Bw’oba olina olubuto, ebintu bingi bisobola okutuukako olw’enkyukakyuka mu busimu bwomubiri. Ne bw’oggyamu olubuto, okyayinza okufuna obubonero obw’olubuto okumala ennaku oba wiiki ntono ng’omaze okumira empeke z’okuggyamu olubuto. Beera mukakafu nti omubiri gwo gujja kudda mu nteko eya bulijjo ng’obudde buyisewo, naye mu kiseera kino, kikulu okumanya ky’osuubira.
Buli muntu ayisibwa bulala nga ali lubuto n’oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Kyokka ekimu ku bintu ebyebuzibwa abantu kwe kugenda mu nsonga nga bamaze okuggyamu embuto. Ekitundu kino kigenda kwogera ku lubuto n’empeke y’okuggyamu olubuto n’engeri gyebikosaamu okugenda mu nsonga.
Olubuto lukwata lutya ku nsonga zange ezo mwezi?
Nga tetunaba kwogera ku kuggyamu lubuto n’okugenda mu nsonga, ka tusooke twogere ku ngeri olubuto gye kwata ku nsonga zo ezo mwezi. Ennaku zo ez’okugenda mu nsonga kintu kikulu ky’olina okulowoozaako bw’oba onafuna olubuto. Enzirukanya eya bulijjo eyinza okumala ennaku 23 okutuuka ku 35, nga 28 zezisinga mu bantu abasinga. Emitendera gy’okugenda mu nsonga gitandika ku linaku lwosoka okugenda mu nsonga.
Oluvannyuma lw’okugenda mu nsonga, ogenda mu kasera akafulumya eggi.Okufuluma kw’eggi kubaawo nga ku lunaku olw’ekkumi n’ena.Mu kiseera kino omukisa gwokufuna olubuto gwa manyi. N’ekisembayo, mu kitundu oba phase eyitiibwa luteal, eggi ligenda mu nseke za nnabaana. Singa eggi liba lyegase nensigo, lyeeyongerayo n’olugendo lwayo era nelitekebwa ku kisenge kya nnabaana.
Singa ofuna olubuto, ensonga z’ogenda mu nsonga zikyuka. Olubuto lukyusa obusimu bwo okuteekateeka omubiri gwo okuyimirizaawo n’enkula y’olubuto. Enkyukakyuka zino ziyimiriza okugenda mu nsonga n’okufulumya eggi, omubiri gwo gukyuka era ne gutandika okwetegeka okuyonsa. Kino kitegezza tojja kugenda mu nsonga za kikyala ng’oli lubuto.
Okuggyamu olubuto kikosa kitya ensonga zange?
Okuggyamu olubuto kuggyawo olubuto. N’olwekyo, bw’oba tokyali lubuto, omala noddamu okugenda mu nsonga. Ensonga zo zijja kuddayo mu mbeera eya bulijjo, naye nga ela kwawukana okusinziira ku muntu.
Okuggyamu olubuto kutandikawo entandikwa y’okugenda mu nsonga empya. Okufuluma kw’eggi kusobola okubaawo amangu ddala nga wayise ennaku munaana oluvannyuma lwo okuggyamu olubuto, era nga osobolela ddala okugenda mu nsonga oluvannyuma lw’ennaku 14. Kale nolwekyo, oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, ebiseera ebisinga okugenda mu nsonga kujja kuddamu nga wayise wiiki ssatu oba nnya okusinziira ku muntu.
Okuziyiza okuzaala kukosa kutya okugenda mu nsonga zange oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto?
Ekisera ensonga yo bw’ekomawo ng’omaze okuggyamu olubuto esinziira ku nkola yokuziyiza okuzaala gy’oliko. Bw’oba enkola yokuziyiza okuzaala gyokozesa siya busimu,ensonga zo zijja kuddamu mu wiiki munaana ng’omaze okuggyamu olubuto. Ebika ebimu eby’okuziyiza okuzaala, gamba ng’akaweta ko mu nnabaana (IUD), biyinza okukosa okugenda mu nsonga. Oluusi, IUD ereeta okukendela mu milundi gy’okugenda. N’olwekyo, bwoba wateekebwamu IUD ng’omaze okuggyamu olubuto, oyinza obutagenda mu nsonga oba omusaayi guyinza obutaba mungi nga bulijjo.
Kyokka, bw’oba tokozesa nkola za busimu,notadamu nsonga nga wayise wiiki munaana, tuukirira omusawo.
Okuvaamu omusaayi kitegeza ndi munsonga zange?
Okuvaamu omusaayi oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto kitera okubawo. Wadde ng’abamu bayinza okukibuzabuza nebakiyita ensonga z’omwezi,Okuvaamu omusaayi okwekuusa ku kuggyamu olubuto kujja kuba kuzito nnyo, elan ga kuli mu ebitole. Omuwendo gw’omusaayi n’obunene bwe’bitole bijja kusinziira ku bukulu bw’olubuto. Ebiseera ebisinga, olubuto gye lukoma okuba olukulu, gye lukoma n’okuvaamu omusaayi omungi. Omusaayi ogw’ekika kino, awamu n’amabala, bisobola okumala ennaku oba wiiki entono tono ng’omaze okumira empeke. Oyinza okufuna obubonero obufaananako n’obw’okugenda mu nsonga eza bulijjo, gamba ng’okulumwa obulumi bwa cramps. Bw’oddamu okugenda mu nsonga ng’omaze okuggyamu olubuto tekija kwawukana nyo n’ensonga eza bulijjo.
Nyinza okuba nti nkyali olubuto?
Empeke y’okuggyamu embuto nkola nnungi nnyo bwe kituuka ku kuggyawo olubuto.Ekolela ddala okutuuka ku bitundu 99% kubuli kikumi okusinziira ku bukulu bw’olubuto n’empeke mmeka ezaamirwa. Bwoba obadde ogoberera ebiragiro bya safe2choose ebyesigamiziddwa ku ndagiriro z’ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO), tekisuubirwa nti okyali lubuto.
Bweziwela wiiki munaana nga tonnagenda mu nsonga, tuukirira omusawo wo oba funa okubuulirirwa ku kuggyamu embuto. Bwoba okyali lubuto, osobola okuddamu okwekenneenya enkola endala ezitali za bulabe ez’okuggyamu olubuto.
Mu bufunzi
Olubuto awamu n’okuggyamu embuto bisobola okukyusa obusimu bwo, ne bivaako enkyukakyuka ezimu mu mubiri n’okukosa okugenda mu nsonga. Wabula kikulu okumanya nti enkyukakyuka zino za kaseera buseera, era omubiri gwo gujja kudda mu nteko mu kasela akatali kawala nnyo.
Ku ky’okugenda mu nsonga, wandi bade oddamu okugenda mu nsonga oluvannyuma lwa wiiki nnya oba munaana ng’omaze okuggyamu olubuto. Kyokka, omusaayi gwe nsonga guyinza okulabika nga gwanjawulo bwoba watandika okuziyiza okuzaala nga okozesa enkola z’obusimu. Guyinza okuba omuzito oba obutatera kubaawo bwoba olina IUD. Bw’oba olina ekikweraliikiriza ku nsonga yonna oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto oyinza okufuna okubudaabudibwa okuva eri ttiimu yaffe.