Okusobola okukendeeza engeri z’obutagyamu lubutto bulungi n’okwongera kungeri z’okugyamu olubutto ezitayina buzibu, okumanya engeri ezenjawulo ez’esigamiddwako okuba ennungi okusinziira kubanga ly’olubutto kyamugaso nnyo.
lwaki ebanga ly’olubutto lyesigamibwako nnyo nga ogenda okulondawo engeri z’ogenda okukozesa okugyamu olubutto
Newankubadde buli banga lya wiiki nga ssatu ne banga olubuto lyerumaze bireeta eby’okusalawo bingi kulubutto, naye ky’amugaso okubeera n’enjogerezegannya ez’enjawulo buli banga eriyitawo ery’olubutto n’engeri ez’enjawulo enambulukuffu ez’okugyamu olubutto.
Engeri ennungi era ey’esigika ey’okugyamu olubutto ojjakusinziiranga kubanga ly’olubutto ly’elumazze ku ngeri ez’enjawulo ez’okugyamu olubutto ez’eyongedde. Engeri zino newankubadde sinnambulukuffu bulungi okusinziira nti buli omu wanjawulo mu by’obulamu bwe n’okutunuulira engeri gyabadde atambuzaamu eby’obujjanjabi bwe nekikula ky’olubutto, gyabeera n’amateeka agakwaata ku ngeri ez’enjawulo munsi ye gy’alimu.
Okutwaliza awamu, okusalawo engeri ez’enjawulo ennungi ez’okugyamu olubutto. Ensonga zinno wammanga ziyina okutunuulibwa nga mulimu n’engeri zinno.
- Olubuto lyo nga luli wabweeru wa nnabaana.
- Ng’oyina ekikulukutto oba nga olina omusaayi mutono.
- Bwoba ng’olina alagye singa okozesa misoprestol oba mifepristone
- Bwoba ng’oyina obulwadde bwekibumba, ensiggo oba amawuggwe.
- Singa oyina akaweta munabana(IUD)
- Ng’otera okumira corticosteroids; oba
- Nga nnabaana yo yakula bubi.
Ensonga Zinno Zonna ng’ogaseemu n’endala zivunannyizibwa kubika by’engeri ez’enjawulo ez’okugyamu olubutto entuuffu gy’oli. Tekyetagisa naye osobola okukyoogerako muby’obulamu okusobola okufuna okumannya okwenjawulo. Era osobola okwogerako n’ababulirira ng’oyitira ku mukutu gwaffe safe2choose.org.Bajja kuyambu n’okuwa kumagezi okusobola okulondawo engeri entuuffu ey’okugyamu olubutto n’okuyambibwa okufuna amagezi g’ekisawo bwoba ogetaaze.
Akapande kano kayagadde okuyamba okusobola okutegeera engeri ennungi ez’okugyamu olubutto gyoli okusinziira kubanga ly’olubutto. N’okutundika, tugenda kusooka tukunnyonnyole engeri y’okutegeeramu ebbanga ly’olubutto lwerulimu n’okunnyonnyola engeri ez’enjawulo ez’okugyamu olubutto okusinziira kubanga ly’olubutto okusinziira olubutto welubeera lutuuse.
Engeri Y’okutegera Ebbanga Olubuto
Ebanga ly’olubuto libalira kuviradala kulunaku olusoka nga omukazi ayina omuntu lwakomye okugenda munsonga. Kubanga ebbanga omuntu lwakomye okugenda munsonga kiraga nyo okutebereza omuntu oyo wanadamu okutta ejji era kirunginyo okutebereza ddi ejji weryegatidde nekwanso zomusajja.
Engeri Ez’enjawulo Eziriwo Oz’okugyamu Olubutto Ng’osinzidde Kubanga Ly’olubutto.
Okugyamu olubutto ng’omira Obuweke (paka wiiki 13)
Eno enkola erina engeri bbiri ng’okozesa mifepuistone ne misoprostol. Era ng’osobola okozesa misoprostol yekka okugyamu olubuto ngabakulongoseza, singa ebikozesebwa waliwo bitono oba ng’omulwadde alina allagye singa akozesa mifepristone kubanga okunonyereza kulaga nti enkola zonna nga zigatiddwa nnungi.
Misoprostol-yekka
Okugyamu olubutto obulungi nga okozesa obuweke bwa misoprostol-bwoka. Wetaaga 1) obwa misoprostol bunno nga bulimu ebirungo ebikola 200 mcg. Kino kikola omugatte gwa bipimo 2400 mcg era riyina okumiribwa mu doozi ssattu ez’enjawulo eza 800mcg (obukerenda 4) nga buweleddwa ebbanga lya sawa 3.
Bwoba olubutto lwo lwa wiiki 10-13, okozesa obukerenda 12 kiragirwa nnyo era n’emikisa mingi okuvaamu. Bwoba osobola okufuna empeke 8, osobola okugenda mumaaso lwakuba enkola yakendera naye kirungi nnyo okwebuuza ku bakansala okufuna obuyambi obulala nga tonatandika kozesa nkola enno.
Bwoba oyina obukerenda obuyina doozi enz’enjawulo okugeza nga 400mcg buli kakerenda kajja kwetagisa okwongeza omuwendo gy’obukerenda osobale okutuukiriza omugatte gwa doozi. Okumira eddagala mubutuuffu bwalyo era musaawa entuuffu-kyetagisa nnyo. N’olwekyo okubeera obulungi beera mukiffo ekitaliimu bantu omire n’ekubukerenda obukkakkanya obulumi okugeza nga lbuprofen (800mg) oba diclofenac (50mg) nga tonamira doozi yonnna obutarumizibwa mu ndira.
Mifepristone + Misoprostol
Okukozesa obukerenda bwa mifepristone ne misoprostol okusobola okugyamu olubutto obulungi, soka kumira 200mg eza mifepristone namazzi. Kino kiretera okuziba obutofaali obwetagisa okuuma olubutto obutavaamu.
Ng’omaze okumira akakerenda ka mifepristone lindamu esaawa 24 naye obutasusa ssaawa 48 nga tonamira kaweke ka misoprostol. Mukaseera kano ng’olindirira, funa akasseera ak’okuwumulamu mu kifo ekyekusifu naye ng’oli kumpi n’ekinaabiro. Mu dakiika nga 30, nga tonakozesa kaweke ka misoprostol mira eddagala oba obuweke obutasukka bipimo bya 800mg ebya buprofen okumira obuweke bwa misoprostol, teeka obuweke buno obuweza ebipimo 200mcg buli kamu wansi w’olulimi, buleke busaanuuke mpolampola okumala eddakiika 30 nga tolidde wadde okunnywa amazzi. Osobola okumira amalusi mukaseera kano, bwewayita eddakiika 30 mira ebisigalira bwonna ebibeera bisigadde mu kamwa.
Okulumizibwa mu ndira n’okuvaamu omusaayi kutandika mu ssawa nga 4 ku 6 naye kitwala amasaawa 24 okutandika. Kino kitegeeza nti omuntu ali mu mbeera y’okuvaamu olubutto era nga tonatandika kufuluma musaayi mu masaawa 24, osobola okumira obuweke bwa misprostol 4 obulala era ng’ebipimo by’ebimu.
Bweruba olubutto nga luli wakati wa wiiki 9 ku 13, osobola okumira eddagala erisooka okwongera okubwelinakola. Wakati ng’oli ku mutendera guno, osobola okweyongera okumira eddagala erikakannya obulumi nakyo kyetagisa, naye weewale obuweke obuyitibwa aspirin, kubanga kyongeza enfuluma y’omusaayi weekakase ebipimo byeddagala nga biweza ebipimo 200mcg buli kaweke.
Bweruba lususiza wiiki 13 osobola okukyalira omutimbagano gwa bakansala ba safe 2 choose ofune obuyambi obusingawo. Osobola okusoma ebisingawo kubuweke obuyamba okugyamu olubutto.
Engeri y’okukozesaamu ekiyiso okuggyamu olubutto oluli mu wiiki 16
Enkola eno ekozesabwa okugyamu olubutto oluli wakati wa wiiki 16 era enkola enno eyawuddwamu emitendera 2, waliwo engeri y’okukozesa omukono n’eyokukozesa amasanyalaze mu nkola eno, olupiira lusindikibwa mu nnabaana olukozesebwa okugyamu olubutto era abakuggu basobola okukozesa omukono oba amasannyalaze era kino kyekiraga enjawulo wakati w’enkola zinno zombi. Era abantu bangi bagyetanidde nnyo era eyanguwa kubanga bintu bitono nnyo ebyetagisa okukozesabwa. Era enkola eno esobola okweyambisibwa omuntu singa yamala dda okugyamu olubutto, era nga tanatereera. Enkola eno yeyambisibwa singa olubutto luli wakati wa wiiki 2 ne 16 oluvannyuma lw’okulufuna
Okugaziya n’okubikula omumwa gwa nnabaana (wiiki 15-24 weeks)
Eno enkola oy’okugyamu olubutto ekozesebwa abayina embotto eziggwa wabweru era emyezi essatu egisooka. Kino kirimu okukozesa bumagalo bwebayingiza okuyita munseke ne butuuka ku nnabaana okusobola okugyamu olubutto.
Omusawo atandiika n’okuwa eddagala erireetera enseke okugaziwa. Buno obujjanjjabi buyinza okubeera mubukerenda obugyamu olubutto Mifepristone oba Misoprostol oba mungeri ey’okugaziya nga okozesa engeri y’okuyingiza amazzi mengeri ya osmotic dilator.Osmotic dilators zikolebwa mu muddo gwebayita seaweed bwebakayingiza mumumwa gw’obukyala bureetera okugulawo omumwa gwa nnabaana okusobola okukiriza bumagalo okuyitawo.
Bino bigobererwa nga ogenda kufuna okusirisibwa okutunotono oba okusamusamu okusinziira kubanga ly’olubutto era gino emitendera gimala eddaakika 15 okutwaliza awamu.
D&E yengeri ekozesebwa nga olubutto lulina ebanga nga lya wiiki 15 okutuuka ku wiiki 24.
Okunonyereza engeri entuuffu era enambulukuffu ey’okugyamu olubutto ku banga elyenjawulo bisinziira ku ngeri nyingi naye bakansala ku safe 2 choose weebali okuyamba nabuli kimu kubuli mutendeera olubutto gwerubeera lutuuseemu bajja kuyamba okuyita kumitendera egyenjawulo. Osobola okwogera nabo nga oyita kumukutu gwa live chat oba ku mukutu gwa info@ safe z change.Org.
Ddi Lwenonya Okuwabulibwa Kwabasawo
Funa obuyambi bwekisawo ng’oyitta mumakubo amatuuffu nga ganno wammanga;
- Bwoba ng’ofulumya omusaayi nyika obugoye obunuuna omusaayi 2 oba okusingawo buli saawa okumala essaawa 2 nga tobusizaamu.
- Bwoba nga ofunnyeemu omusujja mussaawa 24 nga omazze okumira obukerenda era neggutakendeera nga omazze okumira obukerenda obukakanya obulumi bupuofen.
- Bwoba ng’owulira obulumi bungi era nebutakendeera ng’omazze okumira obukerenda obukakanya obulumi bupuofen
- Bwoba ofulumya amazzi agatawunya bulungi okuva wansi nga tegefanannyiraza nga ag’omuntu ali munsonga.
- Bwoba owulira ng’olimulwadde nnyo era nga oli munafu.
- Woba nga feesiyo ng’emyuse, ezimbye nga era ekusiiwa wamu n’engalo wamu n’ensingo bunno bwonna bubonero bwa alajje[allagy].
- Bwoba oyina obuzibu ng’ossa.
Bwoba oyina obubonero obuwandiikiddwa waggulu offuna okwebuzaako okwekisawo.
Oyagala Okuyambibwa Okulondako Kunkola Z’okugyamu Olubutto.
Wano ku safe 2 choose, Bakansala baffe abatekeddwatekeddwa weebali okuwa obuyambi bwekikuggu n’okuyamba okutegeeza okusobola okukola okusalawo kulubotto lwo.
Nebwoba oyagala kufuna kwebuuza nakutegera banga lyalubutto lwo, n’okulambika obulungi enkola z’okugyamu olubutto n’engeri y’okweyisaamu nga omazze okugyamu olubtto ffe weetuli okuyamba kuburi wantu w’otuuka. okubeerawokwo obulungi nga oli mulamu bulungi kwekwesiima kwaffe era ne tukakasa nti offuna amawulire amutuuffu n’okugyamu olubutto. Osobola okukyalira emitimbagano gyaffe egigata abantu ku safe2choose.org.


