Okukolagana n’abagyamu embuto mu kitundu kyo

Abaguzi b'okufuna okusiba safe2choose

safe2choose ekuuma omukutu gw’ensi yonna ogw’abasawo abakakasibwa abawa obujjanjabi obujjuvu obw’okuggyamu embuto.
Twegatteko! Twagala obeere ekitundu ku kyo, era nga tuli wamu, tusobola okuyamba abantu mu nsi yonna mu kufuna eddembe lyabwe mu bulamu bwabwe munsonga z’okwegatta n’okuzaala..

Emitendera gyaffe egy’okusindika abaggyamu embuto

Bakansala ba safe2choose babulilira ku nsonga z’okuggyamu embuto ezitali za bulabe nga bayita ku emailo oba mukunyumya nabo mubuliwo. Ku abo abeetaaga okufuna empeke z’okuggyamu embuto, okuggyamu embuto ne kyuuma ekinuuna oba abeetaaga obuyambi obw’enjawulo, bakansala ba safe2choose babasindika eri abasawo abagyamu embuto abakakasibwa abali okumpi.
safe2choose ekolagana n’abasawo mukitundu kyo okulaba nga buli muntu afuna obujjanjabi obw’enjawulo obw’okuggyamu embuto, era okusindikibwa ku musawo kukolebwa ng’omuntu oyo amaze okwekebejjebwa bakansala baffe.

Engeri enkola yaffe ey’okusindika abagyamu embuto kubasawo gy’ekola

Abasawo abagyamu embuto betukologana nabo balondeddwa n’obwegendereza okusinziira ku bumanyirivu bwe balina mu kuwa empeereza y’okuggyamu embuto ey’omutindo.
Omukutu gwabo betukologana nabo abagaba obuyambi gulimu abasawo abagyamu embuto n’emikwano mu nsi yonna abawa obuweereza bw’okuggyamu embuto ng’okufuna empeke z’okuggyamu embuto, okuggyamu embuto ne kyuuma ekinuuna (MVA) , oba okuggyamu embuto nga balongoosa, naye era n’empeereza endala ng’okufuna eddagala eriziyiza okuzaala, obuyambi mu mateeka n’enneewulira n’ebirala bingi.

Tutegera akabi akali mu by’okwerinda akajja n’ebiragiro ebikwata ku kuggyamu embuto naddala mu nsi ezikugirwa ennyo okuggyamu embuto. Eno y’ensonga lwaki omukutu gwaffe ogwa bo betukologana nabo mu nsi yonna gukuumibwa mutiribiri ..
Okukuuma omukutu omulungi, tukakasa nti abasawo abagyamu embuto batendekeddwa nnyo era balina ebisaanyizo ku bikwata ku buweereza bwo kugyamu embuto n’okulabirira abaggyamu embuto, era tubawagira n’ebintu ebitendeka ku yintaneeti.

Kiki safe2choose kyewa abasawo abayamba abagyamu embuto

safe2choose ewa abasawo abayamba okugyamu embuto empeereza zino wammanga:

  • Okusindikibwa obutereevu mu mpeereza okulabirira obulamu bw’okwegatta n’okuzaala;
  • Okuyungibwa ku mutimbagano gw’ensi yonna ogw’abasawo abaggyamu embuto era kiyamba okweyongera okugabana eby’okuyiga n’enkola ennungi;
  • Okutendekebwa okw’obwereere ku yintaneeti ku nkola ennungi ey’okuggyamu embuto mu ngeri ey’obukuumi & obukugu mu kubudaabuda; ne
  • Okufuna ebikozesebwa eby’obwereere ebikwata ku, ebyenjigiriza, n’empuliziganya (IEC) ku bifo byabwe.

Emisomo gy’okuggyamu embuto ku yintaneeti

Ttiimu y’abakansala eya safe2choose yakola omusomo gw’okubuulirira abantu ku kuggyamu embuto ku yintaneeti okuwagira okutendekebwa kw’abakansala mu ngeri ya digito mukuggyamu embuto.

Omusomo gw’okubuulirira ku kuggyamu embuto ku yintaneeti

Twegatteko era obeere ku mutimbagano gwaffe ogw’abasawo abayamba okugyamu embuto

Omukutu gw’ensi yonna ogw’abasawo abayamba okugyamu embuto abakola okuwagira n’okunyweza okufuna eddembe kubikwata ku bulamu bw’okuzaala mu by’okwegatta eri buli muntu mu nsi yonna.
Tuukirira butereevu ttiimu y’omukago ku partnerships@safe2choose.org

Wano wefunire FAQs zaffe eri abasawo abayamba okugyamu embuto