Okuggyamu Embuto Okutali Kujjuvu kye ki?
Okuggyamu olubuto okutali kujjuvu kubaawo ng’omubiri gwo tegugobye mu bujjuvu biva mu lubuto ng’omaze okuggyamu olubuto ku bubwo (era ekimanyiddwa ng’okuggyamu olubuto n’empeke) oba okuvaamu olubuto. (1, 2).
Obubonero bw’okugyamu embuto mubutali bujjuvu
Bw’oba olowooza nti oyinza okuba nga waggyamu olubuto mubutali bujjuvu, kikulu okwegendereza obubonero buno obw’omubiri obutera okukwatagana n’okuggyamu olubuto mubutali bujjuvu:
- obulumi mu lubuto olwa wansi oba mu diira;
- okuvaamu omusaayi ogw’ekigero oba ogw’amaanyi mu bukyala; ne
- obulumi obubunye okutuuka mu mugongo ogwa wansi, ebitundu by’ekyama oba mu bisambi (1, 2).
Kiki kyenina okukola bweba ndowoza nti okugyamu olubuto tekwali mubujjuvu?
Bw’oba olowooza nti okuggyamu embuto tekwatuukiridde, kiba kirungi okwebuuza ku musawo asobola okuzuula obulungi embeera yo. Singa okuggyamu olubuto mu bujjuvu kukakasibwa, waliwo obujjanjabi obuwerako, omuli okulongoosa n’okuddukanya obujjanjabi.
Ozuula otya ng’oggyamu olubuto nga tekwali mubujjuvu?
Abasawo basobola okuzuula olubuto olutali lujjuvu nga bayita mu kukeberebwa omusaayi oba okukebera akatiivi. Okukebera omusaayi kupima obusimu obuyitibwa human chorionic gonadotropin (hCG), nga buno busimu obukwatagana n’olubuto. Bw’oba obadde oggyamu olubuto olutalilujjuvu, omutindo guno gujja kuba wansi. Akatiivi kajja kunoonya ebintu ebiva mu lubuto ebikyaliwo mu nnabaana (1).
Nzijjanjaba ntya okuggyamu olubuto okutali Kujjuvu?
Enkola ekozesebwa okujjanjaba okuggyamu olubuto olutali lujjuvu ejja kusinziira ku mbeera yo ey’obujjanjabi n’ebyo by’oyagala. Waliwo enkola 3 ezokujjanjaba okugyamu olubuto olutali lujjuvu:
- Okulinda okumaliriza mu butonde. Abasawo bayinza okukuwa amagezi okulinda n’okulaba oba mu butonde omubiri guyisa ebitundu ebisigaddewo ku bwagwo, nga tewali bujjanjabi oba kulongoosebwa. Enkola ya bulijjo era etali ya bulabe naddala mu lubuto nga lukyali bato, ng’omubiri gutera okumaliriza enkola eno awatali buzibu.
- Enzirukanya y’eddagala. Enzirukanya y’eddagala erimu okumira eddagala lya misoprostol, eriggyamu embuto. Misoprostol ekola nga yeekwata ku binywa n’ereeta okukonziba mu nnabaana, n’olwekyo, eyamba nnabaana okufulumya ebirimu (4).
- Enzirukanya y’okwosa munabaana. Kino era kitera okuyitibwa okyuuma ekinuuna, era kikolebwa mudwaliro. N’ekyuuma ekinuuna , omusawo ajja kugyamu ebiri munabaana mpola mpola. Waliwo enkola biri ez’okwoza munabaana: ekyuuma ekinuuna ek’ngalo ne ekyuuma ekinuuna ekyamasanyalaze. Zino enkola zifanagana kuba zombi zikozesa okunuuna ebiri munabaana (3).
Ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna (WHO) kiwa amagezi ku ngeri eziwerako ez’obujjanjabi bw’okuggyamu embuto ezitalizijjuvu, naye engeri zino zaawukana okusinziira ku wiiki z’olubuto.
Embuto ezitasukka wiiki 14
Ku mbuto ezitasukka wiiki 14, obujjanjabi buno wammanga busoboka:
- ekyuuma ekinuuna; ne
- enzirukanya y’eddagala nga bakozesa misoprostol.
Waliwo engeri bbiri ez’okukozesaamu misoprostol ku nzirukanya y’okuggyamu embuto mu ngeri etatuukiridde: okumira ne wansi w’olulimi. Eddagala ly’omu kamwa lye eryo ly’omira mu kamwa n’omira butereevu. Eddagala eriri wansi w’olulimi lye eryo ly’oteeka wansi w’olulimi n’okwata eddagala okumala ekiseera oba okutuusa lwe lisaanuuka. Dozi ya buli ngeri y’okuweebwa eddagala ya njawulo. Ekitongole kya WHO kigamba okumira oba 600μg za misoprostol eziweebwa mu kamwa OBA 400μg za misoprostol wansi w’olumi (2).
Embuto ezisukka oba ezenkanankana wiiki 14
Ku mbuto ezisukka oba ezenkanawa wiiki 14, ekitongole ky’ebyobulamu eky’ensi yonna kiwa amagezi okujjanjaba nga bakozesa misoprostol. Abantu ssekinnoomu basobola okuddamu ddoozi ya misoprostol eya 400μg buli luvannyuma lwa ssaawa ssatu. Busangibwa wansi w’olulimi (wansi w’olulimi), mu bukyala (nga buyita mu bukyala), oba mu kamwa (wakati w’amatama ne kibuno) (2).
Kiki kye nsuubira oluvannyuma lw’okujjanjabwa olw’okuggyamu olubuto olutalijjuvu?
Bw’oba ofunye obujjanjabi olw’okuggyamu olubuto mu bujjuvu, osobola okusuubira okuvaamu omusaayi mu ngeri etategeerekeka oba okuvaamu amabala okumala wiiki bbiri oluvannyuma lw’okulongoosebwa. Osobola okukozesa paadi okuddukanya n’okulondoola omusaayi. Bw’okozesa misoprostol, osobola okusuubira okuvaamu omusaayi omungi okumala ennaku nnya.
Okugatta ku ekyo, oyinza okulumwa olubuto olwa wansi nga wayise eddakiika 30 ng’omaze okumira misoprostol. Okuwulira obulumi okuva ku misoprostol oba vacuum aspiration kiyinza okumala wiiki ntono. Obulumi buyinza okuba nga bwe wandifunye mu nsonga eya bulijjo eya buli mwezi, oba buyinza okuba obw’amaanyi. Kino kibaawo kubanga nnabaana wo akendeera n’adda mu sayizi yaayo nga tonnafuna lubuto (3,5).
Misoprostol asobola okuleeta ebizibu ebirala omuli omusujja n’okuwilia empewo. Wabula omusujja tegulina kumala ssaawa 24. Okugatta ku ekyo, kiyinza okuvaako ebizibu mu lubuto, gamba ng’okusindikirirwa emmeme, okusesema n’ekiddukano. Okusindikirirwa emmeme n’okusesema bijja kuggwaawo mu ssaawa bbiri oba mukaaga. Ekiddukano kirina okuggwaawo mu lunaku lumu. N’ekisembayo, misoprostol nayo esobola okuvaako olususu okusiiyibwa wadde nga tesaana kumala ssaawa ntono (5).
Engeri esinga obulungi ey’okuwona ng’oli ku bujjanjabi buno kwe kuwummula nga bwe kisoboka. Kyokka osobola okuddamu okukola emirimu gyo egya bulijjo nga bulijjo enkeera singa oba owulira bulungi. Ekirala, osobola okujjanjaba obulumi bwo n’eddagala nga ibuprofen (Advil) oba acetaminophen (Tylenol). Bulijjo goberera ebiragiro ebikwata ku ddoozi ku ddagala(3).



