Empeke y’okuggyamu olubuto ekozesebwa nnyo okujjamu olubuto. Empeke y’okuggyamu olubuto esobozesa abantu ssekinnoomu okujjamu olubuto awaka oba mu mbeera endala gye baagala. Tekyetaagisa kugenda mu ddwaaliro oba okulabirirwa omusawo w’ebyobulamu. Okugatta ku ekyo, ekola ebitundu nga 95 ku 99 ku buli 100. N’olwekyo, nkola nnungi era nnyangu eri abalwadde abanoonya okuggyamu embuto1.
Empeke y’okuggyamu olubuto ekola etya?
Empeke y’okuggyamu olubuto erimu ebika by’eddagala bibiri eby’enjawulo: mifepristone ne misoprostol. Eddagala lino lirina enkola ez’enjawulo ezikolagana okumalawo olubuto.
Eddagala lya Mifepristone
Mifepristone ekola ng’ekyusa obusimu obumanyiddwa nga progesterone. Progesterone gwe mucuuzi omukulu ogwe’nyigira mu kutegeka omubiri okufuna olubuto. Progesterone akola ku nnabaana. Singa ekirungo kya progesterone kibeera kinene, nabaana egonvuwa, ne kivaamu embeera esobola okukuza olubuto. Okuva awo, eggi liyinza okwesimba mu nabaana, ne lisigala awo, ne likula.
Mifepristone ekola nga eziyiza eddagala lya progesterone. Mu kukola ekyo, ekisawo ekikwata olubuto munabaana kiyika. Okutabangula nabaana kiremesa eggi okusimbibwa n’okuwangaala, bwe kityo ne kikomya olubuto2.
Eddagala lya Misoprostol
Misoprostol lye ddagala eryokubiri eriri mu “empeke y’okuggyamu embuto”. Oluvannyuma lwa mifepristone okukomya olubuto okukula, misoprostol efulumya ebili mu nnabaana. Kino ekikola nga eyonela ku mirundi n’amaanyi g’okukonziba. Okukonziba okw’amaanyi kuyamba okufulumya ebitundu byo lubuto okuva munabaana. Omutendera guno gukola okufaananako n’okuvaamu olubuto, kuba guyinza okuleeta okulumizibwa mulubuto ennyo1,3,4.
Kiki kye nnina okukola nga sinnamira ddagala lya kuggyamu lubuto?
Okukomya olubuto kiyinza okuba ekizibu mu mubiri ne mu nneewulira. N’olwekyo, waliwo ebintu ebitonotono by’osaanidde okulowoozaako nga tonnamira ddagala lya kuggyamu lubuto:
- Weeteeke mu mbeera ennungi era ennungi. Okumira empeke y’okuggyamu olubuto kitera okuleeta obuzibu, gamba ng’okunyolwa ennyo n’okuvaamu omusaayi. Ekifo eky’obwannannyini w’owulira ng’olina obukuumi kiyinza okuggyawo ebimu ku bikuleetera okunyigirizibwa ng’oggyamu olubuto.
- Lowooza ku ky’okubeera nomuntu akubelelawo. Ng’oggyeeko obubonero bw’omubiri, okuvumwavumwa mu maka, mu buwangwa, ne mu bantu okusosolebwa okukwatagana n’okuggyamu olubuto kiyinza okufuula enkola eno okuzibuwala. Okubeera n’omuntu akutegeera era akuwagira kiyinza okuba eky’omugaso.
- Beera n’ebikozesebwa ebisobola okuyamba okuddukanya obubonero bwo. Nga bwe kyayogeddwako waggulu, okuggyamu olubuto nga okozesa eddagala kiyinza okuvaako omuntu obutabeera bulungi. Okumira eddagala nga eddagala eriziyiza obulumi eritali lya steroid (NSAID), nga ibuprofen, oba Tylenol kiyinza okuyamba okuddukanya obubonero bw’obulumi. Kyokka tomira aspirin kuba ayinza okwongera okufulumya omusaayi. Osobola okumira eddagala eriweweeza ku bulumi ng’ebula eddakiika nga 30 okumira eddagala lya misoprostol, eddagala ery’okubiri eriggyamu embuto. Paadi y’ebbugumu nayo esobola okukuwa obuweerero. Olina okubela ne paddi eziwelako, kuba osanga ojja kuvaamu omusaayi omungi.
- Weewe obudde okuwummula. Ebizibu by’empeke y’okuggyamu embuto bisobola okumala wakati w’olunaku lumu okutuuka ku ssatu okusinziira ku ddi lwe wamira buli ddagala. N’olwekyo, kakasa nti ofuna obudde okuddukanya obubonero bwo, okuwummula, n’okuwona5.
Kiki ekibaawo mu kiseera ky’okuggyamu olubuto nga okozesa empeke?
Empeke y’okuggyamu embuto ekola mu mitendera ebiri. Mifepristone eremesa olubuto okwongera okukula, ate misoprostol akola ng’efulumya ebigirimu mu nnabaana.
Oluvannyuma lw’okumira eddagala lya mifepristone, omusaayi gunaatandika ddi?
Abantu abasinga obungi batandika okuvaamu omusaayi oluvannyuma lw’essaawa emu oba nnya nga bamaze okumira eddagala lya misoprostol. Okuvaamu omusaayi kufaanana ngali munsonga nomusayi omunji, kuba enkola eno ekola okufaananako navuddemu olubuto. Oyinza okulaba ebitole ebinene oba ebitundu ebituuka ku sayizi y’enniimu. Ebiseera ebisinga omubiri gwo gumaliriza okufulumya ebitundu by’olubuto oluvannyuma lw’essaawa nnya oba ttaano, naye biyinza okumala ebbanga eddene. Okuvaamu omusaayi mu bujjuvu kulina okukendeera oluvannyuma lw’ebitundu by’olubuto okufuluma, naye kuyinza okugenda mu maaso okumala ebbanga. Bw’oba tofulumiza musaayi mu ssaawa 24 ng’omaze okumira eddagala lya misoprostol, eddagala ery’okubiri, tuukirira omusawo wo.
Mu wiiki eziddirira okuggyamu olubuto, kya bulijjo okugenda mu maaso n’okuvaamu omusaayi. Osobola okukozesa paadi, tampon oba ekikopo ky’okugenda mu nsonga. Wabula okukozesa paadi kiyinza okukuyamba okulondoola obungi bw’omusaayi gw’ovaamu6.
Butya bwowulira nga okozeseza empeke okuggyamu olubuto?
Ng’oggyeeko okuvaamu omusaayi, akabonero akalala akakulu ak’okuggyamu olubuto olw’eddagala kwe kulumizibwa mu diira. Kino, okufaananako okuvaamu omusaayi, kiyinza okumala essaawa eziwerako ne kukendeera oluvannyuma lw’okufulumya ebitundu by’olubuto. Kyokka, okulumizibwa mu diira kuyinza okumala olunaku olulala oba bbiri oluusi n’oluusi.
Abantu ab’enjawulo bajja kuyisibwa mungeri zanjawulo oluvanyuma lwo kukozesa empeke eggyamu olubuto. Ebirala ebitera okuva mu ddagala ly’okuggyamu embuto by’oyinza okufuna mulimu:
- Obutabeera bulungi mu lubuto ne/oba okusesema
- Ekiddukano
- Obukoowu
- Kamunguluze
- Omusujja omutono n’mpewo
- Amabeere okunyirira n’okukulukuta
Obubonero bw’omusujja, okuziyira nokulira empewo bulina okuwona amangu ddala. Kyokka singa obubonero bwo obw’omusujja, okusindikirirwa emmeme, okusesema oba ekiddukano busigala nga bumaze essaawa ezisukka mu 24 ng’omaze okumira empeke esembayo, genda ew’omusawo. Bino biyinza okuba obubonero obulaga nti omuntu alina obulwadde.
Nga bwe kyayogeddwako emabegako, eddagala eriweweeza ku bulumi n’ekyuma ekibugumya bisobola okuyamba okukendeeza ku bulumi. Engeri endala ez’okumalawo ebizibu ebivaamu ziyinza okuli:
- Okumira eddagala eriweweeza ku kusindikirirwa emmeme
- Okubeera n’omuntu akusiiga omugongo
- Okunaaba
- Okutuula ku kaabuyonjo
Bw’oba owulira bulungi enkeera, oyinza okuddamu okukola emirimu egisinga egya bulijjo ng’okukola n’okuvuga. Kyokka tewenyigira mu dduyiro ow’amaanyi oba okukola emirimu emizibu okutuusa nga wayiseewo ennaku ntono.
Ng’oggyeeko obubonero obw’omubiri obw’empeke y’okuggyamu embuto, abantu bangi ssekinnoomu bajja kufuna enneewulira ez’enjawulo oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Wadde ng’abamu bajja kuwulira obuweerero, abalala bayinza okwejjusa oba ennaku. Kino kya bulijjo ddala, wabula, singa embeera yo ekosa obulamu bwo obwa bulijjo, lowooza ku ky’okwogera n’omukugu mu by’obulamu bw’obwongo6.
- The Facts on Mifepristone. (2019). Retrieved September 4, 2022, from https://www.plannedparenthood.org/uploads/filer_public/42/8a/428ab2ad-3798-4e3d-8a9f-213203f0af65/191011-the-facts-on-mifepristone-d01.pdf
- Autry, B. M., & Wadhwa, R. (2022). Mifepristone. In StatPearls. StatPearls Publishing. http://www.ncbi.nlm.nih.gov/books/NBK557612/
- Misoprostol. (n.d.). Retrieved September 4, 2022, from https://go.drugbank.com/drugs/DB00929
- Autry, B. M., & Wadhwa, R. (2022). Mifepristone. In StatPearls. StatPearls Publishing. http://www.ncbi.nlm.nih.gov/books/NBK557612/
- Here’s how to prepare for an abortion pill dose. (2022, April 25). Well+Good. https://www.wellandgood.com/abortion-pill/
- How does the abortion pill work? | Abortion pill function. (n.d.). Retrieved September 4, 2022, from https://www.plannedparenthood.org/learn/abortion/the-abortion-pill/how-does-the-abortion-pill-work