana bweti tekitegeeza nti oli lubuto.
Engeri yokka gy’oyinza okukakasamu oba okyali lubuto kwe kukola akatiivi ew’omusawo w’ebyobulamu. Osobola okunoonya obuweereza buno bw’oba olaba obubonero bw’olubuto oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto.
Bubonero ki obulaga nti omuntu ali lubuto oluvannyuma lw’okukozesa enkola y’okuggyamu embuto?
Singa oba okyali lubuto oluvannyuma lw’okukozesa enkola y’okuggyamu embuto, wandiyolesezza obubonero obwa bulijjo obukwatagana n’olubuto. Mu bino mulimu,
- ekikeeto,
- okusesema,
- obuzibu mu kufuluma
- amabeere amagonvu oba agazimba,
- okweyongera kw’emirundi gy’okufulumya omusulo, era no
- obukoowu.
Bw’oba okyali lubuto, ensonga zo tezandikomyewo. Okuggyamu olubuto kutandika ebiro ebipya by’okugenda mu nsonga ekitegeeza nti ensonga zo zirina okuddamu mu wiiki nnya oba munaana oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto obulungi. Bw’oba olaga obubonero bw’olubuto oba nga tonadamu kugenda mu nsonga oluvannyuma lwa wiiki munaana, tuukirira omusawo wo oba tuukirira omukugu mu kubuulirira abantu ku kuggyamu embuto.
Kikulu okumanya nti engeri ezimu ez’okuziyiza okuzaala ziyinza okukosa okugenda mu nsonga. Ng’ekyokulabirako, IUD esobola okukendeza emirundi gy’okugenda mu nsonga oba okufuna omusaayi omutono. N’olwekyo, bw’oba olina IUD gy’okozesa oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, kisoboka okuba nti oyinza okukendeera mu mirundi oba obungi bw’omusaayi oba n’okulekera awo ddala okugenda mu nsonga.
Okuggyamu olubuto okutali kujjuvu kujjanjabwa kutya?
Singa kiba nti okyali lubuto oluvannyuma lw’okukozesa enkola y’okuggyamu embuto, waliwo obujjanjabi obulala bw’osobola okufuna. Omusawo wo ajja kusooka kukakasa nti okyali lubuto. Mu mbeera ezimu, osobola okwongela okumira empeke za Misoprostol elimu ku ddagala ly’okuggyamu olubuto eliyamba nnabaana okukonziba nokufulumya ebintu ebirimu olubuto. Ekirala kyoyinza okukola kwe kulongoosebwa mu ddwaaliro.
Mu bufunzi
Okuggyamu embuto ezisinga obungi ezitali za bulabe zikola bulungi ebitundu 99 ku buli 100, okusinziira ku nkola ekozeseddwa. Wadde ng’ebizibu tebitera kubaawo, mu mbeera ezitali nnyingi, olubuto lusobola okusigala nga lukula ne bw’oba amaze okukozesa enkola y’okuggyamu embuto. N’olwekyo kikulu okumanya obubonero bw’olubuto ng’omaze okuggyamu olubuto osobole okukola ekituufu singa olubuto lukakasibwa nti lukyakula. Bw’oba osuubira oba nga obusabusa nti okyali lubuto oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, tuukirira omusawo wo oba omu ku babuulirira baffe ku kuggyamu embuto ku safe2choose.