Emboozi zokujjamu olubuto

Safe Abortion Stories

Buli lunaku, abakyala okwetorora ensi yona basalawo ne bajjamu embuto. Banji bakozeseza obuweke obujamu embuto ne bajjamu olubuto nga batudde waka ewatali buzibu yadde akabenje.Okujjamu olubuto n`obuweke kufuneka, kwa kyama, era kiwa emirembe okusinga okukozesa enkola endala zona.

Singa obeera wajjemu olubuto nga okozesa obuweke oba nga oyambibwa safe2choose, jukira nti okugabana naffe byoyisemu nga ojjamu olubuto kikulu nyo okusobola okuyamba abakyala abalala abagala okuwulira obujulizi bwabalala basobole okusalawo.

Kibayamba okumanya nti okujjamu olubuto kiva ku muntu ate buli omu kimuyisa lulwe. Okubuulira ekyo kyoyiseemu kitwala akadde katono nyo era kiyamba abakyala abanonya okumanya ebisingawo ku nkola zino eli ba kansala ba safe2choose.

Twala edakiika ntono nyo okugabana ekyo kyewayitamu oba ekyo kyolowooza. emboozi yo. Awamu, tukakase ensi yonna nti okujjamu olubuto kyabulijjo era kikwata kubuli omu.Kozesa guno omukutu okusasanya obubaka bwo no’kulaga ensi nti okujjamu olubuto ddembe lyo’mukyala.

Uganda

Nafula, omuyizi omusawo azuula enjawulo wakati webisomesebwa musomero n’ekitufu ekiriwo kubikwatagana kukufuna obujanjabi obwe’kikugu nga ojjamu olubuto. munsi ye, awamu mu buvanjuba bwa afirika, Nafula ayiga nti okukwasaganya amateeka amakakali agali ku kujjamu embuto munsi ye, nga asobola okuyamba abantu mumulimu gwe, okweyunga ku safe2choose omukutu gwensi yonna ogukwasaganya okuwereza abandyagadde okujjamu embuto ku basawo kimuyamba okukakasa nti buli muntu afunna omukisa okusalawo nobumanyifu kubyobulamu e bikwatagana n’ebyokwegatta.

Laba ku Vimeo

Kenya

Wangari: Omuyizi atendekwa obusawo yewunya nyo kumiwendo ye embuto ezivaamu mungeri enkyamu. Nasalawo okwegatta ku mukuttu muganta bantu munsi yona ogwa safe2choose. Kati asobola okuyamaba abakyala abagala okujjamu embutto bulungi nyo.

Laba ku Vimeo

Senegal

Mareme kati abeera mubulamu bwe kati, yetongola er yefuga okwawukanako emabega nga obulamu bwali bwakazigizigi. Nga Mareme, abakyala bamanyi akaseera akatuufu webagalira okufuuka ba maama oba okulondawo okwata ekuubo eddala. Okujjamu olubuto kyekyimu ku maakubo, era oba oyagala okukenkuka no kuyiga engeri ezenjawulo ezokujjamu embuto ezakkakasibwa ekitongole ekyebyobulamu ekyensi yona (World Health Organisation, WHO), Kyalira omutimbagano guno wamnga: safe2choose.org

Laba ku Vimeo

 

Kebela ensi