Okufuna Olubuto Oluvannyuma lw’Okuggyamu Olubuto

Oyinza Okufuna Olubuto Amangu Ki Nga Omaze Okuggyamu Olubuto?

Abakyala abaggyamu embuto bangi balina ebibuuzo ebyekuusa ku kibaawo oluvannyuma lwokulujjamu. Ebitera okweraliikiriza mwemuli omukyala okuddamu okufuna olubuto, enkula yembuto ezinaddidira, nengeri ezenjjawulo ezokuziyiza okuzaala. Ekiwandiko kino kijja kwogera ku bibuuzo ebitera okubuuzibwa era kiwe obubaaka obukwata ku lubuto oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto.

Okuggyamu olubuto kisobola okutataaganya obusobozi bwange okuzaala?

Bwe kukolebwa mu ngeri etali ya bulabe, okuggyamu olubuto tekutatanganya busobozi bwo kuzaala, omuli n’obusobozi bwo okufuna embuto ezikula obulungi mu biseera eby’omu maaso. Tekyongera mikisa gyo egy’okuvaamu olubuto oba okuzaala nga omwaana tonnatuuka.

Waliwo emikisa mitono nnyo nti okuggyamu olubuto kuyinza okukosa obusobozi bwo obwo kuzaala n’embuto zomu maaso singa ofuna yinfekisoni ne tejjanjabibbwa oluvannyuma nga oluggyemu. N’olwekyo, bw’olaba obubonero obulaga nti olina yinfekisoni, kikulu okufuuna obujjanjjabi. Obubonero bw’a yifekisoni mulimu okulumwa olubuto, omusujja, okuwulira nga omulwadde oba okuvaamu amazzi agatali ga bulijjo mu bukyala. Okuggyamu embuto mu ngeri etali ya bukuumi kuleeta obulabe obuwerako eri obulamu, nga mwemuli n’obutasobola kuzaala. Nolwekyo, kikulu okulonda enkola ey’okuggyamu olubuto enung’aamu.

Okuggyamu olubuto kuyinza okukosa obulamu bwange?

Okuggyamu olubuto tekirina bulabe, era tekitera kukosa bulamu bwo.Tekyongera mikisa gyo egy’okufuna kookolo w’amabeere oba okwennyamira.

Wabula oyinza okufuna okutatanganyizibwa okwenjawulo oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto, omuli okulumwa olubuto, omusujja, okuvaamu omusaayi mu bukyala, okusindikirirwa emmeme, okusesema, ekiddukano, oba okulumwa omutwe. Obulumi busobola okujjanjjabizibwa n’eddagala nga ibulufeni oba panadol.

Ebizibu eby’amaanyi ebiva mu kuggyamu embuto tebitera kubawo nnyo. Kyokka, nga bwe kiri ku mujjanjjabi bwonna, waliwo akabi akayinza okuvaamu. Mu bino mulimu okuggyamu olubuto mu butali bujjuvu, okukwatibwa yinfekisoni oba okuvaamu omusaayi.

Mmala bbanga ki nga mmaze okuggyamu olubuto okufuna alizaati zo lubuto entuffu?

Okukebera olubuto kupima obusimu bwolubuto obuyitibwa human chorionic gonadotropin (hCG), mu musulo. Singa ofuna alizaati elaga ntino oli lubuto, hCG ebeeramu mubiri gwo.

Newankubadde nga tokyali lubuto oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto lwonna, okyasobola okufuna alizaati elaga nti mweluli okumala wiiki entono tono. Kino kibawo kubanga hCG eyinza okuba ng’ekyali mu mubiri gwo. Oluvannyuma lwa wiiki nnya ng’omira empeke zino, alizaati elaga nti HCG awedde mu mubiri gwo. Waliwo emikisa mitono egy’okuggyamu olubuto mu butali bujjuvu, naye kino kitera okuwerekerwako obubonero obulala.

Nsobola okufuna olubuto amangu ddala nga mmaze okuggyamu olubuto?

Okufulumya eggi, enkola enkwaso mwe zifulumya eggi erikuze, yeetaagibwa okusobola okufuna olubuto. Bw’oba ​​olubuto, obela tokyafulumya maggi. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto okufulumya eggi n’okugenda mu nsonga bijja kuddamu era osobolela ddala okufuna olubuto.

Omukyala atera okuddamu okugenda mu nsonga nga wayise wiiki nnya ku mukaaga ng’amaze okuggyamu olubuto. Omukyalaa asobola okufulumya eggi amangu ddala. N’olwekyo, okyayinza okufuna olubuto ne bwoba tonaba kudda mu nsonga.Bw’oba ​​oyagala okutangira okufuna olubuto olulala lw’otoyagala oba lwe wetategekedde lowooza ku ky’okutandika eddagala eriziyiza okuzaala.

Nnewala ntya okuddamu okufuna olubuto?

Nga bwe kyogeddwako emabega, osobola okufuna olubuto mu bwangu ddala oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Bw’oba ​​toyagala kuddamu kufuna lubuto, olina okulowooza ku ngeri gy’oyinza okuziyizaamu okuzaala. Enkola z’okuziyiza okuzaala mulimu:

  • Kondomu oba obupila b ugali mpitawa
  • empeke eziziyiza okuzaala,
  • ekintu ekisimbibwa mu mubiri,
  • empiso,
  • Akaweta ko mu nnabaana (IUD),
  • empeta y’obukyala, ne
  • enkola eyitibwa patch.

Kyabulijjo abakyala okutandika okuziyiza okuzaala amangu ddala nga bamaze okuggyamu olubuto okutangira okufuna olubuto olulala.Okunoonyereza okumu kwazuula nti abakyala 70 ku buli 100 abaggyamu embuto baagala okuva mu dwaliro nga balina eddagala eriziyiza okuzaala.

Nkola ki ez’okuziyiza okuzaala ze nyinza okukozesa oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto?

Engeri gy’otandika okuziyiza okuzaala amangu ddala ng’omaze okuggyamu olubuto ejja kwesigama ku nkola gyewakozesa okugyamu olubuto waggyamu n’ekika ky’okuziyiza okuzaala ky’oyagala.

  • Okulongosebwa– Bw’oba ​​walongosebwa okuggyamu olubuto, osobola okutandika enkola ezisinga ez’okuziyiza okuzaala ku lunaku lwe lumu. Mu bino mulimu empeke, IUD, patch, empiso, empeta y’obukyala.
  • Okuggyamu oubuto okozesa eddagala – Bw’oba ​​wamira eddagala okuggyamu olubuto, osobola okutandika enkola ezisinga ez’okuziyiza okuzaala ku lunaku lwe lumu lw’omira mifepristone, eddagala ly’osooka okumira okuggyamu olubuto. Mu bino mulimu empeke, empiso, patch, n’empeta y’obukyala. Bino okubitandika amangu ddala tekikosa nkola ya mifepristone. Oluvannyuma lw’okukakasa nti olubuto luvuddemu bulungi,IUD esobola okukozesebwa.

Osobola okutandika okukozesa kondomu oba obupila essaawa yonna ng’omaze okuggyamu olubuto. Kondomu tezitangira kufuna mbuto kwoka wabula zikukuuma n’obutafuna bulwadde bw’kikaba obwenjawulo (STIs)

Tewali bukakafu bulaga ekiseera ekiragiddwa ky’olina okulinda okwegatta ng’omaze okukozesa empeke z’okuggyamu embuto, naye kirungi okulinda okutuusa ng’omusaayi omungi gukendede, n’owuliriza omubiri ne kyoba oyagala.

Mu bufunzi

Waliwo ebintu bingi by’olina okulowoozaako mu nkola yonna ey’okuggyamu olubuto, naddala oluvannyuma. Okugeza, abakyala bangi balina okweraliikirira okw’enjawulo ku busobozi bwabwe obw’okufuna embuto oluvannyuma lw’okuggyamu embuto n’engeri y’okwekuuma obulungi obutafuna lubuto olulala lwe batayagala oba lwebaba tebetegekedde. Kikulu okumanya nti okuggyamu olubuto tekitera kukosa kuzaala, era, kisoboka okuddamu okufuna olubuto oluvannyuma lw’okuggyamu olubuto. Okutandika enkola ennungi ey’okuziyiza okuzaala amangu ddala y’engeri esinga obulungi ey’okwewala okufuna olubuto lw’otogenderera. Ekirungi nti waliwo enkola nnyingi ez’okuziyiza okuzaala, era ezisinga zisobola okuteekebwa mu nkola amangu ddala ng’omaze okuggyamu olubuto.

  1. “Can having an abortion affect my fertility?” NHS, 2018, www.nhs.uk/common-health-questions/womens-health/can-having-an-abortion-affect-my-fertility/.
  2. “Patient Education: Abortion (pregnancy termination) (Beyond the Basics).” Uptodate, www.uptodate.com/contents/abortion-pregnancy-termination-beyond-the-basics/print.
  3. “Abortion Care.” ACOG, www.acog.org/en/womens-health/faqs/induced-abortion.
  4. “Access to Postabortion Contraception.” www.acog.org/en/clinical/clinical-guidance/committee-opinion/articles/2021/08/access-to-postabortion-contraception.
  5. Lähteenmäki, P. “The disappearance of HCG and return of pituitary function after abortion.” Clinical Endocrinology, 9(2), 101–112, 1978, https://doi.org/10.1111/j.1365-2265.1978.tb02188.x.