Munno oba omwagalwa wo bw’aba aggyemu olubuto, waliwo ebintu bingi by’osobola okukola okumuyamba. Ne bw’oba tomanyi kya kukola, okubeerawo kwokka kiyinza okuleeta enjawulo eyamanyi.
Omwagalwa wo ye yekka yalina eddembe ely’okusalawo oba anaakomya olubuto oba nedda. Naye okubeera n’omuntu okumpi gwayinza okwogera naye n’okubuulira ebirowoozo bye n’enneewulira ze kiyinza okumuyamba okuyita mu mbeera eyo.
Mu kitundu kino, tujja kukuwa amagezi goyinza okuwa omwagalwa wo oba obuyambi obutuufu n’obuwagizi mu nneewulira.
Waayo obuyambi obw’omugaso
Okugenda mu ddwaliro n’okuwummula ekimala bikulu oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Okuwa obuyambi mu bintu ebikalu ebikwatwako nayo ngeri nnungi nnyo ey’okuyamba munno okuyita mu kiseera kino.
Amagezi okuyamba mu kuggyamu olubuto
Tokaka muno kukkiriza buyambi bwo wabula mutegeeze nti osobola okumuwa obuyambi wona wabwetagila ng’okola ekimu ku bino wammanga:
- Okumutwala n’okumuzza mu ddwaaliro (kino kikulu nnyo naddala bwe baba yeetaaga omuntu amunona oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto singa nga abela alongooseddwa).
- Okumulindako mu ddwaaliro (kubanga oyinza obutakkirizibwa kuyingira mu kisenge mwe beebuuzibwako).
- Okubalabirira obulungi mu kisela kyokuwona (okugeza, nga bafumba emmere, okulabirira abaana oba okubeerawo obubezi kwokka);
- Okujjukira nti okuggyamu olubuto nsonga ya muntu ku bubwe oba nsalawo ye yekka n’olwekyo obutagezaako kubuulira muntu oyo ky’alina kulowooza, ky’alina okukola, ky’alina okuwulira, oba engeri gy’alina okweyisaamu olw’ebyo by’ayitamu kikulu;
- Okumanya nti okuggyamu olubuto si kintu kya buswavu, wabula kikulu okussa ekitiibwa mu by’ekyama by’abantu n’obutayogela yogela kyona kyebabela bagabanyeko nawe. Kiri gye bali ku nsalawo ya ddi, n’engeri gye boogera ku byabaddewo; ne
- Okutegeera nti omuntu ono ayinza obutabela mwetegefu kwogela kwekyo ekiba kyamutukukako. Munno bw’aba awulira bulungi okusobola okukubaganya ebirowoozo naawe ku by’ayitamu, mukubirize okwogera mu lwatu ku ndowooza ze n’enneewulira ze.
Wadde nga kikulu nnyo okubererawo munno ng’aggyemu olubuto, jjukira naawe okwerabirira obulungi naddala okukola ku ndowooza zo ez’obuntu ku bikwata ku kuggyamu embuto.
Olubuto awamu n’okuluggyamu biyinza okuba nga byakuleka owulila bubi. Kyetaagisa amaanyi mangi okubeera olwazi lw’omuntu omulala olw’ebirowoozo. Bw’oba owulira nga wetaaga obuyambi obw’enjawulo, yogelako n’omusawo omujjanjabi.
Beera omuwuliriza omunyiikivu
Abantu bangi basanga obuzibu mu kusalawo nga balowooza ku ky’okuggyamu olubuto. Okubeerawo ku lwa munno nga bw’batebelezza ebirala by’ayinza okukozesa n’okwogera n’omuntu afaayo kiyinza okuyamba ennyo. Bwe abela yeetaaga kwogera ku ngeri gy’ awuliramu oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto,mubererewo.
Kijjukire nti si buli muntu nti ajja kuwulira bulungi okugabana oba okubaganya ebirowoozo ku ekyo kyabela ayitamu mu kasera ako.Kimanye nti bye boogera bya muwendo nnyo okusinga ekintu kyonna ky’oyinza okwongera ku mboozi. Teweetaaga kugonjoola kizibu oba okuba n’amagezi agasinga obulungi mu nsi okusobola okuyamba.wuliliza buwuliliza.
Obuwagizi mu nneewulira nga tuyita mu kuwuliriza
Okuggyamu olubuto, okufaananako n’enkola endala ez’obujjanjabi, kiyinza okuleetawo okutya. Kya mugaso okubulila munno nti asobola okujja gy’oli singa aba atidde oba nga yeeraliikirira.
Wuliriza era weewale okubabuuza ebibuuzo ebiyingirira oba okubawa amagezi. Munno ayinza okwagala okwogela mpola mpola oba obutayogerarako ddala.
Wadde ng’abantu abamu bafuna enneewulira ezikontana, okunoonyereza kulaga nti abantu ssekinnoomu bwe baweebwa obuyinza okwesalirawo era ne bawagirwa mu kukola ekyo, mu bujjuvu bajja kuwulira nga bawummudde era nga bakakafu nti basazeewo ekituufu.
Bawagire nga bamaze okuggyamu olubuto
Ekisinga obukulu ky’oyinza okukolera munno ng’amaze okuggyamu olubuto kwe kuwuliriza bye yeetaaga n’okubeerawo ku lulwe. Oba oli awo bayinza okuba baagala kubeera n’omuntu nga bamaze okuggyamu olubuto.
Ate munno bw’aba ayagala kubeera yekka, muleke abele yekka. Osobola okwewaayo okubeerawo singa abakyusiza endowooza ye.
Okusinziira ku mbeera gy’alimu, munno ayinza okuwulira ng’awummudde era ng’ayagala kutambuza bulamu bwe mu maaso.
Gezaako okubayamba okuleka ebisuubirwa byonna bye balina okuwulira mu ngeri entongole ng’olaga nti ekintu kino kye bayitamu kya njawulo gye bali. Jjukira nti tewali ngeri emu gy’oyinza kuwulilamu oluvanyuma lw’o kuggyamu olubuto.
Mu ngeri y’emu, tewali nkola emu eyinza kuyamba omuntu kuyita mu mbeera eyo, n’olwekyo omuntu wo ky’asinga okwetaaga kwe kussa essira ku byetaago bye sekinoomu.