Namira Misoprostol Naye Sigenze Mu Nsonga

Omuwala atunuulira kalenda ng'alina ekibuuzo: 'Namira Misoprostol Naye Siggya Mu Nsonga'

Bw’oba ​​waggyamu olubuto nga okozesa eddagala, kiteka okuba wamira eddagala erimanyiddwa nga Misoprostol. Oluvannyuma lw’okumira empeke oyinza okwebuza ddi lwo noddamu okugenda mu nsonga. Kiba kikulu okumanya nti obusimu bwo era n’okugenda mu nsonga kijja kutwala ekiseera okudda mu mbeera eya bulijjo. Buli muntu ayisibwa mu ngeri ya njawulo.

Olubuto lukyusa omubiri gwo mu ngeri nnyingi, era, kiyinza okukutwalira ekiseera okudda mu mbeera gye gwalimu. N’olwekyo, oyinza okutwala akasela okudda mu nsonga. Ekitundu kino kigenda kwogera ku Misoprostol ne by’oyinza okusuubira ng’ogenze mu nsonga oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto.

Misoprostol ekola etya?

Empeke y’okuggyamu embuto etera okubaamu ebika by’eddagala bi bbiri: Mifepristone ne Misoprostol. Mifepristone ekomya olubuto. Kino kikikola nga eziyiza obusimu obuyitibwa progesterone, obusimu obukulu mu nkula y’olubuto. Okuziyiza obusimu bwa progesterone kiyimiriza enkula y’olubuto. Mifepristone yekka tasobola kuggyamu lubuto. Yetaaga okugattibwako Misoprostol egenda okuyamba nnabaana okukonziba n’okufulumya ebiba bili mu nnabana.

Misoprostol y’empeke eyookubiri mu nkola y’okuggyamu embuto, naye oluusi y’empeke yokka gy’omira. Omulimu gwa misoprostol kwe kuggyamu ebintu ebibela mu nnabaana.

Kinatwala bbanga ki okugenda mu nsonga oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto?

Okuggyamu embuto kireeta okutandika enzirukanya empya ey’okugenda mu nsonga. Kisuubilwa nti ensonga zo zijja kuddamu nga wayise wiiki nnya oba munaana oluvanyuma lw’okuggyamu olubuto. Wabula bwe kinaatuuka kijja kusinziira ku nkola eyo kuziyiza okuzaala, gyoliko mu kasela ako. Osobola okutandika okukozesa enkola z’okuziyiza okuzaala amangu ddala ng’omaze okuggyamu olubuto, era nga abakyala bangi bakikola nga bamaze okumira empeke y’okuggyamu olubuto. Ebika ebimu eby’okuziyiza okuzaala, gamba nga empiso, bisobola okufuula omusaayi gw’ensonga zo okubeera omutono oba okuguzikiliza ddala. N’olwekyo, bw’oba ​​waakatandika okuziyiza okuzaala, omusaayi gw’ensonga guyinza okulabika nga gwa njawulo.

Bw’oba ​​tolina nkola ya kuziyiza kuzaala gyoliko ate nga n’okutuusa kati tonnagenda mu nsonga, tosooka kwelalikirira. Kiyinza okutwala wiiki munaana okuddamu okugenda mu nsonga. Oluvannyuma lwa wiiki munaana ng’omaze okuggyamu olubuto, genda ewa omusawo.

Ntegeera ntya oba omusaayi gwange gwa nsonga?

Oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, kya bulijjo nnyo okuvaamu omusaayi okumala ennaku oba wiiki ntono. Wadde nga kiva ku kuggyamu olubuto, abamu bayinza okukitwala nti bagenda mu nsonga. Waliwo akakwate wakati w’ebika bino ebibiri eby’okuvaamu omusaayi, naye era waliwo enjawulo enkulu.

Omusaayi oguva ku kuggyamu olubuto guba muzito nga gulina ebitole okumala essaawa oba ennaku oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto.Oyinza n’okusigala ng’olaba amabala okumala wiiki entono tono. Kino kya bulijjo.

Nzirukanya okuvaamu omusaayi oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto?

Oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, osobola okukozesa kyona kyoyagala okugeza paadi, tampon oba ekikopo ky’okugenda mu nsonga. Oyinza okwagala okukozesa paadi osobole okutegela oba okulaba obungi bw’omusaayi.
Bw’otuuka ekiseera n’oddamu okugenda mu nsonga, osobola okukikwasaganya ngeri y’emu nga bwobade okola.

Kisoboka okuba nga nkyali lubuto?

Empeke y’okuggyamu embuto ekola nnyo, n’olwekyo bw’omira mu butuufu, kizibu okuba nti okyali lubuto. Ebibalo byebino,

  • Okukozesa omugatte gwa Mifepristone ne Misoprostol kikola ebitundu 95-98%, era
  • Okukozesa Misoprostol yokka kikola ebitundu 95%.

Wadde nga ekola nnyo, waliwo emirundi mitono nnyo empeke eno gy’etakola. Bw’oba ​​nga oluvannyuma lwa wiiki munaana tonagenda mu nsonga oba ng’oteebereza nti olubuto telwavamu bulungi, tuukirira omusawo. Okuggyamu embuto mu butali bujjuvu kuyinza okukwasaganyizibwa mu ddwaaliro.

Mu bufunzi

Okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bulabe kikola nnyo bwe kituuka ku kuggyawo olubuto. Kya bulijjo omubiri gwo okukyuka ne gutwala akaseera okudda mu mbeera eya bulijjo oluvannyuma lw’okugyamu olubuto. Bw’oba ​​obadde omira empeke y’okuggyamu embuto, kikulu okukuuma ebintu ebikulu mu birowoozo:

  • Kiyinza okutwala wakati wa wiiki nnya n’omunaana okuddamu okugenda mu nsonga
  • Ebbanga ly’onootwala okuddamu okugenda mu nsonga lijja kusinziira ku nkola yonna eyokuziyiza okuzaala.
  • Tekisuubirwa nti okyali lubuto kuba empeke y’okuggyamu olubuto ekola okutuukila ddala ku bitundu 98%.

Bw’oba ​​oluvannyuma lwa wiiki munaana togenda mu nsonga, funa amagezi g’abasawo. Kyokka buli muntu wa njawulo. Wadde ng’abantu abamu balina cycles ezitelela amangu, abamu tebalina, era ekyo si kibi. Ekikulu kwe kutegeera omubiri gwo n’okwesomesa naddala ng’olina embeera endala ez’obujjanjabi. Wuliriza omubiri gwo.
Bw’oba ​​olina okubuusabuusa era ng’oyagala okukakasa oba olubuto lwavammu, genda wano omanye ekigezo ky’olina okukola ne ddi lwolina okukikola. Osobola n’okwongela okwebuuza wano.