Okujjamu olubuto mu Uganda

Uganda country flag

Okujjamu olubuto mu Uganda, tekikilizibwa mpozi nga kikoledwa omusawo omutendeke nga obulamu bwomukyala buli mu matiga. Nga abakyala battoba okufuna obuyambi okujjamu olubuto mungeli entuffu. Abasinga bagenda nebazijjamu mungeli enkyamu eteeka obulamu bwabwe mumatiga. Minisitule yebyobulamu mu alipoota yomwaka 2017-2018 yalaga nti obutundu 5.3 ku buli kikuumi obwabakyala abafa buviila ku mitawana yokujjamu olubuto. [1].

Eliyo emitawana mingi ku mateeka nembela yabantu ebalemesa okufuna obuyambi obutufu nga bavuddemu olubuto nebakomelela nga bakozeseza emilingo emikyamu [2].

Okujjamu olubuto mu Uganda kili mu mateeka?

Newankubadde gavumenti yateeka omukono ku mateeka ga Maputo ku ddembe lyabakyala, yakikola nga eleseyo akawayilo 14(2)c ku byokujjamu olubuto mpozi nga “bamukase, yebase nowekika, oba olubuto nga luteeka omukyala mumatiga nobulamu bwe mu buzibu” [3]. Gavumenti ekyaganye okukiliza embeela ewagila okujjamu olubuto.

Okujjamu olubuto kikilizibwa abasawo nga obulamu bwomukyala bulimu matiga lwa lubuto [4]. Teliyo obuwayilo mumateeka obufuga kino naye banamateeka bakozesa Peno koodi 120 okuboneleza oyo ayambye oba omukyala ajamuolubuto. [5]. Endagililo ze gwanga ku bulamu bwabakyala bugobelela amateeka ela Uganda ekiliza okuwa obuyambi oyo yenna avuddemu olubuto.

Okutuusa kubutundu 80 ku buli 100 mu Uganda bakilisitu [6], ela enzikiliza nga eya bakatulika tabikiliza kujjamu lubuto. Mu 2016, amateeka agakolebwa okukendeeza okufa kwa bakyala nga bagyamu embuto gagyibwawo olwa banakyeewa abagagaana. [7].

Gano amateeka agagana abasawo nabakyala nebawalanibwa, nebatisibwa nokubasiba, okubaasalila omusango nokutwalibwa mukomela [4]. Kino kiletela abakyala okusalawo nebajjamu embuto mu bifo ebikyamu awatali bukugu bwona nekibateeka ku buzibu bwokufumula nabaana, okufuna obuwuka nokufa [8].

Gano amateeka galetela abantu obutakola ku byetaago byabo abagala okujjamu embuto, nekileta okusosolebwa nga ojjeko obuyambi obukilizibwa okuweebwa oyo yenna aba avuddemu olubuto. [9].

Milingo kyi eyokujjamu olubuto eli mu Uganda.

Uganda eweleza obuyambi bwokujjamu olubuto nga okozesa obuweke oba bakulongosa.Mukukozesa obuweke, tulina ebika bibili; Mifeprisone ne Misoprosto. Okulongosa mulimu okwooza munabana awamu nokugaziya nokusimamu munabana.

Okujjamu olubuto mu Uganda kuli kutya? Abakyala bameka abajjamu embuto?

Newankubadde amateeka mu Uganda tegakiliza kujjamu lubto mpozi nga obulamu bwomukyala buli mu matiga oba; omwana analina obukyamu obutamukiliza kukula, nga bamukwata, yebaka nowekiika, alina akawuka. Okufuna obuyambi bwokujjamu olubuto sikyangu.

Eliyo abakyala 274,500 abajjamu embuto buli mwaka. Kino kyenkana abakyala 48 ku buli 1000 abali wakati wemyaka 15-49 (oba abaana 30 ku 100 abazalibwa). Kwabo 274,500, emitwalo mwenda (90,000) oba obutundu 25 ku buli 100 baweebwa ekitanda mu dwalilo olwebizibu ebigya nga bajjemu embuto mungeli enkyamu. Obuyambi obuweebwa nga omuntu avuddemu olubuto buweela doola 130, buli mulwade ela mumwaka ziwela doola muliyoni kumi na nya. [2].

Okujjamu olubuto nobuweke mu Uganda

Obuweke obujjamu olubuto (Mifepristone ne Misoprostol) gyebuli mu Uganda?

Mifepristone ne Misoprostol gyebuli mu Uganda

Nkoma ddi okukozesa obuweke okujjamu olubuto?

Obuweke obujjamu olubuto mu Uganda bukola mpaka nga olubuto lwa sabiiti kumi nasatu.

Neetaga okumpandikila okufuna Mifepristone ne Misoprostol?

Abatunda eddagala abasinga tebetaga kukuwandikila okufuna obuweke, naye, tebatela kukubulila emitendela emitufu, doozi nekozesa yabwo mukujjamu olubuto.
Okukuwandikila kusobola okukolebwa mu Uganda ku malwalilo agamu aga gavumenti, ago bwananyini nebitongole ebimu.
Bakuwandikila okukozesa Misoprostol yekka kundwadde endala nga alusa naye nga sikujjamu lubuto.

Bika kyi ebyobuweke ebili mu Uganda

Tulina ebika bibili ebisinga mu Uganda.

Okukozesa Misoprostol ne mifepristone nga ebika mulimu MA Kare, Divabo ne Mariprist
Misoprostol yekka aliyo mumanya nga Miso Kare, Cytotec, Misoclear, Kontrac ne Misoprost

Mifepristone dagala elitangila progestrone ekumma olubuto okusigalanga ekola.
Ma Kare lyelimu ku ddagala elilina Misoprostol ne Mifepristone

Empeke za Ma-kare ez'okuggyamu embuto mu Uganda
Empeke za Miso Kare ez'okuggyamu embuto mu Uganda
Ma-kare Eddagala eriggyamu embuto mu Uganda
Empeke za nnyazaala mu Uganda
Empeke za Mifeso eziggyamu embuto ziri mu Uganda kati

UGX 25,000 to 30,000

Empeke za avertiso eziggyamu embuto ziri mu Uganda kati

UGX 6,000

Empeke za Kontrac ez'okuggyamu embuto mu by'obujjanjabi mu Uganda
Empeke za Mariprist ez'okuggyamu embuto mu by'obujjanjabi mu Uganda
Misoclear empeke ez'okuggyamu embuto mu by'obujjanjabi mu Uganda
Empeke za Misoprost zisangibwa mu Uganda
Empeke za Cytotec eziggyamu embuto zisangibwa mu Uganda
Eddagala lya Divabo eriggyamu embuto mu Uganda

Obuweke obujjamu olubuto bwameka mu Uganda?

Teliyo muwendo okusalibwako naye obuweke buli makati ga 20,000 ne 40,000 eza Uganda ku obwa Misoprostol yekka. Ate nemitwalo etaano ne kumi ku obwo obulina Misoprostol ne Mifepristone

Ani gwensobola okutukilila okumpa ebisingawo kukujamu olubuto mu Uganda? [10]

Community Health Rights Network (Coherinet) Aunt KAKI Sexual Reproductive Health Services and Rights Information
Kuba esimu eyobwelele okuyambibwa nga olina obuzibu ku lubuto nokutangila okuzaala
Toll Free line: 0800 24 72 47 (MTN) / 0800 34 73 47 (Airtel)
Facebook: https://web.facebook.com/coherinet/

Marie Stopes Uganda
Okufuna obuyambi kukutangila oluzalo nokuyambibwa kubulumi nga ovuddemu olubuto ku Mariestopes
Kuba esimu 1: +93 75 2220 000
Kuba esimu: +256 800 120 333
Eya whatsapp: +256707713301
Obubaka: 8228

Reproductive Health Uganda
Okufuna obuyambi kukutangila oluzalo nokuyambibwa kubulumi nga ovuddemu olubuto ku Reproductive Health Uganda
Kuba: +256 31 2207100
Omutimbagano: www.rhu.or.ug

Inclusive Health Bureau
Okufuna obuyambi kukutangila oluzalo nokuyambibwa kubulumi nga ovuddemu olubuto ku Inclusive Health Bureau.

Naguru Teenage Center
Eno ekuwa obuyambi nga ovuddemu olubuto, eyamba kunsonga zabakyala, ekebela oba oli lubuto, obugumba, kubyendya nokwelabilila, ensonga zokulwala awamu nabakyala abali lubuto.

St. Augustine Community Health Center (SACH)
Eno ekuwa obuyambi nga ovuddemu olubuto, eyamba kunsonga zabakyala, ekebela oba oli lubuto, obugumba, kubyendya nokwelabilila, ensonga zokulwala awamu nabakyala abali lubuto byona ku malwalilo ga SACH.
Kuba ku zino enamba: +256-703692281/+256-782141191

The Association of Obstetricians and Gynecologists of Uganda (AOGU) Bakuweleza obuyambi bwabasawo abakugu, okuyigiliza ne lisaachi.

Turget Uganda
Esimu: +256-772688050
https://www.turgetug.org/
Address: Plot 279, Willis Road, Namirembe Resource Centre, Namirembe Kampala, Uganda
Toll Free: 0800100072

Okujjamu olubuto mu dwalilo

Emilingo eli emeka eyokujjamu olubuto mu dwalilo mu Uganda?

Uganda eweleza obuyambi bwokujjamu olubuto nga okozesa obuweke (MA) oba bakulongosa.Mukukozesa obuweke, tulina ebika bibili; Mifeprisone ne Misoprosto. Okulongosa mulimu okwooza munabana (MVA) awamu nokugaziya nokusikamu munabana.(D&E)

Okukozesa obuweke (MA) nga okozesa obuweke bukoma ku sabiiti 13
Okwooza munabana (MVA) kikoma ku sabiiti 14
Okugaziya nokusikamu kikolebwa ku mbuto mpaka ku sabiiti 24 (Zitela okubeela wakati wa 12-16)

Obuyambi eli avudemu olubuto kyikilizibwa mu malwalilo agobwananyini ne gavumenti mu Uganda.

Nsobola okujjawa obuyambi bwokwooza munabana mu Uganda?

Okwooza munabaana mu Uganda kisoboka okufunibwa mu malwalilo agobwananyini, gavumenti nagebitongole.

Okwooza munabana (MVA) kwameka mu Uganda?

MVA eli wakati we’mitwalo 15 ne 30 mu sente ze Uganda okusinzira ku dwaliro wogifunide. Amalwaliro ga’gavumenti gabeeyi yawansi, okusingako agobwananyini.

Nsobola ntya okufuna ebisingawo?

Okumanya ebisingawo nokuyambibwa, osobola okutukilila abakugu baffe ababudabuda nga oyumyako nabo ku www.safe2choose.org oba ku emeilo eya info@safe2choose.org. Okubudabudibwa kuli mu luzungu noluganda.

LEARN ABOUT YOUR COUNTRY

Abawandisi

Bya tiimu ya safe2choose nga bawagidwa abakugu ku carafem nga bagobelela emitendela ya Ipas eya 2019 awamu ne WHO aga 2012.

[1] “The Uganda Demographic Health Survey 2016.” dhsprogram.com/pubs/pdf/FR333/FR333.pdf Accessed January 2022.

[2] “Abortion and Post-Abortion Care in Uganda.” Guttmacher Institute www.guttmacher.org/fact-sheet/abortion-and-postabortion-care-uganda. Accessed January 2022.

[3] CEHURD, 2016, p. 23

[4] HRAPF, 2016

[5] Mulumba et al., 2017

[6] Larsson et al., 2015

[7] Cleeve et al., 2016

[8] Aantjes et al., 2018

[9] Mutua et al., 2018

[10] “Abortion Laws in Uganda.” How to Use Abortion Pill, www.howtouseabortionpill.org/abortion-laws-by-country/uganda/. Accessed January 2022.