Engeri y’okubulilamu bazadde bo ku lubuto lw’ototegekedde

Mukazi ng'akutte ekigeregeza nga yeetegekera okutegeeza abazadde ku lubuto, kisiikirize ky'abagalana mu kibiri.

Okuzuula olubuto lw’ototegese kiyinza okukuzibuwalira naddala bwe kituuka ku kubuulira bazadde bo amawulire ago. Enneewulira ziba nzibu n’obutali bukakafu buba bungi, era okutya engeri gye bayinza okweyisaamu kuyinza okukuzitoowerera. Kyokka, guno guyinza okuba mukisa gw’okukula, n’okunyweza enkolagana y’abanganda.

Mu kitundu kino, tuwa obulagirizi obujjuvu ku ngeri y’okukwatamu emboozi eno ey’amaanyi era tuwa amagezi ku kyewandikoze mu mbeera eno gy’obadde tosuubira.

Otegezebwa nti amagezi n’ebiteeso bino bya lukale era bikozese okusinziira ku mbeera z’abantu bo n’obuwangwa bwamwe.

Okwefumiitiriza n’Okusalawo

Nga tonnatuukirira bazadde bo, kikulu nnyo okumala akadde akawelako ng’ofumiitiriza ku nneewulira zo n’ebirowoozo byo. Omuyaga gw’enneewulira ogutera okuwerekera olubuto lwo totegese guyinza okuzibikira okusalawo,Tuukirira munno, mikwano gyo egy’oku lusegere oba omubuulirizi akuyambe okukola ku nneewulira zo. Kijjukire nti olina okuba ​​omukakafu ku nneewulira zo ne ku by’osalawo, olw’osobole okukubaganya ebirowoozo ne bazadde bo ku mbeera eyo obulungi kubanga omanyi bwoba oyimiridde ku nsonga eno.

Okulonda Ekiseera Ekituufu.

Ebiseera byolonda kikulu. Londa ekiseera kyosuubila nti bazadde bo tebalina bingi bibatawanya oba ebibelalikiliza era nga bakkiriza emboozi eva ku mutima. Kakasa nti olina ekifo eky’ekyama mw’osobola okwogera mu lwatu nga totya kutaataaganyizibwa oba okusumbuyibwa. Okusalawo okwogera n’abazadde bombi nga bali wamu oba kinnoomu kisinziira ku makka go n’ebyobuwangwa mu kifo gyobela. Oluusi, bw’obabulila nga bali wamu kiyinza okukuleetera obumu, ate nga singa osooka kubulilako omu kiyinza okuyamba okukakanya embeera singa okubagambila awamu kuyinza okuleetawo obutakkaanya wakati wa bazadde bo. Olusi bwekiba kyetagisa oyinza okuyita omuntu ow’okusatu atalina ludda lw’awagira ayinza okuba omutabaganya mu mboozi eno. Ono ayinza okuba ssenga eyesigika, mukwano gw’amaka owo ku lusegele, oba muliraanwa okusinziira ku mbeera gy’olimu.

Okwetegekera Emboozi

Wandiika ensonga enkulu z’oyagala okuguusa nga weetegeka okukubaganya ebirowoozo ebyekuusa ku mboozi eno.Kino kiyinza okukuyamba okusigala ku mulamwa n’okuziyiza ebintu ebikulu okubuusibwa amaaso mu bbugumu ly’akaseera kano. Weegezeemu by’oyagala okwogera okukendeeza ku buzibu n’okutumbula okutegeera obulungi. Kijjukire nti kyetaagisa okukuuma obutebenkevu, ne bwe kiba nti emboozi evudde mu buntu olw’enewulila ezenjawulo abantu zebabela bafunye.

Obwesimbu n’Obwerufu

Obwesimbu gwe musingi gw’emboozi yonna empanguzi naddala emboozi enzibu nga eno. Kakasa nti oli mwelefu mu byona byoyogera. Kkiriza nti bazadde bo bayinza okuba n’enneewulira ezenjawulo wakati mu kufuna amawulire gano era nga kyabulijjo ate kisubilwa. Bategeeze lwaki wasalawo okugabana nabo amawulire gano era lwaki obuwagizi bwabwe bukulu nnyo gy’oli mu kiseera kino.

Okukola ku byeraliikiriza n’ebibuuzo

Laba ebizibu bazadde bo bye bayinza okuba nabyo era beera mwetegefu okuddamu ebibuuzo byabwe. Bayinza okukubuuza ku nteekateeka zo ezigenda mu maaso, okwagala okumanya oba munno yenyigira mu nsonga eno, n’engeri gye kigenda okukosamu obuyigirize bwo oba omulimu gwo. Weenyigire mu ntesaganya ennungi, ng’okuwa amawulire agakwata ku by’olowoozaako, ebirowoozo byo, n’ebigendererwa byo byosubila okukola ku nsonga eno.

Okugabana Enteekateeka Zo

Babulile bulungi bwosubila okukwatamu embeera eno. Mu bino muyinza okubamu ebirowoozo ku ngeri y’okukuzaamu abaana oba okuggyamu olubuto. Bw’oba ​​wanoonya ela nofuna obujjanjabi oba amagezi g’abakugu,kirungi okubategeeza mu kadde kano. Bakakase nti weewaddeyo okusalawo mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa era nti okola nnyo okugonjola ekizibu kino.

Okuwuliliza enewulila yaabwe

Amawulire gano gayinza okujja nga ekyekango eri bazadde bo, era engeri gye beeyisaamu eyinza okuba nga tebasuubirwa. Bakakase nti enneewulira zaabwe ntuufu.Wuliliza bulungi ebirowoozo n’enneewulira zaabwe.

Okugumya n’Ebiruubirirwa eby’Ekiseera Ekiwanvu

Yongela okukakasa okwewaayo kwo eri enkola ey’obuvunaanyizibwa. Babulile ebiruubirirwa byo eby’ekiseera ekiwanvu n’ebyo oyagala, ng’obamatiza nti embeera eno gy’obadde tosuubira tegenda kukosa biseera byo eby’omu maaso. Bakakase nti embeera eno ogitwala ng’omukisa gw’okukulaakulana, ku bubwo awamu n’abo mu maka go.

Okubawa Obudde Okukakana nokulowoza ku by’oyogodde

Oluvannyuma lw’okutuusa amawulire ago, kimanye nti bazadde bo bayinza okwetaaga obudde okulowooza ku byona byobela obagambye awamu n’enewulila zabwe. Enneewulira ziyinza okuba enzibu, era bayinza okwetaaga obudde okuzikakanya. Basabe akadde akalala oluvannyuma lw’okufuna obudde okulowooza, kisobozese okukubaganya ebirowoozo byabwe mu bujjuvu.

Okunoonya Obuyambi Obulala

Singa embeera ezibuwalila ddala, noonya obuyambi bw’abakugu, gamba ng’okubudaabudibwa mu maka. Abakugu basobola okuwa obulagirizi n’okutabaganya emboozi, bwe kiba kyetaagisa. Osobola okunooya ku mutimbagano abalala abali mu mbeera ezifaanagana nga eyiyo mwe bayita okubagabana bye bayitamu era ne bawa amagezi.

Olina Ebibuuzo?

Tusuubira nti amagezi gano gajja kukuyamba mu mboozi yo. Bw’oba ​​olina ebibuuzo ebirala oba oyagala kwongera kwogela ku nsonga eno katono nga tonnagenda mu maaso nabazadde, osobola n’okututuukirira. Ku safe2choose, tubuulirira ku nsonga ezikwata ku bulamu bw’okwegatta n’okuzaala eri buli muntu akwetazze.

safe2choose kitongole kya mbeera z’abantu ekiyamba ennyo mu by’obulamu bw’okuzaala era nga kiwagira okufuna ngeri zokugyamu embuto ezitali za bulabe. Okusobola okuwa obuyambi, tukola nga ekifo ekijjuvu eky’okubuulirira n’okuwa amawulire ku yintaneeti.

Ku mukutu gwaffe, osobola okufuna amawulire agakwata ku nkola ez’enjawulo ez’okuggyamu embuto, gamba ng’okuggyamu embuto mu by’obujjanjabi n’empeke n’enkola y’okulongoosa. Bw’oba ​​weetaaga okulabilililwa okw’enjawulo, tusobola okukufunila abajjanjabi abatendeke, era abajja okukulembeza obulamu bwo.

Ttiimu yaffe ey’abasawo abatendeke betegeffu okuweereza wiiki yonna, okuva ku Mmande okutuuka ku Lwokutaano. Nga bakolera ku dddala ly’ensi yonna, ababuulirira bakansala baffe boogera ennimi ezisoba mu 10, omuli Olungereza, Olufaransa, Olusipeyini, Olupotugo, Oluhindu, Olupunjabi, Oluwarabu, Oluhebbulaniya, Oluswahili, Oluwolof n’Oluganda. Okusobola okukuyamba ku buli mutendera gw’olugendo lwo olw’okuggyamu olubuto, tukolagana n’ababuulirira ababulijjo ku nsonga z’okuggyamu embuto mu bitundu bingi mu nsi yonna era tukola enkola y’okubudaabuda ekwatagana n’obuwangwa obw’enjawulo era ng’ekwatagana n’embeera zo entongole. Kino kikakasa nti emisomo gyaffe gikwata ku buwangwa era nga enkola zisobola okuyamba.